TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Katikkiro w'Obusinga n'abalala bagenze mu kkomera ku by'e Bundibugyo

Katikkiro w'Obusinga n'abalala bagenze mu kkomera ku by'e Bundibugyo

Added 23rd July 2014

ABANTU abalala basimbiddwa mu kkooti y’amagye e Kasese okwegatta ku 131 abaasoose okuvunaanibwa e Bundibugyo wiiki ewedde.



Bya HOPE MAFARANGA, ALI WASSWA NE WILSON ASIIMWE

ABANTU abalala basimbiddwa mu kkooti y’amagye e Kasese okwegatta ku 131 abaasoose okuvunaanibwa e Bundibugyo wiiki ewedde.

Be baasomedde emisango eggulo kuliko Baminisita b’Obusinga bwa Rwenzururu okuli: Noa Zahari,
Mesusera Kule ow’abavubuka, Katya Aganatia Owebyenjigiriza, omwogezi Joshua Baluku ne Joshua Balikulungi. Kuno kwabaddeko ne Hamudu Kibolere ssentebe wa LC era baasindikiddwa mu kkomera.

Kkooti nga tennaba kutandika kuwulira misango, ssentebe waayo Maj. Gen. Levy Karuhanga yasoose kugoba bannamateeka abaabadde bazze okuwolereza abamu ku basibe ng’agamba nti tebaatuukirizza mitendera gye balina okuyitamu okusobola okukkiriza abantu baabulijjo okuwoza mu kkooti y’amagye.

Yalambuludde nti bano baabadde balina okuwandiikira kkooti nga wabulayo essaawa 24 etuule kye bataakoze. Munnamateeka Godfrey Tubendire Bigogo, omulamuzi yamukkirizza atuule mu kkooti awulirize ng’abantu abalala ne Patience Nansiima abadde ava mu Uganda Christian Lawyers Fraternity.

Abavunaanibwa baworerezebwa Cap. Ronald Anduli ate Cap. Fredrick Kangwamu ye yakiikiridde Gavumenti. Kkooti yatudde ku Rwenzori Square mu munisipaali y’e Kasese ku Lwokubiri.

Ate ababadde bakulira poliisi e Bundibugyo baabadde basuubirwa okulabikako mu kkooti y’ekitongole ekikwasisa empisa mu poliisi olw’okulagajjalira mulimu gwabwe n’okulaga obutiitiizi nga balumbiddwa.

Abaserikale 6 okuli n’eyali aduumira poliisi e Bundibugyo, Alex Mwine Mukono okutuusa eggulo baabadde bakyali mu kaduukulu ka poliisi e Fort Portal nga kigambibwa nti baafuna amawulire nti waliwo abategeka okukola obulumbaganyi ne bateetegeka n’okulemwa okutegeeza bakama baabwe aba waggulu.

Abalala abaavunaaniddwa kuliko: Sylevest Thembo, Jochoniah Thembo, Jimmy Osomelle, Alfred Muhindo ne Alex Nuwagaba.

Eyabadde akulira poliisi y’e Kirindi e Bundibugyo, Robert Tenywa abaalumba gwe baakuba amasasi ne bamuzuula ng’ali mu ddwaaliro e Mulago oluvannyuma lwa wiiki yategeeza Bukedde nti baali bafunyeamawulire nga waliwo abaagala okulumba ebyalo ne basula bulindaala mera abalabe baamuzinduukiriza katono bamutte.

Ku Mmande ab’ebyokwerinda e Ntoroko ekimu ku bitundu awaali obulumbaganyi, baakutte Vincent Bwambale omuyambi wa ssentebe wa LC V e Ntoroko nti y’omu ku baalumba poliisi e Ntoroko ne babba emmundu okusinziira ku Bashir Bakari, omwogezi wa poliisi mu kitundu.

Abantu 131 be baasimbiddwa mu kkooti y’amagye wiiki ewedde e Bundibugyo ne bawozesebwa
ku misango egy’enjawulo okuli egy’obutemu, okusangibwa n’ebissi n’okugezaako okutta abantu.

Katikkiro w’Obusinga n’abalala bagenze mu kkomera ku by’e Bundibugyo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...