TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ezzike liwambye ebbujje; limukeccuddeko obusajja

Ezzike liwambye ebbujje; limukeccuddeko obusajja

Added 24th September 2014

Omwana ow’emyezi ebiri ali mu ddwaliro ekkulu e Hoima apooca na bisago oluvannyuma lw’ezzike okumuwamba ku nnyina.

Bya George Niyonzima

Omwana ow’emyezi ebiri ali mu ddwaliro ekkulu e Hoima apooca na bisago oluvannyuma lw’ezzike okumuwamba ku nnyina.

Omwana ono (amannya gakisiddwa), nga mutabani wa Rosemary Nyangoma ,40, ne Nyasio Byaruhanga 40, nga bonna batuuze b’e Kikinga-Nyarugabo, mu gombolola y’e Bugambe mu disitulikiti y’e Hoima abadde azazikiddwa wansi w’omuti okumpi ne nnyina waabadde alima.

Ezzikke lisituddewo omwana ne lidduka naye era enswagiro yalyo yeetanudde Nyangoma okutunula awabaddeomwana we nga tamulabawo.

Okutunula ku zzike nga limusitudde lidduka naye kwe kukuba enduulu esoombodde abatuuze.
Nyangoma eyasangiddwa mu woodi ya kazolite annyonyodde nti bwe balifunzizza, ezzike omwana limukwese mu nsiko we bamusanze naye nga limutuusizzaako ebisago eby’amaanyi naddala ku magulu n’ebitundu eby’ekyama.

Nyangoma nnyina w’omwana agamba nti “nina okutya kw’amaanyi simanyi oba omwana wange alizaala kubanga ezzike limulumye nnyo n’okumukwagula mu bitundu bye ebyekyama” Okuva jjo lwelyamulumye tanayonkako, tanebakako akaaba bukaabi”

Byaruhanga, kitaawe w’omwana nga kinyoozi mu katawuni ke Kalongo mu Hoima agamba nti amazike gano gaaleetebwa mu kibira kye Mumpundu okumpi ne nnimiro z’abantu n’asaba abakwatibwako okumuwa obuyambi kubanga ye talina ssente zimala kujjanjaba mwano ono.

Byaruhanga agamba nti omwaka oguwedde era ezzikke lya ddusa mutabani we omulala.

Francis Mulwanyi, ng'ayakulira eddwaliro ly’e Hoima yakiggumizza nti amazike gasusse okulumba abatuuze mu kitundu kino.

Bukedde Online bwagezezzako okufuna ekigambo okuva mu ba Uganda Wildlife Authority (UWA) n’aba Chimpanzee Sanctuary and Wildlife Conservation Trust (CSWCT) abavunaanyizibwa ku mazike gano naye ne batabafuna kubanga tebabadde mu woofiisi wetutuukiddeyo..

Abatuuze bagamba nti guno ssi gw’emulundi ogusoose amazike okulumba abaana mu kitundu kino.
Mu mwezi ogw’omukaaga omwaka oguwedde omwana ow’emyezi omukaaga okuva e Mparangasi-Kyabigambire mu Hoima amazike g’amusika mu mugongo gwa nnyina ne gamutuusaako obulabe obw’amaanyi.

Omwana yaddusibwa mu ddwaliro e Hoima oluvannyuma lwokumenyeka okugulu.

Ezzike liwambye ebbujje; limukeccuddeko obusajja

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...