
Bya Ali Wasswa
ABATUUZE ku kyalo Kyamugasha mu ggombolola y’e Rugando beekyaye ne bakkakkana ku bintu bya bannaabwe ne babisaanyaawo nga babateebereza okutta eyatemuddwa mu bukambwe.
Omugenzi Yona Kurubakanya abadde abeera ku kyalo kino yalumbiddwa abantu abaabadde babagalidde amajambiya n’emiggo mu ssaawa z’amalya g’ekyemisana ku Lwokutaano wiiki ewedde ne bamusala ng’embuzi ne bamutta.
Wabula n’abooluganda abaabadde bazze okuziika beesasuzza ku be bateebereza okutta omuntu waabwe ne balumba amaka gaabwe ne bagasaanyaawo n’okusaawa ensuku n’okutema ebisolo byabwe. Poliisi yatuuse n’ekuba amasasi mu bbanga okubagumbulula wabula ng’ebintu ebisinga bisaanyeewo.
Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Ankole, Polly Namaye yategeezezza nti baakakwata abantu musanvu mu bulumbaganyi buno ng’abalala banoonyezebwa.
Namaye yategeezezza nti n’abaatwalidde amateeka mu ngalo okutta Kurubakanya abamu babakutte.
Akulira ebyokwerinda mu Ggombolola y’e Rugando, Alex Kawuki yategeezezza nti obulumbaganyi buno kyaddiridde abataka okwekolamu omulimu nga n’omugenzi kwali ne bagula ettaka balikolereko ebintu by’okwekulaakulanya wabula ate ne baagala balitunde bagabane ssente ekintu Karubakanya kye yagaana ng’era ensonga zino zaatuuka n’ewa RDC, Clement Kandole n’ayita Ssentebe w’ekyalo, Matayo Tumushabe n’agaana.
Okuva olwo abamu ku banne babadde bamwewerera okumutuusaako obulabe okubalemesa okutunda ettaka. Kawuki yategeezezza nti olwamaze okumutta ne bookya n’enju ye n’esaanawo. Mukyala w’omugenzi, Enid Kurubakanya yategeezezza nti bba baamulanze lwa bintu ebibadde bibakwasa ensaalwa. Yasabye Gavumenti ebadduukirire kuba tebakyalina kantu.
Balumbye munnaabwe abalemesezza okutunda ettaka