TOP

Muleme kusuulirira byabuwangwa bwammwe

Added 18th December 2019

Abavumirira obuwangwa bwammwe be balabe bammwe abasooka mubasindike wala

 Msgr. Lawrence Kanyike (ku ddyo) ng'akwasa omusika wa Maria Nankusu Kawooya, Maria Nazziwa omusaalaba ogumulaga okwetikka emigugu gyonna okugikwasa Katonda mulumbe

Msgr. Lawrence Kanyike (ku ddyo) ng'akwasa omusika wa Maria Nankusu Kawooya, Maria Nazziwa omusaalaba ogumulaga okwetikka emigugu gyonna okugikwasa Katonda mulumbe

Bya Lilian Nalubega

Omubaka wa Busiro East mu Paalamenti, Medard Lubega Sseggona asoomoozezza Pulezidenti Museveni ku ky'okumuggya ku bukulembeze.

 edard seggona bwe yabadde ayogera mulumbe amuddiridde ye mumyuka wa sebwana incent ayongo nabakungu abalala Medard Sseggona bwe yabadde ayogera mulumbe, amuddiridde ye mumyuka wa Ssebwana Vincent Kayongo n'abakungu abalala

 

"Abagamba nti, tuleese Bobi Wine muto taabisobole mulimba kubanga n'abakulu bwe bajja, entebe omukulu yamulema okubateera noolwekyo ffe ng'abantu bwe baatugambye tugenda kwngeramu amaanyi," Sseggona bwe yagambye.

Bino yabyogeredde mu zooni ya Nabaziza e Kyengera mu ggombolola y'e Nsangi ku mukolo gw'okwabya ennyimbe z'abagenzi Maria Nankusu Kawooya eyali nnyina w'omukozi wa Bukedde Christine Nakubulwa eyasikiddwa Maria Nazziwa ne Tereeza Kigongo Nsiisi Kasule nga Margaret Babirye ye yamuddidde mu bigere.

Sseggona yagambye nti, "Abantu mbagumya nti, Muzeeyi tetugenda kumusiba wadde okubaako kye tumukola okumulumya wabula tugenda kumuggya mu ntebe tumuzze e Rwakitula tumulage enfuga ennungi naye agirozeeko," Sseggona bwe yakkaatirizza.

Omukolo gwakulembeddwa ekitambiro kya mmisa eyasomeddwa, Msgr. Lawrence Kanyike eyakubirizza abantu okudda eri Katonda, bamwekwase mu byonna naye alyoke abawanguze.

 musika wa ereeza igongo siisi argaret abirye ngakwasibwa ayibuli okuva ewa sgr awrence anyike Omusika wa Tereeza Kigongo Nsiisi, Margaret Babirye ng'akwasibwa Bayibuli okuva ewa Msgr. Lawrence Kanyike

 

Yayongeddeko nti, "Amaka gano nnaliwo mu kusabira abagenzi bano era n'okubawerekera mu kuziika kyokka ngamanyiiko kimu nti, abazadde bombi baali bantu ba Katonda abaakuliza abaana baabwe mu kutya Katonda ate nga beetoowaze mu buli kimu," Msgr. Kanyike bwe yamalirizza.

Omumyuka wa Ssebwana omuggya, Vincent Kayongo yawadde abantu amagezi okunyweza obuwangwa bwabwe nti, kubanga bwe bulambika obuvo bwabwe n'obuddo.

"Muve mu by'okuvumirira eby'obuwangwa byammwe nti bya sitaani, era be muwulira nga bakikola mumanye nti abo be balabe bammwe abasooka abagenderera okubasaanyaawo, mubagobere wala era mubeewale.

 bamu ku bazzukulu babagenzi aria ankusu ne ereeza siisi mu kusabira abasika Abamu ku bazzukulu b'abagenzi Maria Nankusu ne Tereeza Nsiisi mu kusabira abasika

 

Nnali mumyuka wa Ssaabagabo okumala ebbanga ddene era nga omugenzi Aloysious Kawooya ye mukama wange, kyokka maama Maria Nankusu buli lwe najjanga wano ng'agamba bba nti, "Okaddiye kati ono ye Ssaabagabo kyokka ng'omwami tanyiiga era bwe yava mu nsi nze namuddira mu bigere mwe okutuuka lwe ntuuse ku ddaala ly'omumyuka wa Ssebwana. Bano bantu abaayagala ennyo Kabaka n'eggwanga lyabwe," Kayongo bwe yagambye.

Mathias Kato, omukubiriza w'olukiiko lw'eggombolola y'e Nsangi Ssaabagabo yagambyenti, " Omugenzi Maria Nankusu yali muntu mwetoowaze ng'ayagala Katonda we kyokka nga tasuulirira nsonga za Bwakabaka. Yayagala Kabaka we era nga yali muwagizi lukulwe naddala bba eyali Ssaabagabo w'e Nsangi omugenzi Aloysious Kawooya bwe yabanga akola emirimu egyatuusa Buganda ku ntikko.

 amuel babaali usoke akutte ekibbo ngasumika omusika wa aria awooya ayimiridde ary azziwa ne lubuga we atudde akutte olwendo atilda Samuel Mbabaali Musoke akutte ekibbo ng'asumika omusika wa Maria Kawooya ayimiridde Mary Nazziwa ne lubuga we atudde akutte olwendo Matilda

 

Christine Nakubulwa, omu ku baana yagambye nti, "Bazadde baffe baalina okwagala kungi eri ffe abaana ate era nga baatukuliza mu mpisa ez'obuntubulamu nga batukubiriza n'okwagala Katonda. Tetutoma kubanga bakadde baffe baatuwa omusingi nga ffenna tusobola bulungi okweyimirizaawo era tubasabira kuwummula mirembe.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...