TOP
  • Home
  • Buganda
  • Enfa y'Omulangira Ssimbwa ekyali matankane: Aziikibwa ku Ssande

Enfa y'Omulangira Ssimbwa ekyali matankane: Aziikibwa ku Ssande

Added 9th April 2021

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira n’Abambejja naddala abo abamubadde okumpi.

Omulangira Ssimbwa

Omulangira Ssimbwa

Ssimbwa yavudde mu bulamu bwensi ku Lwokuna April 8,2021 mu ddwaliro e Nsambya era ne kitegeezebwa nti yafuna Puleesa ate oluvannyuma n'afuna n'okusanyalala ng'ekyaviiriddeko okufa kwe kyokka bangi bakyatankana ekituufu ekyamusse.

Abalangira n'Abambejja baakolereddewo Pulogulamu ey'ekiseera nga kuliko okutwala omubiri gwa Ssimbwa mu maka ga Kitaabwe Omulangira David Golooba (mu kiseera kino ali e Bungereza gye yagenda okujjanjabwa nga mukosefu) e Kiwafu mu ggombolola Mutuba III Makindye-Kampala mu Kyadondo.

Wabula Golooba yasabye bano abali mu nteekateeka obutatwala mugenzi Kiwafu kubanga abadde muntu mukulu alina amaka n'abaana nga kibeera kirungi atwalibwe mu makaage.

Kino kyakyusizza enteekateeka era olwo Abalangira ababadde Ssimbwa ku lusegere ne beevumba akafubo ku Lwokutaano ku nsonga eno era ensonda zategezezza Bukedde nti wadde omugenzi abadde abeera Komamboga,watono ate ekirala bakyalina ensonga z'okumaliriza ne mukyala waabwe ng'alina okuddamu ebibuuzo ku bulwadde bw'omugenzi!

" Okusinga okugenda mu maka ge abantu balwanaganire eyo,tusazzeewo omubiri gw'omugenzi bwegunaggyibwa mu ggwanika lya A-Plus wakutwalibwa mu kanisa e Namirembe okusabirwa ate olunamaliriza, omubiri gwe gwakutwalibwa mu masiro e Kasubi, gye gunaasula era aterekebwe ku Ssande April 11,2021," Omu ku bategesi bweyategezezza Bukedde.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga naye yabadde waakugenda okusaasira ku baafiiriddwa e Kiwafu  ku Lwokutaano wabula enkyukakyuka ezo ezagguddewo kiteeberezebwa ze zaamusazisizaamu olugendo luno era mu kwogerako eri bannamawulire yategeezezza nga bweyalagidde Minisita w'Obuwangwa n'ennono, Kyewalabye Male okukwatagana n'Olulyo Olulangira okulungamya entereka y'Omulangira enaaweesa ekitiibwa.

Ssimbwa muzzukkulu omukulu owa Ssekabaka Muteesa II era abadde muntu wa bantu nnyo nga mu buli mbeera ajaamu era Bukedde we yatuukidde mu masiro e Kasubi ku Lwokutaano April 9, 2021 ng'enteekateeka zigenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...