TOP
  • Home
  • Buganda
  • Tofiri Malokweza (92): Ayogedde ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala

Tofiri Malokweza (92): Ayogedde ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala

Added 24th September 2020

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala.

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Bw'OLABA omuntu ow'emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng'eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala.  

Eyaliko Kaggo wa Kyaddondo, Tofiri Malokweza eyazaalibwa nga September 18, 1928, eyawezezza emyaka 92 bw'omubuuza ekyama ky'obuwangaazi bwe bino by'asimbako amannyo: okukwata obulamu mu ngeri entuufu wakati mu kugondera amateeka g'ensi. 

"Bangi batera okumbuuza nti kiki ekikuwangaazizza? Mbaddamu nti maanyi ga Katonda kubanga olaba oli ne bw'abeera muto afa. Okwefaako nga omuntu kikulu oleme kutwala bulamu mu ngeri etesaana ate n'okugondera amateeka."Malokwezza bwe yayogedde. 

Malokwezza agamba nti omuntu mu ddiini yonna gy'alimu,Katonda asobola okumuweeramu emikisa era n'asaba abantu beyongere okubeera n'eddiini mu mutima ng'eno ky'ekisumuluzo,ekiggulirawo omuntu  ebirungi ebiweebwa Katonda. 

Tofiri Kivumbi Malokwezza ku myaka 92 gy'aliko, akola dduyiro n'okulya enva endiirwa nga bino  bimuyambye okukuuma omubiri nga mugumu anti omulaba bwe yeesimbye obw'entoogo. Abadde mu kusaba okw'okuweza emyaka 92 leero. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dokita ng'agema omwana polio.

Polio taggwangayo - Dokita

GAVUMENTI erabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa polio ne balagirwa obutabugayaalirira bayongere okutwala abaana...

Ababbi kkamera be yakutte nga banyaga edduuka e Bunnamwaya.

Kkamera zikutte ababbi nga ...

ABABBI balumbye edduuka ly’ebizimbisibwa e Bunnamwaya ne banyaga ebintu nga tebamanyi nti kkamera ezaabadde munda...

Abatuuze nga bali mu lukiiko.

Batabukidde omusamize mu lu...

ABATUUZE b’e Jjokolera mu ggombolola y’e Nangabo mu disitulikiti y’e Wakiso balumirizza omusamize okubateega n’abawamba...

Ssaabasumba Lwanga n'omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Ssekandi.

Abaserikale musse ekitiibwa...

SSAABASUMBA w’Essaza Ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye abakuumaddembe okuyisa obulungi Bannayuganda...