TOP

Abeddiini egaana abantu okwewandiisa babakutte

Added 7th January 2015

ABEDDIINI y’enjiri abalala 15 bakwatiddwa poliisi lwakubulila ngiri yakugana bantu kwewandiisa mu densite z’eggwanga.

Bya DAMBA WIZIRI

ABEDDIINI y’enjiri abalala 15 bakwatiddwa poliisi lwakubulila ngiri yakugana bantu kwewandiisa mu densite z’eggwanga.

Bagamba nti okwewandiisa kukontana n’ebyawandiikibwa mu bible.

Poliisi y’e Mbarara eyodde abantu 15, ab’enzikiriza etaategerekese eri ku kyalo Kyabiranga mu ggombolola y’e Bukiro mu disitulikiti y’e Mbarara, abaakubye olukung’aana nga babuulira enjiri egaana abatuuze okugenda okwewandiisa okufuna densite y’eggwanga. Abantu bano bagamba nti abeewandiisa bakontana n’ebyawandiikibwa mu Bayibuli era bagoberera sitaani.

Baategeezezza nti bo tebasomesa baana baabwe mu masomero ga lukale kwegatta n’abaana abalala era babasomesa Bayibuli yokka.

Aduumira poliisi mu disitulikiti y’e Mbarara, Dickens Bindeeba, yategeezezza nti abaakwattiddwa baakuggulwako emisango egy’enjawulo okuli okutaataaganya enteekateeka za Gavumenti era kyazuuliddwa nti abantu bangi mu ggombolola y’e Bukiru e Mbarara, baabadde baagaana okwewandiisa olw’enjiri ebabuulirwa.

Ssentebe w’eggombolola ya Bukiro, David Tushabe Kitengye, yategeezezza nti oluvannyuma lw’abantu bano okukwattibwa, abatuuze abantu ababadde tebannewandiisa beewandisisizza.

Ssentebe w’ekyalo kino, James Seruwagi, yategeezezza nti eddiini eno tetegeerekeka ngeri gye yajja ku kyalo. Abakkiririza mu ddiini eno abatuuze bonna tebasomeseza baana baabwe mu masomero galukale wabula babasomesa Bayiubuli yokka.

Tushabe Kitengye, agamba nti eddiini eno, tekkiririza mu tekinologiya, era tebakwata ssimu, tebabatwala mu masomero ga lukale kubanga babawa densite omuli ne nnamba 666 gye bagamba nti ya sitaani.

Abeddiini egaana abantu okwewandiisa babakutte

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...