TOP

Mmotoka ya buyonjo bw’entwalako ne ng’aana okusasula nvunaanibwa?

Added 23rd June 2011

Nalina pamiti nga mmaze nayo emyaka etaano n’embulako. Nkole ntya okuddamu okufuna endala? Venance Baguma.
Ndirugendawa: Genda mu mpapula z’amawulire olange pamiti yo, oluvannyuma okwate olupapula okuli ekirango ogende ku poliisi ekukolere ebbaluwa. Byombi bitwale mu URA ojja kuweebwa foom

Nalina pamiti nga mmaze nayo emyaka etaano n’embulako. Nkole ntya okuddamu okufuna endala? Venance Baguma.
Ndirugendawa: Genda mu mpapula z’amawulire olange pamiti yo, oluvannyuma okwate olupapula okuli ekirango ogende ku poliisi ekukolere ebbaluwa. Byombi bitwale mu URA ojja kuweebwa foomu z’ojja okujjuza okuddizibwa pamiti.

Lwaki mmotoka ezisinga ennaku zino zirimu eng’ombe ez’amaanyi ennyo nga singa bagikubira ng’obadde mu birowoozo osobola n’okukutuka omutima? Luke Tamusuza e Nateete.
Ndirugendawa: Mmotoka okubeeramu eng’ombe etakkirizibwa olw’enkula yaayo kimenya mateeka kyokka kino kirina kukolebwako kitongole bya byantambula n’avunaanyizibwa ku kukebera ebidduka olwo ffe ne tussa mu nkola ebisaliddwaawo.

Lwaki mu biseera by’obubenje baddereeva bbo batwalibwa okuba nti be babeera mu nsobi wadde nga ddala abantu abatambuza ebigere oluusi basala ekkubo nga tebafaayo? Joseph Lutaaya e Kabuusu.
Ndirugendawa: Kituufu abantu basala nga tebafaayo kyokka olw’okuba nti bbo tebalina ssomero mwe batwalibwa kusomesebwa ate nga baddereeva basomesebwa, balina okuba abeegendereza okusinga abalala kyokka singa oleeta obujulizi amazima gamala ne gasalibwa.

Singa ntuula mu mmotoka y’ekitongole ewandiikiddwaako PMO ne tufuna obukattaaknay mu nsasula naddala mu biseera by’okuggya abaana ku msomero n’okudda eka nga mmotoka zibuze nkola ntya? Ronald Mbijja e Biina-Mutungo.
Ndirugendawa: Mmotoka zino tezikkirizibwa tutikka bantu ba kusasula era ddereeva waayo singa akwatibwa ng’ataddemu abantu abasasula ssente avunaanibwa kukozesa mmotoka omulimu okutagikkirizibwa kyokka naawe olina okumanya nti mmotoka gy’olinnya tekkirizibwa era obeera n’omusango.

Nneewuunya lwaki poliisi naddala eya 999 bw’ogiyita nga waliwo akabenje akaguddewo baagala nnyo okusooka okukwata mmotoka oba ddereeva atomedde ng’omuntu ali wansi ataawa? Prossy Nagujja e Ntebe.
Ndirugendawa: Ebiseera ebimu abantu ababeerawo be batayamba ku poliisi kugiragirira watuufu wali muntu akoseddwa kyokka omulimu gw’okutaasa obulamu ng’omuntu agudde ku kabenje si gwa poliisi yokka, naawe singaoalaba munno ng’afunye akabenje musse mu mmotoka omutwale mu ddwaaliro.

Tugambibwa nti bodaboda tezirina kutikka basaabaze basukka omu kyokka osanga nga kuliko n’abawera abasatu nga abaserikale batunuulira ntunuulire nga zibayitako. Ddi abantu bano lwe bakwatibwa kubanga ndaba bye bimu ku bivaako obubenje. Israel Lutalo e Kasero
Ndirugendawa: Kituufu bodaboda tezikkirizibwa kutikka kusukka musaabaze omu kyokka nga tetunnaba kukwata babodaboda naawe atuddeko olina okukimanya nti obeera ovunaanibwa okukkiriza okukutikka akabindo era abantu bano bakwatibwa.

Lwaki abaserikale ba poliisi z’ebidduka basala emisango nga tebamaze na kutuuka mu kitundu we gubadde ne balowooza nti asoose okubatuukako naddala ng’alina ssente y’abeera omutuufu? Dan Kakooza e Busega.
Ndirugendawa: Okusala nti omu y’ali mu nsobi nga tosoose na kutuuka w’abadde  ebeera nsobi kyokka ggwe singa osingisibwa omusango ng’okakasa tobadde mu nsobi genda weekubire enduulu eri abamusingako ojja kuyambibwa.

Ndaba abatakisi nga bakubira aba bodaboda eng’ombe bave ku luguudo. Kino kituufu? Lule, Bwaise
Ndirugendawa: Kino kikyamu kuba buli omu alina olukusa okukozesa oluguudo mu ngeri ennungi kuba buli omu awa omusolo. Owa takisi asaanye okulindako owabodaboda ayitewo bw’aba y’aolina olukusa.

Mmotoka ya buyonjo bw’entwalako ne ng’aana okusasula nvunaanibwa?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...