TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Banenyezza Gavt. okulemesa Omusinga okukyala e Bundibugyo

Banenyezza Gavt. okulemesa Omusinga okukyala e Bundibugyo

Added 3rd July 2013

ABABAKA ba Palamenti okuva e Kasese banenyezza gavumenti olw’okugaana Omusinga Weasley Mumbere Iremangoma ow’obufuzi bw’ennono obwa Rwenzuuruuru okukuliza amatikkira ge e Bundibugyo ne basaba omubeezi w’omuduumizi wa poliisi avunaanyizibwa ku bikwekweto Mw. Grace Turyagumanawe, agobwe.



Bya AHMED KATEREGGA

ABABAKA ba Palamenti okuva e Kasese banenyezza gavumenti olw’okugaana Omusinga Weasley Mumbere Iremangoma ow’obufuzi bw’ennono obwa Rwenzuuruuru okukuliza amatikkira ge e Bundibugyo ne basaba omubeezi w’omuduumizi wa poliisi avunaanyizibwa ku bikwekweto Mw. Grace Turyagumanawe, agobwe.

Nampala w’oludda oluvuganya Muky. Winnie Kiiza (FDC/Mukazi Kaseese) ye yasoose mu ddiiro n’agamba nti kwabade kutyoboola ddembe lya buntu nga bwe lirambikibwa mu Ssemateeka, Omusinga bwe yagaaniddwa okugenda e Bundibugyo okukulizaayo amatikkira ge so nga gonna matwale ge.

Yawagiddwa William Nzougu (FDC Busongora North) eyagambye nti poliisi teyakomye ku kukugaana Musinga kugenda Bundibugyo, nti naye era yakubye omukka ogubalagala mu bantu b.

Awo Minista omubeezi ow’ensonga ez’omunda, Ambassada James Baba kwe kutegeeza nti okumala ekiseera Omusinga abadde alagaanya okulambula e Bundibgyo kyokka nga Abamba bamugaana nti aligendayo nga bamaze okutikkira omukulembeze owaabwe ow’ennono nti era y’alimwaniriaa naye nga takkiriza.

Wano omubaka Ibrahim Ssemuju (Kyaddondo East) kwe kumulya ekimuli oba Bannayuganda abamu omuli n’abakulembeze b’ennono okuva mu kitundu kya Uganda ekimu okugenda mu kirala balina kumala kufuna lukusa kuva wa Pulezidenti n’anokolayo mu 2009 Kabaka ne Katikkiro bwe baagaanibwa okugenda e Bugerere nti kubanga Ssaabanyala yali tabakkiriza.

Omumyuka wa Sipiika Mw. Jacob Oulanyah yazzeemu nti eddembe ly’obuntu likkiriza buli omu okwegazaanya kasita aba nga takosa mulala.

Banenyezza Gavt. okulemesa Omusinga okukyala e Bundibugyo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dokita ng'agema omwana polio.

Polio taggwangayo - Dokita

GAVUMENTI erabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa polio ne balagirwa obutabugayaalirira bayongere okutwala abaana...

Ababbi kkamera be yakutte nga banyaga edduuka e Bunnamwaya.

Kkamera zikutte ababbi nga ...

ABABBI balumbye edduuka ly’ebizimbisibwa e Bunnamwaya ne banyaga ebintu nga tebamanyi nti kkamera ezaabadde munda...

Abatuuze nga bali mu lukiiko.

Batabukidde omusamize mu lu...

ABATUUZE b’e Jjokolera mu ggombolola y’e Nangabo mu disitulikiti y’e Wakiso balumirizza omusamize okubateega n’abawamba...

Ssaabasumba Lwanga n'omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Ssekandi.

Abaserikale musse ekitiibwa...

SSAABASUMBA w’Essaza Ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye abakuumaddembe okuyisa obulungi Bannayuganda...