TOP

Abeddira Engabi balabuddwa ku kufumbiriganywa

Added 21st January 2020

Omukulu w'ekika ky'Engabi Ensamba, Alysious Lubega Magandaazi avumiridde bazzukulu ba Nsamba abeewasa nga beekwasa okuva mu bika eby'enjawulo

 Hajji Ahmed Lubega (ku kkono) ng'aliko by'annyonnyola Omutaka Nsamba (ku ddyo)

Hajji Ahmed Lubega (ku kkono) ng'aliko by'annyonnyola Omutaka Nsamba (ku ddyo)

Bya Lilian Nalubega

Omutaka Aloysius Lubega Magandaazi, omukulu w'ekika ky'Engabi Ensamba avumiridde eky'abazzukulu mu kika kino abadda ku bazzukulu ba Kannyana ne babawasa n'agamba nti, gano gaba mawemukirano ge balina okusindiikiriza nga bukyali.

 bazzukulu ba samba nga bajaganya bwe yabadde asituse okwogera Abazzukulu ba Nsamba (ku kkono) nga bajaganya bwe yabadde asituse okwogera

 

Omutaka Aloysius Nsamba, yabadde Mansa mu Ssaza lya Kabaka e Bugerere n'agamba nti, batandise kaweefube n'ebika by'Engabi ebirala okulaba nga bavaayo n'ekiwandiiko kimu ekigaana abazzukulu mu bika eky'engabi Ensamba ne Kannyana okufumbiriganwa nga kino kya kussibwa mu nkola era kigobererwe ne mu mateeka.

"Kibi omwana nga ye Muyomba ate okuwasa Nansamba oba Nalubega nga beekwasa nti, ebika bya njawulo. Abaana batuuse n'okwekwasa ng'ekituufu bakimanyi nti, bonna bazzukulu ba Nsamba noolwekyo ntaddewo ekkomo ku ky'abazzukulu bange okugenda mu bufumbo nga bombi beddira Ngabi. Tekigenda kukoma ku kya Ngabi Nsamba yokka wabuli buli ngabi ne bw'eneeba Busoga, Bunyoro, Ggulu n'awalala," Omutaka Nsamba bwe yagambye.

 mutaka samba ngayogera eri bazzukulu be Omutaka Nsamba ng'ayogera eri bazzukulu be

 

Yabakubirizza okwongera okuzaala abaana be yagambye nti, be bajja okutwala Ekika mu maaso naddala bwe banaabayigiriza okuba abakozi abateebalira.

 bamu ku bakyala nabaana bowoomutuba gwa yannamuyomba mu ssiga lya uyomba nga bali nomutaka samba Abamu ku bakyala n'abaana b'owoomutuba gwa Kyannamuyomba mu ssiga lya Muyomba nga bali n'omutaka Nsamba

 

Yategeezezza nti, si mwetegefu kutuula ng'alaba ekika kye kyongera okuzing'ama olw'entalo abantu abamu ze batandikawo olw'ebigendererwa ebyabwe era n'ategeeza nti, eno ntandikwa okulambula amasiga, emituba n'ennyiriri yonna gyebiri ayongere okwekkaanya enzirukanya yaabyo n'okwongera okumanya bazzukulu be bye bakola.

Nsamba yabakubirizza okwenyigira mu kutandikawo enkola ey'okutereka n'okwewola ng'eno yagambye nti yaakubayamba okusitula abateesobola. Yaggumizza eky'abazzukulu okwenyigira mu by'obufuzi kyokka n'abalabula ku kabi akalimu naddala ssinga banaava ku mulamwa ne badda mu kukuba enduulu ezitaliiko kigendererwa.

 ajji hmed ubega utumba owe ansa mu nkoofiira enzirugavu ngakwasa omutaka samba owookubiri ku ddyo ebirabo omwabadde embuzi nekisambi kyente Hajji Ahmed Lubega Mutumba ow'e Mansa mu nkoofiira enzirugavu ng'akwasa omutaka Nsamba (owookubiri ku ddyo) ebirabo omwabadde embuzi n'ekisambi ky'ente

 

"Bwe kiba kyetaagisa kwesimbawo mu byobufuzi, mwesimbewo mufune ebifo mulabe nga muweereza ebitundu byammwe mu nsonga ze mulaba nga musobola kyokka kino ekiseera kya kazigizigi nga mulina okuba abeegendereza," Nsamba bwe yabalabudde.

Omukolo gwetabiddwaako omutaka Ssaalongo John Chrisestom Mulindwa ow'essiga Mulindwa ng'ono yagambye nti, waliwo abeeyita ab'Engabi Ensiita, aba Kannyana n'aba Nsamba nti kyokka bonna be bamu ng'ekya Nsamba okusalawo ayingire mu nteeseganya ne Kannyana okugaana bazzukulu baabwe okufumbiriganwa kyamakulu mu kika.

 atikkiro wessiga lya uyomba eter atovu uyomba ngayogera eri abazzukulu Katikkiro w'essiga lya Muyomba, Peter Matovu Muyomba eyatikkiddwa obubaka bwa Nsamba ng'ayogera eri abazzukulu

 

Kinajjukirwa nti, Omutaka Aloysius Nsamba Magandaazi mu kiseera kino aliko baganda be bwe bava mu ssiga lya Muyomba abagamba nti, si y'agwanidde okuba omukulu w'ekika kino omutuufu.

 mutaka ohn hrisestom atovu owessiga ulindwa ngayogera eri bazzukulu ba samba abava mu ssiga lya uyomba e ugerere ansa Omutaka John Chrisestom Matovu ow'essiga Mulindwa ng'ayogera eri bazzukulu ba Nsamba abava mu ssiga lya Muyomba e Bugerere- Mansa

 

Mu bubaka bwe yatisse Katikkiro we Peter Matovu, nga ow'essiga Muyomba Muyomba yagumizza abazzukulu nti, emituba emibale mu ssiga lye gye givuddeyo okuwakanya Jjajjaabwe kyokka n'ategeeza nti, ng'omukulembeze waabwe si wa kwekkiriranya na bigendererwa byabwe ebizingiramu n'okwagala okweddiza ettaka ly'Ekika e Buwanda era ne yeebaza abazzukulu abatambulira mu musana n'abasaba okunywera nga bali muganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...