TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bakatikkiro b'ebika bafunye essuubi ly'okununula ettaka ly'ebika byabwe

Bakatikkiro b'ebika bafunye essuubi ly'okununula ettaka ly'ebika byabwe

Added 11th December 2019

Ssaabawolereza wa Mmengo, Christopher Bwanika yasabye ebika okuwandiisa enkiiko z'abayima era balambike bulungi ebiwandiiko ebikwata ku ttaka ly'ebika byabwe ebyapa byabwe bikolebweko

 Omujjwa mu kika ky'Empologoma ng'atonera Namuguzi emiti egy'okusimba gye yakwasizza Katikkiro w'ekika Kisekka Ddungu.

Omujjwa mu kika ky'Empologoma ng'atonera Namuguzi emiti egy'okusimba gye yakwasizza Katikkiro w'ekika Kisekka Ddungu.

Bya Lilian Nalubega

Bakatikkiro b'ebika mu Buganda bafunye essuubi ly'okununula ebyapa by'ettaka ly'ebika eby'enjawulo oluvannyuma lwa Ssaabawolereza wa Mmengo okubakakasa nti, buli kika ekirina ebiwandiiko ebituufu ku ttaka lyakyo baakuliweebwa.

 mutaka amuguzi nga yeebaza olof ateregga ku kkono okukolerera ekika akati ye utaka idimbo ne atikkiro wekika kino isekka dungu ku ddyo Omutaka Namuguzi nga yeebaza Polof Kateregga (ku kkono) okukolerera ekika. Wakati ye Mutaka Kidimbo ne Katikkiro w'ekika kino Kisekka Ddungu (ku ddyo).

 

Bakatikkiro kino baakyanjizza ku butaka bw'ekika ky'e Mpologoma e Lwadda Matugga gye beetabye ku mukolo bazzukulu ba Nnamuguzi ab'e Mpologoma bwe baabadde balamaze ku butaka ate n'okuggalawo omwaka 2019.

Polof. Al hajji Badru Kateregga, eyalondebwa okukulira olukiiko lw'abayima b'ebyobugagga bw'ekika ky'e Mpologoma, yasoose kutegeeza nga Ssaabawolereza wa Mmengo, Christopher Bwanika bwe yabasabye okuwandiisa enkiiko z'abayima era balambike bulungi ebiwandiiko ebikwata ku ttaka ly'ebika byabwe ebyapa byabwe bikolebweko.

 bamu ku bazzukulu ba amuguzi atudde ku ntebe ku ddyo abeetabye ku mukolo gwokulamaga ku butaka nga bali nabamu ku bakatikkiro bebika Abamu ku bazzukulu ba Namuguzi atudde ku ntebe (ku ddyo) abeetabye ku mukolo gw'okulamaga ku butaka nga bali n'abamu ku bakatikkiro b'ebika.

 

"Ssaabawolereza yagambye nti, tteeka ebika okuwandiisa enkiiko zino kyokka ffe twewandiisa dda era ekika ky'e Mpologoma kimu ku bika kumpi ebitaano ebyakeewandiisa. 

Guno mukisa munene era abaamasiga, ennyiriri, emituba n'empya buli alina ettaka ly'ekika eritankanibwa munoonye ebiwandiiko byalyo mubireete tulikubire wamu n'okugoba ku byapa byalyo n'obwannannyini," Polof. Kateregga bwe yagambye.

Yategeezezza nti, n'ebyayogeddwa Katikkiro Mayiga mu Lukiiko lwa Buganda nti, tetusaana kweraliikirira olw'ettaka lyaffe erisengeddwaako abantu kubanga bwe linaamala okulambikibwa obulungi Buganda yaakulyeddiza nti, ne mu bika kye kimu.

 mutaka amuguzi owookubiri ku kkono ngakwasa senga wekika kyempologoma satifikeeti okumusiima okukolerera ekika u kkono ye idimbo ne atikkiro wekika ku ddyo isekka dungu Omutaka Namuguzi (owookubiri ku kkono) ng'akwasa Ssenga w'ekika ky'empologoma satifikeeti okumusiima okukolerera ekika. Ku kkono ye, Kidimbo ne Katikkiro w'ekika (ku ddyo) Kisekka Ddungu.

 

Katikkiro w'ekika ky'e Mpologoma, Patrick Kisekka Ddungu yagambye nti, Ssaabawolereza okukola kino assa mu nkola ekiragiro kya Ssaabasajja Kabaka bwe yalagira ebika okuli eky' Engo, Empologoma, Ennyange n'Ekibe biweebwe ebyapa byabyo, nga kino Katikkiro Charles Peter Mayiga ye yakyanjulira olukiiko lw'abataka mu 2017.

Abataka ab'Amasiga mu lipoota yaabwe eyasomeddwa omuwandiisi w'olukiiko lwabwe Emmanuel Kato Ndawula baategeezezza Ssebuganda nga embuga z'Obutaka bwabwe nnyingi bwe zaasaanyizibwawo abantu abazze beesenza ku ttaka lyazo nga mu kiseera kino abamu bali mu kaweefube okununula ettaka eryo wakati mu kuwaayo obuwanana bw'ensimbi.

 mutaka amuguzi ngasimba omuti ku utaka abalala be bamu ku bakatikkiro bebika ebirala nmutaka idimbo ownkerebwe ku ddyo Omutaka Namuguzi ng'asimba omuti ku Butaka abalala be bamu ku bakatikkiro b'ebika ebirala n'Omutaka Kidimbo ow'Enkerebwe (ku ddyo).

 

Omutaka Wilson Ndawula Ssebuganda Nnamuguzi, yakubirizza abazzukulu okwekuumira ku nnono zaabwe n'okugoberera ebyo obuwangwa bwabwe

kye bubalagira nti, kubanga ssinga banaabiragajjalira tebasuubira okugenda mu maaso.

Bakatikkiro b'ebika boogedde ku mbeera y'ebika byabwe

Ssaalongo Kalemba Musisi, Katikkiro w'ekika ky'Empeewo: Obutakkaanya ng'abazzukulu bawakanya bajjajjaabwe tekiri mu Mpologoma mwokka kubanga naffe mu Mpeewo tulina abawakanya Kiggye omukulu w'ekika kino ate nga kirambikibwa bulungi nti, ye mukulu w'ekika ng'abamuwakanya bazzukulu. Enkola eno egwaana kulwanyisibwa nga tuli kitole mu bika oba n'okuyambagana mu bika eby'enjawulo tutereeze obukulembeze.

mutaka alemba usisiOmutaka Kalemba Musisi

 

Edrisa Kitandwe Ssaalongo, Katikkiro w'ekika ky'Engonge: Enkola ey'abazzukulu okulamaga ku Butaka bwabwe kabonero ak'okugatta abantu ab'ekika ekimu ate nga n'ebika birina okumanya obukulu bw'ebyoto ebikumwa ku butaka yonna kubanga kuno kwe tusinziira okuteekerateekera ensi yaffe nga tuwanyisiganya ebirowoozo n'okuwang'ana amagezi.

 mutaka drisa itandwe Omutaka Edrisa Kitandwe

 

Fenecance Kato Lutuuma Kiggo Katikkiro w'ekika ky'Ennyange: Tulina okukulembeza obumu obuva ku Ng'oma ey'omulembe Omutebi 'Buganda Bumu', abantu balemye okumanya ennono ky'egamba mu bika ne bakulembeza okwerumaaluma buli kadde ekitali kituufu. Ekireese ebyo kwe kwesiba ku by'Abazungu ebyatuleeterwa nga tetumanyi na makulu gaabyo.

 mutaka enecace utuuma Omutaka Fenecace Lutuuma

 

Robert Asanansiyo Mujabi Kajubi, Katikkiro wa Kalibbala e Nsiisi: Entalo mu bika zaali zinnemesezza n'okutereka Kalibbala mu nnono ng'abamu baatuuka n'okuwoza emisambwa gisazeewo ekintu ekitaali kituufu era nsiima Katikkiro w'ekika ky'e Mpologoma eyabagamba nti, emisambwa tegironda bakulembeze ba Bika era twamutereka mu nnono y'Abataka ey'edda.

 mutaka ujabi Omutaka Mujabi Kajubi

 

Grace Kizito Bakyayita Kidimbo, omukulu w'ekika ky'Enkerebwe: Tudde ku nnono, ebika ebimu ababirimu bagenze beekutula ku bika ebibatwala ng'amasiga nga balowooza nti nabo batuufu okwetongola ekitali kituufu. Bino bimu ku bitusibyeko ensowole mu bika ate n'enkaayana ezitaggwa anti abalemwa okubigoberera ate be basigala mu bika ebimu nga baagala obukulembeze.

 mutaka race akyayita Omutaka Grace Bakyayita

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

UNEB ewadde abayizi wiiki 5...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ewadde abazadde n’abayizi omwezi gumu okusasula ssente z’ebigezo n’okwewandiisa okukola...

Trump ne Biden

Omugagga asasulidde abasibe...

OMUSAJJA bifeekeera, omu ku basinga obugagga mu Amerika akutte doola obukadde 16 n’asasulira abasibe 32,000 engassi...

Omuyimbi Pia Pounds yeekokk...

Sheilah Gashumba kirabika kati ye yeekwatiramu mu kukuba ebifaananyi

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....

Ziza Bafana

Ziza Bafana akubye oluyimba...

OMUYIMBI Ziza Bafana akaaba lwa bizibu na mabanja ge yaguddemu oluvannyuma lw’okumukwata ng’ava okuyimba e Tanzania....