TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kabaka atenderezza munnamagye omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa

Kabaka atenderezza munnamagye omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa

Added 13th July 2020

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde omugenzi Maj.Gen. Eric Mukasa gwayogeddeko ng’omu ku bavubuka abazira abeewaayo mu 1981 okulwanyisa effugabbi eryali likomyewo mu ggwanga n’okuleetawo obutebenkevu obuliwo mu kiseera kino.

Omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa

Omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa





Obubaka buno yabutisse Katikkiro w'ekika ky'emmamba Omutaka Kagenda Luyombo Mulindwa n'abutuusa mu famire eno esangibwa e Kagoma,Nansana Munisipaali mu Ssaza ly'e Kyadondo ku Lwomukaaga July 11,2020 era n'asasira Omutaka Gabunga olw'okufiirwa muzzukkulu we ono omuzira.

"Bannaffe twawulidde n'okusalirwa kungi okufa kwa munnaffe Eric Mukasa kitalo nnyo. Tusasidde nnyo nnamwandu wamu ne bamulekwa. Mu ngeri y'emu tukubagizza omutaka Gabunga olw'okufiirwa muzzukkulu we omuzira,"Obubaka bwebwasomye.

Kabaka yayongedde n'agamba nti "Ebyafaayo by'omugenzi biraga nti yali omu ku bavubuka abazira abasalawo mu 1981 okulwanyisa embeera embi eyali ekkomezeddwawo mu ggwanga. Olw'obuzira n'obukozi yakuzibwa nafuuka omu ku baserikale abakulu era abadde amanyiddwa olw'obwetowaze n'empisa ennungi mu bantu ba bulijjo ne baserikale banne."

Ku lulwe Omutaka Kagenda eyawerekeddwako Omuwandiisi w'ekika Andrew Benon Kibuuka yasabye abaana wamu ne famire eno okusigala nga benyigira mu mirimu gy'Obwakabaka,ekika kyaabwe ku mitendera gyonna ng'omugenzi bwabadde akikola.

Munnamaggye eyawummula Col.Fred Makanga Boogere nga ye yakwasiddwa obubaka buno ku lwa Famire yategezezza nti omugenzi abadde mukwano gwe okumala emyaka egisukka 30 era wakugenda mu maaso ng'alambika abaana ba mukwano gwe okutuukiriza ebyo byeyayagala batuukirize.

Samuel Nsubuga Mukasa nga mutabani w'omugenzi,ku lwa banne yebazizza Kabaka olw'okubagumya mu kiseera kino eky'okusomoozebwa era neyeyama nti bakugenda mu maaso n'okwenyigira mu mirimu gy'Essiga lyaabwe erya Miiro e Zzinga,ekika wamu n'Obwakabaka nga kitaabwe bwabadde abakuutira.

Ye Kibuukaa yabasabye abaana okukuuma erinnya lyaa faamire eno era n'okutambuza obulungi ekisummuluzo ky'obuwanguzi kyeyabakwasizza olweebyo byalese akoze mu nsi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....