TOP
  • Home
  • Buganda
  • Kabaka akunze abasajja mu kaweefube w'okulwanyisa siriimu

Kabaka akunze abasajja mu kaweefube w'okulwanyisa siriimu

Added 2nd December 2019

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II azzeemu okulagira abantu be mu Buganda okwekebeza siriimu n’endwadde endala ng’omu ku kaweefube anaayamba Uganda okumalawo endwadde ezo omwaka 2030 we gunaatuukira.

 Kabaka Mutebi II bwe yabadde e Kitovu gye buvuddeko.

Kabaka Mutebi II bwe yabadde e Kitovu gye buvuddeko.

Bino biri mu bubaka bwe obwafulumiziddwa ku lunaku ensi yonna kwe yeefumiitiririza ku bulwadde bwa siriimu buli mwaka olukuzibwa nga December 1.

Yakubirizza abasajja okukulemberamu kaweefube w'okutaasa amaka gaabwe.

" Nga ambaasada w'ekibiina ky'amawanga amagatte ekirwanyisa mukenenya mu buvanjuba n'amaserengeta ga Africa okukubiriza abaami okwenyigira mu kaweefube w'okumalawo obulwadde buno 2030 we gunaatuukira, nkubiriza abasajja okubeera emmunyeenye z'obulamu obulungi mu bitundu byabwe nga beekebeza n'okumanya bwe bayimiridde ku bulwadde bwa mukenenya n'okwekebeza obulwadde obukosa ekibumba, kkookolo w'obusajja, akafuba ne puleesa," Kabaka bwe yagambye mu bubaka bwe.

Yayongeddeko nti; " Nga sinnafuulibwa ambasada n'oluvannyuma lw'okufuulibwa, nkoze ekisoboka okubawa amagezi gonna ageetaagisa ku bulwadde buno kubanga saagala muntu yenna kufa olw'obutamanya.

Ndi musanyufu okukitegeera nti bangi ku mmwe mutandise okuvaayo nga mwanukula omulanga gwange era omuwendo gw'abasajja abeekebeza gweyongedde okulinnya mu bitundu eyo obujjanjabi gye buli ate n'abo abafuna eddagala, beyongedde.

Eky'abasajja obutajjumbira kaweefube ono, Kabaka agamba nti kyetaaga okumenyebwawo okusobola okukendeeza ku muwendo gw'abaana abazaalibwa ne mukenenya n'abafa obulwadde buno, abavubuka abawala, abasajja n'abakyala.

Omulamwa okukuliziddwa olunaku luno gugamba nti "Ebitundu y'entabiro y'okulwanyisa mukenenya'.

Kabaka yamalirizza obubaka bwe ng'agamba nti; "Muli mmunyeenye za famire zammwe era n'obulamu obulungi mu bitundu byammwe butandika nammwe, mbasaba okusigala nga mukutte omumuli gw'obulamu obulungi n'okumalawo mukenenya omwaka 2030 we gunaatuukira, ku lunaku luno olw'okwefumiitiriza ku bulwadde buno 2019."

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...