TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aggye omuwala e Mbarara n'amukozesa yintaviyu ennaku 4 mu loogi

Aggye omuwala e Mbarara n'amukozesa yintaviyu ennaku 4 mu loogi

Added 11th March 2015

OMUSUUBUZI w’e Nateete bwe yagenzeeko e Mbarara n’alabayo omuwala. Yamusabye abazadde ng’abakakasizza nti amutwala kumuwa mulimu mu kkampuni ekola engoye, kyokka bwe yamuleese baasibidde mu loogi!

Bya ALI KIZZA

OMUSUUBUZI w’e Nateete bwe yagenzeeko e Mbarara n’alabayo omuwala. Yamusabye abazadde ng’abakakasizza nti amutwala kumuwa mulimu mu kkampuni ekola engoye, kyokka bwe yamuleese baasibidde mu
loogi!

Jovlet (amannya amalala galekeddwa) yamala P.7 omwaka oguwedde, kyokka wadde banne baatandika dda emisomo mu S.1, mukaziwattu abadde agoba binyonyi mu kasooli nga bazadde be bamutegeeza kimu – “Ssente tewali”.
We zaaleetedde omusuubuzi Milton Muhanguzi 44, eyavudde e Nateete. Yeefudde ayagala okubagulako embuzi era gye byakkidde ng’abamatizza nti alina kkampuni erimu ebyalaani eby’omulembe era ‘akola engoye’ n’azisuubuza abazeetaaze.

Abazadde baalabye ku ‘ndaba ku ki?” era amangu ago baalagidde Jovlet ne yeesuulako engoye, obuntu bwe obulala n’abussa mu kaveera ne bamukwasa Milton ne boolekera Kampala.

YAMUWADDE YINTAVIYU ENZIBU
Jovlet agamba nti baatuukidde mu ppaaka (gy’atamanyi bulungi) era Milton n’amugamba nti: Nnina okusooka okulaba emirimu egiri mu kkampuni yange, nnindira wano tovaawo, nkomawo mangu.

Nti omuwala yalindidde essaawa nga ssatu nnamba, era Milton yakomyewo awejjawejja ne balinnya emmotoka endala eyabatuusizza e Nateete. Olwo obudde bwabadde buwungedde era omuwala yeekanze basibidde ku loogi eyabaddeko ebigambo “Sinai Guest House” esangibwa mu Central D Zooni.

Kiteeberezebwa nti ekiseera Milton kye yamaze ng’alese omuwala mu ppaaka, yabadde akola ku bya loogi.
Omuwala agamba nti yeekengedde ng’alaba bayingira loogi n’abuuza Milton ekigenda mu maaso, era kwe kumwanukula nti: Maneja mu kkampuni antegeezezza nti tebasobola kukuyingiza ku mulimu nga tomaze kuyiga Luganda.

Yamukakasizza nti bagenda kusula mu busenge bwa njawulo, kyokka n’amugamba nti agenda kuwaayo obudde ng’ali mu kasenge ka Jovlet ng’amuyigiriza Oluganda, kw’ossa okumubuuza ebibuuzo okuzuula oba olulimi alukazizza.

Ebigambo ebisookerwako omuli eby’okubuuza n’okwebaza byamwanguyidde, kyokka Milton n’azuulayo ekigambo kimu ekyalemye Jovlet okutereeza era kino kw’atambulidde ennaku 4 z’amumazizza mu loogi. Omusajja abadde akeera n’agenda ku mulimu n’akola ate akawungeezi n’akomawo kyokka nga buli lw’adda amugamba:

Yogera nti OMUFALISO” olwo omuwala n’ayanukula nti “Omufarasi……” Awo Milton ng’amutegeeza nti “Okigudde”, era kino nga kitegeeza kiro kirala mu loogi! Abadde aleka amusibidde mu kasenge ka loogi, ng’akomawo kumuwa mmere

Poliisi ng’ekunya Muhanguzi (wakati). Ku kkono ye muwala

ABA LOOGI BAMULOOPA KU POLIISI

Omu ku bakozi ba loogi amanyiddwa nga Annet, yategeezezza Bukedde nti bwe baalabye ng’omuwala ono balekabamusibidde mu kasenge ne beekengera.

Mu kusooka Milton yabategeeza nti oyo muwalawe, kyokka ate baagenze okulaba nga basula babiri mu kasenge kamu. Omuwala yabadde alabika nti tannaweza myaka 18 era bwe baagasseeko ekiragiro Milton kye yabawadde eky’obutakwasa muwala ono ku ssente (bbaalansi), ne kyongera okubakanga.

Milton yabadde atya nti omuwala bw’afuna ssente asobola okutoloka n’addayo ewaabwe (erinnya ly’ekyalo lirekeddwa) e Mbarara.
Baategeezezza poliisi y’e Nateete n’ejja n’ekwata Milton n’emuggalira. Omuwala yamulumirizza okumukaka buli
Milton yawakanyizza eby’omuwala n’agamba nti n’okumuggya mu kyalo abazadde yabagamba nti amutwala kukola bwa yaaya mu maka ga mukwano gwe gw’amanyiiko erinnya limu erya Charles.

Nti eby’embi, agenda okutuuka mu Kampala ng’essimu ya Charles teriiko ate nga tamanyi mukwano gwe ono w’asula ng’alina kuteteenkanya asuze omuwala ono mu loogi nga bw’agezaako essimu okutuusa lw’enaddako. Wabula nti okuva olwo, essimu ebadde teddangako.

Omuwala ng’ali ku poliisi e Nateete baamubuuzizza emyaka gy’alina, wabula aba tannayanukula, Milton n’amwesooka n’ategeeza nti: Afande, omuwala alina emyaka 19.

Awo n’omuwala kwe kunywerera ku myaka 19.Akulira ebikwekweto ku poliisi y’e Nateete Moses Muzima yategeezezza nti bali mu kaweefube afuna bazadde ba Jovlet bababuulire emyaka gy’omwana emituufu n’okukola ku by’okutwala omuwala okukeberebwa, balyoke basalewo emisango gye bamuggulako. Yagambye nti mu kiseera kino bamukuumira ku poliisi e Nateete.

 

Aggye omuwala e Mbarara n’amukozesa yintaviyu ennaku 4 mu loogi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...