TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusajja akubye abaana 2 akakumbi n'abatta e Isingiro

Omusajja akubye abaana 2 akakumbi n'abatta e Isingiro

Added 23rd December 2014

OMUSAJJA akutte akakumbi ku kyalo n’alumba amaka 4 n’ava nju ku nju ng’agenda akuba abaamu ku mutwe era n’atta abaana babiri abantu abalala ne basigala n’ebisago nga bataawa.

 Bya DAMBA WIZIRI

OMUSAJJA akutte akakumbi ku kyalo n’alumba amaka 4 n’ava nju ku nju ng’agenda akuba abaamu ku mutwe era n’atta abaana babiri abantu abalala ne basigala n’ebisago nga bataawa.

Olwamaze okutta abaana yabadde akyalumba amaka amalala okubakuba abatuuze ne bakung’aana ne bamukuba naye ne bamutta ne baamuziika kiro.

Baliraanwa be baategeezezza nti yasoose kutabuka mu kiro ku Lwomukaaga n’atandika okulaya enduulu kyokka n’akkakkana.

Ssande lwakedde nga bulijjo kyokka zaabadde ziwera ssaawa 10:00 olweggulo abatuzze ne babategeeza ekyabagudde Nicholas Kyakabaale n’akwata akasimo n’alumba nju ku nju ng’agenda akuba abantu okukkakkana ng’asse abaana Ronia Atuhwereire 2 muwala wa Edison Tulyamuleeba ne Sharon Akakwasa muwala wa Pouson Nsiimire.

Olwavudde eyo yalumbye nnamukadde Winnie Busherekyire, 77, ne Breach Atukorera, 4, be yakubye naye ne basimattuka.

Kyakabaale abadde mupakasi ku kyalo Ruhiira ggombolola ya Nyakitunda e Isingiro.

NAMUKADDE BUSHEREKYIRE EYASIMATTUSE ALOJJA:

Nabadde nsitudde sseffuliya ya mmere era nagenze okulaba ng’omusajja ajja gyendi ng’andezeemu enkumbi ne nkuba enduulu okuyambibwa.

Newankubadde nakubye enduulu, Kyakabaale yannumbye bulumbi. Mu kwerwanako nnataddeyo sseffuliya y’emmere era eno gye yakubye n’atankwasa mutwe nga bweyabadde ayagala.

Kigambibwa nti Kyakabaale abadde atera okupakasa mu maka g’abazadde b’abaana be yasse.

Kigambibwa mu kazigo mw’asula bwe mwayaziddwa mwasangiddwamu ekiveera ky’enjaga.

Omusajja akubye abaana 2 akakumbi n’abatta e Isingiro

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...