TOP

Ab'e Ntungamo bafunye eddagala

Added 18th July 2012

OMUBAKA akiikirira ekibuga ky’e Ntungamo, Yona Musinguzi-Bikwatsizehi alabudde bannabyabufuzi obutakuuma busungu obuddirira kampeyini nga basosola mu batabalonze nti ebyo bikoma na kalulu.

Bya Rwambuka Mugisha

OMUBAKA akiikirira ekibuga ky’e  Ntungamo, Yona Musinguzi-Bikwatsizehi  alabudde bannabyabufuzi obutakuuma busungu obuddirira kampeyini nga basosola mu batabalonze nti ebyo bikoma na kalulu.

Obubaka buno era yabuwadde n’abebyobulamu mu kitundu kye bwe yabadde abakwasa eddagala eryabaweereddwa ekibiina ky’obwannakyewa n’abagamba nti bwe babeera baligabira abantu tebageza ne babasosola okusinziira ku bibiina byabwe gamba NRM, DP oba FDC wabula bagabe lufaaya.
 
Eddagala lino doozi   5000 eribalirirwamu  obukadde bwa ssente za Uganda 15  lyabawereddwa ekibiina kya ‘Performance-Uganda’ .
 
Omubaka yagambye nti ly’abawereddwa  ekibiina kyobwanakyewa ekya Buyindi  ekya Indian Astra Life Care kye yakwana nga kye kyaliyisizza mu kinnakyo ekya  Performance.
 
Erisinga ku ddagala lino  omuli Coartem, Astracid, cammodium, Astodium,dicloas, diclophenic n’eddala liwonya musujja, kifuba n’embiro.
 

Ab’e Ntungamo bafunye eddagala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Kasibante ng'annyonnyola.

'Tusaba Gavumenti eyimirize...

AB'EKITONGOLE ekirwanirira eddembe ly'abantu abasasula emisolo, ekya National Tax Payers Association bavuddeyo...

Bobi

Ekitongole ky'omusolo kimez...

EKITONGOLE ekisolooza omusolo ekya URA kimezze Robert Kyagulanyi ( Bobi Wine) mu musango gw'emmotoka ye etayitamu...

Magogo ng'ayogera mu lukungaana lwa bannamawulire.

Nkomawo okwesimbawo ekisanj...

PULEZIDENTI wa FUFA Ying.  Moses Magogo alangiridde nga bwagenda okwesimbawo mu kisanja ekyokusatu mu August omwaka...

Fr. Joseph Kyakuwadde ng'asomesa mu Mmisa.

Abantu mweggyemu emitima eg...

Abantu mweggyemu emitima egy'obuggya, fitina n'obukyayi kuba bizing'amya  enkulaakulana y'ebitundu.  Fr. Joseph...

Ab'ekitongole ekya Jjaja Foundation nga bakwasa abakadde obuyambi .

Abakadde 200 badduukiriddwa...

ABAKADDE 200  ku byalo eby'enjawulo mu ggombolola y'e Bulamagi mu disitulikiti y'e Iganga badduukiriddwa n'emmere, ...