Nasooka kubitembeeya ku mutwe mu Kampala okutuusa lwe nafuna ssente ne ngula akagaali. We njogerera mbiguzeemu emmotoka mwe mbitundira.Â
Sseevuma mulimu gwange kuba nfissa amagoba agasukka mu 25,000/- buli lunaku.
Olw’okukola ennyo nnatandikawo ka bizinensi kange aka
Nooh Nabwaga Food Products e Katwe nga nako ka byakulya we nkolera ne mbitambuza mu kibuga ku makya n’akawungeezi.Â
‘Omulimu gw’okufumba naguyigira ku kitange omugenzi Sheikh Yusuf Yiga eyafumbanga omuceere n’okukamula ebyokunywa e Katwe mu 1979.
Nakoma mu S.2 ne nzira mu kwokya ebyuma, gye nnava ne ng’enda mu buvubi e Nakasongola.
Eyo navaayo nga wala ne nzira mu kwokya ebyuma okutuusa mu 2000 lwe natandika okusiika amandaazi.
Emirimu gino sigyenyumirizaamu kuba ne ssente ze natandisa okusiika amandaazi maama ye yazimpa ne ntandika ne pakiti y’eng’ano emu.
Nagasiikiranga wa maama e Namasuba mu Kakajjo ne ngaleeta mu Kampala ng’erindaazi nditunda 100/- pakiti y’eng’ano ne ngifunako amagoba ga 700/-.
Nagula akagaali ne ntundira omwo n’oluvannyuma ne nfuna akookubiri ne nkawa omwana ne tukola babiri.Â
Natereka mpola ssente ne mpeza 3,500,000/- ne ngula mmotoka mu 2005 mwe nkolera.
Okusoomoozebwa okuliwo kwe kuvuganya okungi mu katale kuba bangi bakola ebyokulya n’abamu ne bakola bubi ne batuvumaganya ekigoba bakasitoma.
Wabula nsula njiiya n’okuwuliriza okuwabulwa kwa bakasitoma ekinnyambye okubakuuma nga bangulako.
Nafuna abaana abatambuza ebyokulya byange mu baketi n’obugaali wonna mu Kampala ekinnyamba okwongera ku magoba.
Nsiika capati eza 500/-, sumbuusa ez’ennyama ne kawo 400/-, amandaazi 300/-, kabalagala 250/- n’ebyokulya ebirala kwe nzisa okufumba keeki z’emikolo.
Ekirala bbeeyi y’ebikozesebwa erinnye nnyo ng’ate abaguzi bakendedde.
Bye nfunyemu
l Nzimbyemu amaka agali mu Bagirinnya zooni e Katwe.
l Mpeeredde
abaana.
l Nkozesa abavubuka 10 abeeyimirizzaawo ku mulimu guno.
BYA EDWARD SSERINNYA
‘Capati ze zinnyimirizzaawo’