
Bya SHAMIM NABUNNYA
POLIISI ekutte omusajja agambibwa okutandika olutalo ku muyimbi Jose Chameleon (ku ddyo) mu Club ya Dancer ku luguudo oludda e Salaama.
Shafick Kasambira (ku kkono) omutuuze w’e Namasuba - Kikajjo Zooni mu ggombolola y’e Makindye Ssaabagabo, akuumibwa ku poliisi e Katwe oluvannyuma lw’okulwana ne Jose Chameleon.
Kasambira yategeezezza poliisi nti, zaabadde ssaawa musavu ez’ekiro ng’ali ne mukaziwe nga mu nsawo alinamu emitwalo 37, ne bayingira mu kiraabu era ne batuula kumpi ne Chameleon.
Wabula Chameleon n’atandika okumuvuma nti, ''Kino ekisajja kikola ki mu kiraabu nga tekirina ssente? Agamba nti, “Namuzzeemu nti, “togenda kunvuma nga tondiisa.” Wano kwe kutandika okulwana ye mukaziwe n’adduka.
Oluvannyuma baamututte ku poliisi Chameleon n’amuggulako emisango okumukuba n’okwonoona mmotoka yaabwe. Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi y’e Katwe, Benon Ayebare yategeezezza nti, baggalidde Kasambira n’aggulwako omusango gw’okwonoona ebintu bya Chameleon n’okulwana ku fayiro nnamba SD REF 03/27/02/2015.
Abaabadde mu kiraabu bagamba nti, Chameleon yabadde ayagala balwane oba bukya bukye kyokka bakanyama ne babiyingiramu.
Chameleon alwanye n''omusajja mu bbaala