TOP
  • Home
  • Buganda
  • Ensimbi obukadde 14 Mmengo ze yafuna okuddaabiriza amasiro zoogezza abantu ebikankana

Ensimbi obukadde 14 Mmengo ze yafuna okuddaabiriza amasiro zoogezza abantu ebikankana

Added 21st April 2020

EBY’ENSIMBI 14,935,000/- Mmengo zeyafuna okuva ku kitebe kya America mu Uganda okuddabiriza amasiro g’e Kasubi mu Kampala buli lukya zoogeza abantu ebikakankana.

EBY'ENSIMBI 14,935,000/- Mmengo zeyafuna okuva ku kitebe kya America mu Uganda okuddabiriza amasiro g'e Kasubi mu Kampala buli lukya zoogeza abantu ebikakankana.

Ku nkomerero ya wiiki ewedde,omutimbagano gwa yintaneti gwabutiikirwa amawulire g'ensimbi Abamerika zebabanja Obwakabaka bwa Buganda bwebwalemererwa okuzikozesa ku mulimu gw'okuzimba ekifo (bill board) eky'omulembe okulagirako ebyafaayo by'amasiro gano.

Bukedde bweyatuukirira omwogezi w'Obwakabaka,Noah Kiyimba yategeza ng'ebyaali byogerwa bwebitali bituufu kyokka yali yakufulumya ekiwandiiko ekitongole era ku Mmande April 20,2020 yakifulumizza n'ategeza nti ensimbi ezoogerwako nti abamerika bazibanja Mmengo nga bwezazibwayo.

"Ekitebe kya Amerika mu Uganda kyaawa Obwakabaka ssente ddoola 5000 nga mu kiseera ekyo z'ensimbi 14,935,000/- mu nsimbi za Uganda emyaka musanvu emabega. Zafunibwa okuteekawo olubaawo okunabeeranga ebyafaayo n'amawulire agakwata ku masiro gano," Kiyimba bweyategezezza mu kiwandiiko kye.

 

Kyakusalirwa, Kiyimba yategezezza nti zino zaali zakukozesebwa mu kiseera ekigere wabula tezasobola kukozesebwa kutuukiriza omulimu gwezaalina okukola olw'emirimu egy'enjawulo egyaali gikolebwa mu masiro mu kiseera ekyo.

"Okusobola okutuukiriza obukwakulizo bw'obuyambi buno,Obwakabaka bwa Buganda bwaddiza ekitebe kya Amerika ensimbi zino nga January 12,2017 era nebuweeebwa lisiiti,"Kiyimba bweyayongeddeko.

ENSIMBI ZINO EZOOGERWAKO ZAFUNIBWA ZITYA?

Leero (ku lwokusatu April 22,2020) giweze emyaka 10 n'ennaku 35 bukya masiro gano mu kulafubana kw'okuzzaawo n'okukulakulanya ekifo kino, emyaka musanvu emabega Minisita w'obusizi bw'ensimbi mu kiseera ekyo, Robert Waggwa Nsibirwa( nga kati ye Muwanika wa Buganda),yaleeta ekirowoozo eri Kabineti ng'abuzigirira nga ku kitebe kya Amerika ekisangibwa e Nsambya bwebalina obuyambi obuweebwa ebitongole n'amawanga okutumbula eby'obuwangwa.

Oluvanyuma lw'enteseganya enjuuyi zombi zaakola endagaano nga September 29,2014 okubeerako emirimu ensimbi zino gyezikola mu masiro e Kasubi. Ku lw'Obwakabaka Hajj Mohamood Ssemambo Ssekimpi mu kiseera ekyo eyali Omumyuka wa Katikkiro era Minisita avunanyizibwa ku masiro,eby'obuwangwa n'obulambuzi yeyateekako omukono ate n'abakungu ku kitebe kya Amerika nebateekako omukono.

Obuyambi bw'ekikulu kino,abuwereeddwa alina okubukozesa wakati w'emyezi mukaaga n'omwaka gumu nga bwezimulema okukozesa alina okuzizaayo ate abalala bazikozese.

 

Kabineti e Mmengo yanoonya ekintu ekyetengeredde ensimbi zino kyeziyinza okukola ku mulimu gw'amasiro,neekkiriziganya nti zigende ku lubaawo okunateekebwa obubaka bwonna obukwata ku masiro.

Ekifo kino kyatwala ebbanga okuteekebwawo bwekityo ekiseera Abamerika kyebaali babawadde okukozesamu ensimbi zino nekiggwaako ng'ekyalina okukolebwa ye Mmengo okukwata ensimbi zino ezizzeeyo.

Agava mu masiro e Kasubi gategezeeza Bukedde nti "Obutakolebwa kw'omulimu ogwo okwafunirwa ensimbi ezo kwaava ku nkayana ennyingi ezaali zibutikidde omulimu gw'amasiro mu kiseera ekyo. Muno mwalimu enkayaana wakati wa Nnalinya Beatrice Namikka ne maneja wa pulojekiti y'amasiro Jonathan Nsubuga,endala nga zaliiwo wakati wabano bombi ne Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga."

Oludda olulala lwategezezza ng'ensonga eno bweyafuuka ssemusota guli mu ntamu nga bwezizibwaayo kabeera kabonero kabi naddala ku nkolagana y'Obwakabaka n'ekitebe kya Amerika ku nsonga y'obuyambi (kubanga omulundi omulala buyinza okwagala okufunayo ssente endala okukola emirimu gy'enkulakulana).

 

Ebbanga lyayita ng'ensimbi zino tezinazibwayo okutuusa olwa August 22,2016 (okusinzira ku biwandiiko ebigambibwa okuva ku kitebe kya Amerika),omukungu Niles Cole (eyali avunanyizibwa ku nsonga z'ebyobuwangwa ku kitebe kya Amerika mu kiseera ekyo) lweyawandiikira Baminisita e Mmengo ng'abasaba bakole entegeka y'okusasula ensimbi zino.

August 23,2016 Nsibirwa(mu kiseera ekyo eyali afuuse Omuwanika wa Buganda) yawereeza  Cole ebbaluwa etambuzibwa yintaneti (email) ng'amusaba amuwe erinnya lya ceeke ensimbi ez'okusasulwa mweziyinza okusasulirwa.

Nga August 31 2016 Niles yayanukula Mmengo ng'agiwa akawunti n'amannya gaayo nga yali 0100220008 ng'eri mu Citi Bank Uganda ng'eno eteekebwako nsimbi za Uganda era n'abasaba nti nga pulojekiti kwebasabira ensimbi zino,bwetakolebwa,baalina okuzaayo ensimbi nga ziwera ddoola 5000 mu 2016 (wadde nga ddoola ezaweebwa Mmengo zaali za 2014).

 

OMWOGEZI W'EKITEBE KYA AMERIKA E KAMPALA ATANGAAZA:

Phil Dimon nga ye mwogezi w'ekitebe kya Amerika mu Uganda yafulumizza obubaka okutangaaza ku nsonga eno n'agamba nti;-

Ekitebe kya Amerika e Kampala kyaawa obuyambi bw'ensimbi emyaka mingi emabega ku pulojekiti y'okuzzaawo amasiro g'e Kasubi.

Ebyembi abakungu b'Obwakabaka tebaasobola kukozesa nsimbi zino ku pulojekiti gyebaali basazeewo zikozesebwe okutuusa ebbanga ly'obuyambi buno bweryaggwaako.

Okutambulira ku nkola z'emirimu gya Amerika,ensimbi zino twasaba zikomezebwewo era nezikomezebwawo. 

Gavumenti ya Amerika ewagira emirimu gy'okutumbula eby'obuwangwa okwetoloola ensi era tutunulidde omukisa gw'okwongera okukolagana n'Obwakabaka bwa Buganda n'obukulembeze bw'ensikirano obulala mu Uganda ku pulojekiti bweziti mu maaso eyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agugulana ne KCCA atiisizza...

HAJJI Rashid Ssenyonjo Musisi atiisizza okukung'anya famire ye batuule mu luguudo ompi n'amayumba ge e Lweza...

Trump anywezezza ebyokwerin...

Abaserikale abamukuuma beebulungudde White House okuva mu ggye erimanyiddwa nga The Washington, DC National Guard,...

 Mwamula Juma, the UPTU General Secretary speaking the press in Kampala. Looking on is a member of UPTU. Courtesy photo

Uganda Private Teachers Uni...

Mwamula Juma, the UPTU General Secretary said the government directive is more of a populist voice than a realistic...

 Kayiwa

Munnamakolera asabye Gav't ...

MUNNAMAKKOLERO Steven Kayiwa nga y'akiikirira Bannamakkolero mu lukiiko lwa Buganda olukulu asabye gavumenti eyawakati...

Bagabidde abakozi b'Abachin...

MINISITULE y'ebyobulamu egabidde abakozi mu b'omu nnimiro z'abachina abalimira omuceere mu Lwera n'abavubi b'oku...