TOP

'Baze bw'anyiiga yeeyambula'

Added 24th February 2013

ABAFUMBO bafunye obutakkaanya okukkakkana ng''ensonga ziggweeredde ku poliisi e Kabalagala, omukazi gy’asabidde baawukane ng''agamba nti buli lw’anenya ku bba, yeeyambula n’amukunamira.

Bya JUDITH NALUGWA

ABAFUMBO bafunye obutakkaanya okukkakkana ng'ensonga ziggweeredde ku poliisi e Kabalagala, omukazi  gy’asabidde baawukane ng'agamba nti buli lw’anenya ku bba, yeeyambula n’amukunamira. 

Beatrice Kobusingye omutuuze w’e Muyenga -Kayongo Zooni mu ggombolola y’e Makindye agambye nti takyasobola kufumba wa Ssaalongo Joseph Bukenya olw'empisa ezo. 

Agasseeko nti; Ssaalongo ansuza mu kifo kimu ne muggya wange ate muggya wange yeegatta ne nnyina ne banvuma. Ssaalongo andiisa akakanja nga kw’atadde n'okunkunamira nga mmunenyezzaako era nkooye okumpemulanga

Ssaalongo: Omukazi antiisatiisa okunzita n'ekiso ky’ansongamu buli kiseera era lumu yakwata  asidi eyali mu bbaatule y’emmotoka n’amunjiira mu mutwe.

Kobusingye: Kituufu Ssaalongo namuyiira asidi kyokka saamanya nti yali asidi kubanga nakikola mu busungu. 

Oluvannyuma lw’okulemererwa okukkaanya, bakoze endagaano mu maaso  g’omuserikale abadde abatabaganya, Jennipher Ndegemu ne baawukana era Ssaalongo n’akkiriza  okupangisa enju maama w'abaana akulizeemu abaana baabwe  ababiri n'okubawanga ssente z'obuyambi.

 

‘Baze bw’anyiiga yeeyambula’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Spoon X Lounge bataddewo amaduuka

Corona anyize ab'ebbaala ne...

Eyo y'embeera ekirwadde kya corona we kituusizza bannannyini bifo ebisanyukirwamu naddala ebbaala. Oluvannyuma...

Omukazi yabuuka n'eyavaako ...

ABAKAZI abasinga tebalina bugumiikiriza! Maama w’abaana bange bwe bansiba mu kkomera e Luzira nagenda okuvaayo...

Pogba owa ManU (ku kkono) ne Zaha owa Palace baddamu leero okusisinkana.

ManU tetidde Crystal Palace

LEERO (lwamukaaga) zaakudda okunywa batabani ba Ole Gunnar Solskjaer (aba ManU) bwe banaaba balwana okukakasa ensi...

Bashir Mutanda

Mbarara etutte Bashir Mutanda

MBARARA City FC eraze amaanyi bw’esitukidde mu abadde omuteebi wa SC Villa, Bashir Mutanda n’assa omukono ku ndagaano...

Kizza (ku ddyo) ng’akwasa Mayeku omujoozi gwa URA.

Tukooye ennyonta y'ebikopo ...

SSENTEBE wa URA FC, James Kizza agambye nti ennyonta y’ebikopo ebasusseeko nga sizoni eno baagala basitukire mu...