TOP

'Nze Kabaka w'Abakonjo omutuufu'

Added 3rd August 2014

WUUNO omusajja agamba nti, ye Kabaka w’Abakonjo omutuufu, nti obufuzi obuliyo kati bwa kicupuli.Bya ANTHONY SSEMPEREZA

WUUNO omusajja agamba nti, ye Kabaka w’Abakonjo omutuufu, nti obufuzi obuliyo kati bwa kicupuli. 

Omulangira Swaleh Tibamwenda Basi­kania atudde wa Bbakuli mu Kampala era w’azaalidde abaana be.

Agamba: “Ekiseera kyange ekisinga nkimaze mu Buganda mwe najja mu myaka gya 1960. Ebyobuwangwa byange mbimanyi bulungi era nzize mbigoberera nga mpa n’amagezi naye nga tegatwalibwa, era kivuddemu kuyiwa musaayi.

Nze Mulangira omutuufu okulya obwami era nze nsaanidde okuba omukulembeze omutuufu ow’Abakonzo. Obuzaale bwange buva ku mukulembeze w’Abakonjo eyasookera ddala era lwe lunyiriri mwe nva.

Kitange ye George Basikania eyafuga Abakonjo n’Abamba okuva mu 1948 - 2004. Ndi muzzukulu wa Isebaghuda eyafuga Abakonjo okuva 1897 - 1948, ndi muzzukulu wa Mukeeri (1864-1897), ndi muzzukulu wa Mubingi (1831-1863), ndi muzzukulu wa Ithungu Thenga (1821-1830). Ndi muzzukulu wa Mulirane (1806-1814), ndi muzzukulu wa Kithi Kyolho (1802-1805) era ndi muzzuku­lu wa Bikene (1791-1801). Ndi muzzukulu wa Mbimburi (1772-1790), ndi muzzukulu wa Mbwanga (1764-1772), ndi muzzukulu wa Lhubango (1720-1763), Mugisha (1683- 1720), Katubiro (1673-1683) ne Twogho Kinyabondo omufuzi omubereberye ow’Abakonjo eyafuga mu 1630-1673.

OBWA RWENZURURU
Obufuzi obuliwo kati mu Bakonjo obwa Rwenzururu bwatandika jjo ly’abalamu ng’ekibiina ekyajja okulwanirira Abakonjo abaali basosolwa Abatooro.

Twasosolwa nnyo Abatooro era nga kizibu Omukonjo okuweebwa sikaala okusomako kug­gyako ng’olina erinnya ery'efaanaanyiriza ery’Abatooro era nze erinnya lya Tibam­wenda lye lyannyamba okusoma.

Okusosolwa kwe kwawaliriza Abakonjo okussaawo ekibiina okulwanyisa Abatooro nga kyakulemberwa Isiah Mukirania.

Ono yakola ensobi, Omuzungu bwe yamut­wako e Ntebe n’amulaga Ssemateeka wa Uganda n’akiraba nti Abakonjo te­bassiddwa mu ssemateeka ng’eggwanga eryetongodde, kwe kudda eka n’abakunga okulwana okutondawo eggwanga eryabwe beetongole ku Uganda.

Kino abamu twaki­wakanya nnyo era okutting’ana ne kutan­dika wakati w’abawakanya endowooza ya Mukirania era abantu 500 be baafa.

Bino byaliwo mu myaka gya 1960 era Obote yalwanyisa aba Rwenzururu okutuusa lwe yaddukira e Congo. Bwe yafa, muta­baniwe Charles Mumbere kati Omusinga n’amusikira.

Ono yatandikira kitaawe we yakoma naye n’adda mu nsozi n’alwanyisa abamuwakanya era ekittabantu kibaddewo wakati w’abamuwakanya.

OBUZAALE BW’OMUSINGA
Charles Mumbere matabani wa Isiah Mikirania ono nga muzzukulu wa Ma­sanduko eyali omulaguzi e Congo mu disitulikiti y’e Mathungo ku kyalo Mut­wanga ng’eno yagobwayo mulaguzi munne n’addukira mu Uganda, n’asenga ku kyalo Kirindi ekisangibwa e Busaru Bwamba.

Ku kittabantu ekyabadde e Bundibu­gyo, Tibamwenda agamba nti si ntalo z’amawanga, wabula bano batting'anye lwa kuwakanya bukulembeze bwa Rwezururu bwe bagamba nti tebuliiyo.

Agattako nti n’ekigambo kye yakozesa eky’Omusinga teki­rina makulu, ekituufu kyandibadde Obwami bwa Bakanjo n’Abamba.

‘Nze Kabaka w’Abakonjo omutuufu’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paasita Ssenyonga ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire

Paasita Ssenyonga atuuzizza...

Ayogedde ku mugenzi nga abadde nabbi ow'obulimba , omukabassanyi w'abakazi era nga waafiiridde abadde awerebye...

Omugenzi Col Shaban Bantariza

Col Bantariza afudde Covid1...

Gavumenti ekakasizza nti omugenzi Col. Shaban Bantariza yafudde kirwadde kya Covid 19.

Akulira emizannyo mu Poliisi, AIGP Andrew Sorowen ng’ayambaza Cheptegei ennyota.

Poliisi eyongedde Cheptegei...

OMUDDUSI Joshua Cheptegei ayongedde okugwa mu bintu, ekitongole kya Poliisi bwe kimulinnyisizza eddaala ne kimuwa...

Abagoberezi ba Paasita Yiga...

Abagoberezi ba Paasita Yiga Mbizzaayo beeyiye ku ddwaaliro e Nsambya okukakasa oba ddala kituufu omutuufu waabwe...

Emiranga n'ebiwoobe bisaani...

Emiranga n'ebiwoobe bisaanikidde ekkanisa y'omusumba Yiga eyavudde mu bulamu bw'ensi. ...