TOP
  • Home
  • Buganda
  • Kabaka ayagalizza Abasiraamu Idd el fitri

Kabaka ayagalizza Abasiraamu Idd el fitri

Added 24th May 2020

KABAKA Ronald Muwenda II alagidde Bannayuganda okukuuma emirembe n’okusonyiwagana mu kiseera kino ng’Abasiraamu mu nsi yonna bakuza Idd el fitri.

 Kabaka Mutebi

Kabaka Mutebi

KABAKA Ronald Muwenda II alagidde Bannayuganda okukuuma emirembe n'okusonyiwagana mu kiseera kino ng'Abasiraamu mu nsi yonna bakuza Idd el fitri.

Bino biri mu bubaka bwe eri eggwanga ng'akulisa abasiraamu okuyita obulungi mu kisiibo ekisanze ensi ng'eri mu kusoomoozebwa kw'obulwadde bwa ssenyigga omukambwe aleeteebwa akawuka ka COVID-19 obufulumiziddwa ku nkya y'olwokutaano May 22, 2020.

OBUBAKA BWA KABAKA MU BUJJUVU BULI BWE BUTI:

Tukulisa nnyo bannaffe Abayisiraamu olw'okuyita mu mwezi omutukuvu ogwa Ramadhan era tubaagaliza okusaala  obulungi ID EL FITRI.

Tutuuse mu kiseera kino ng'ensonga enkulu eriwo mu nsi yonna ye y'obulwadde bwa COVID-19 obwalumba ensi mu myezi mitono egiyise kyokka nga kati busaasaanidde amawanga agasinga obungi era nga bukosezza eby'okusinza nga kati abakkiriza basinzizza mu maka gaabwe ekiraze nti, mu buli mbeera tulina kutambulira ku biragiro bya Allah.

Wano mu Uganda tusaasira n'okusabira abantu baffe abazuliddwamu obulwadde buno. Tukkiriza nti,obujjanjabi bwe bafuna okuva eri abasawo,bujja kubayamba okussuuka.

Tusaasira nnyo ab'enganda z'abantu baffe Bannayuganda abafudde obulwadde bwa COVID-19 mu nsi yonna. Tusabira n'abo abakyali mu mbeera embi ennyo mu mawanga ago,bassuuke.

Okusiiba y'emu ku mpagi enkulu ez'obuyisiraamu,abayisiramu mwe beweerayo ddala eri Omukama nga beerekereza ebimu ku bintu ebikulu mu bulamu era nga beebaza Katonda olw'obutonzi n'ebirungi byaawa abaddu be awamu n'okwegayirira okuwa ekisonyiwo eri ebyo ebitagenze bulungi mu maaso  g'Omukama.

Mu kiseera kino eky'okusoomoozebwa,twongere okunyweza ebiragiro by'abasawo n'ebya gavumenti nga bwetulambikiddwa okwekuuma ssenyiga wa COVID-19,tukuume eddembe,okusonyiwagana n'okuddukirira abantu ba Katonda abali mu  mbeera y'obwetaavu.

Tubaagaliza okuyita obulungi mu kujjaguza Id el Fitri. Allah abakuume.

Ronald Muwenda Mutebi II 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omugagga Ham eyakulembeddemu bannanyini bizimbe mu lukiiko ne Amelia Kyambadde

Bannanyini bizimbe balemedd...

AKAKIIKO kebassaawo okubaga ebinaagobererwa kisobozese okuggulawo akeedi z’omu Kampala kamalirizza lipooti eno...

Jackson Musisi kitunzi w'essaza lya Gomba ku kkono ng'akwasa Mansoor Kamoga obuvunaanyizibwa bw'essaza

Aba ttiimu y'essaza lya Gom...

OLUVANNYUMA lw’ Essaza lya Gomba okusaasaanya ssente empitirivu mu kugula abazannyi, abakungu baalyo bafunyemu...

Omutendesi Bamweyana ng'assa ku ndagaano omukono

Omutendesi Bamweyana olwega...

OMUTENDESI omuggya owa Wakiso Giants FC mu Star times Uganda Premier League, Douglas Bamweyana asuubizza omupiira...

Bryan White kati asizza ku ku byuma

Bryan White mulwadde muyi: ...

Bryan White mu kiseera kino asizza ku byuma amaze wiiki biri mu ddwaaliro ly'e Nakasero kyokka embeera ye ekyagaanye...

Kato Lubwama nga tebannamulongoosa

Omubaka Kato Lubwama bamulo...

OMUBAKA Kato Lubwama ( Lubaga South) amaze essaawa ssatu mu sweeta ng'abasawo bamulongoosa n'okumwekebegya omulundi...