TOP

Ab'eng'onge balwana kumaliriza mbuga yaabwe

Added 17th December 2019

Bazzukulu ba Kisolo ab'e ng'onge bakubiriziddwa okukwatira awamu okuzimba n'okuyooyoota embuga y'ekika kyabwe Kabaka agende okubakyalira ng'erabika bulungi

 Abakakiiko akazimbi ak'embuga y'eng'onge nga balambulaokulaba o,mulimu gw'okuzimba we gutuuse

Abakakiiko akazimbi ak'embuga y'eng'onge nga balambulaokulaba o,mulimu gw'okuzimba we gutuuse

Bya Lilian Nalubega

Bazzukulu ba Kisolo abeddira Eng'onge banjudde enteekateeka gye balina okwongera okuzimba embuga y'ekika kyabwe e Bweza mu Busujju eggwe nga bwe babadde baategeka kubanga newankubadde Kabaka teyabalambudde balina okuba n'obutaka obweyagaza.

 atikkiro wekika kyngonge saalongo edrisa itandwe ngayogera mu lukiiko ate ku kkono ye sentebe wolukiiko oluzimbi aster ule takke ne ing rusaamu aboggoza wakati mu lukiiko Katikkiro w'ekika ky'Eng'onge, Ssaalongo Edrisa Kitandwe ng'ayogera mu lukiiko ate (ku kkono) ye Ssentebe w'olukiiko oluzimbi Gaster Lule Ntakke ne Ying Erusaamu Kaboggoza wakati mu lukiiko

 

Abazzukulu nga bakulemberwamu Katikkiro w'ekika kino, Ssaalongo Edrisa Kitandwe baagambye nti, tewali nsonga eyinza kubalemesa kugenda mu maaso n'okuzimba embuga gye bamanyi obulungi nti yaabwe.

Kino kiddiridde abamu ku bazzukulu mu kika kino okwetegekera okwaniriza Ssaabasajja ku butaka bwabwe kyokka ekiseera bwe kyatuuse ne bategeezebwa nga bwe yabadde tagenda kulambula butaka ng'abavubuka bajaguza n'okukuza olunaku lwabwe e Busujju.

Ssaalongo Kitandwe, Katikkiro w'ekika kino yagambye nti newankubadde abazzukulu sibamativu, ekika kyafuna ebbaluwa ng'ekisaba kweteekerateekera okwaniriza Kabaka ng'akadde konna ajja kulambula embuga y'ekika kino.

 isolo aboggoza athias uwanga Kisolo Kaboggoza Mathias Muwanga

 

"Ebbaluwa teyaliiko nnaku za mwezi wadde ekiseera ddi Kabaka lw'alina okutulambula noolwekyo bazzukulu ba Kisolo mbasaba nti, tugende mu maaso nga tunoonya n'okuwaayo ensimbi n'ebikozesebwa mmanyi nti, mu ekiseera kyonna ate tujja kufuna ebbaluwa etutegeeza nti, Omutanda ajja. Mulina okuba abeegendereza," Kitandwe bwe yagambye.

Bino baabituuseeko olukiiko oluzimbi olw'ekika bwe lwabadde lugenze e Bweza ku Butaka bw'ekika ky'Eng'onge okwetegereza omulimu gw'okuzimba embuga yaabwe we gutuuse nga lwakulembeddwamu Ssentebe waalwo Gaster Lule Ntakke.

Mu kiseera kino embuga ewedde okusereka, okukuba pulasita n'okuggala ng'abali ku mulimu guno batereeza ebitono ebibadde bisigadde wabweru olwo basiige langi n'okukola fuloowa.

 baakakiiko nga balaba munda wembuga bwe wafaanana Abaakakiiko nga balaba munda w'embuga bwe wafaanana

 

Omutaka Kaboggoza Mathias Muwanga Kisolo, omukulu w'ekika kino wano we yasinzidde ne yeebaza bazzukulu be abawaddeyo ebikozesebwa n'obudde bwabwe okuyooyoota embuga y'ekika n'abasaba okukikolerera nga tebatunuulidde kusanyusa balala wabula bbo bennyini.

Abazzukulu boogedde ku kutumbula ekika

Ying. Erusaamu Kaboggoza, eyakulembeddemu ogw'okuzimba: Omulimu ogukoleddwa ku kuzimba ennyumba enkulu munene era kati ekitundu ekisigadde newankubadde kinene naye waliwo kye tulaga. Twetaaga kukwasiza wamu ne bannaffe kubanga ekika kya buli omu ate n'abalala abalina obusobozi nga balina akakwate ku kika basobola okuwaayo tukole omulimu omulungi.

Kitandwe Idris Kaboggoza: Wadde Ssaabasajja teyalambudde butaka bwaffe tumanyi nti, enteekateeka e Mmengo gy'eri Kabaka ajja kutulambula akadde konna, tulina kweteekateeka.  

Gaster Lule Ntakke, Ssentebe w'olukiiko oluzimbi: Tuve ku by'okulindirira abagenyi ng'enkambi, tukyetaaga ebikozesebwa okuzimba embuga ate n'ekigango ky'ekika kye tutannaba kukwatako, noolwekyo tuzimbe abagenyi balijja nga twetegese.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...