lBammemba gye bakoma okuba abangi ne ssente ekibiina ze kitereka ziba nnyingi era kino kyanguyiza ayagala okwewola okufuna amangu ssente.
lBuli mmemba alina okutereka naye era alina okwewola, kuba amagoba g’ekibiina geeyongera. Gano gaggyibwa ku ssente buli muntu z’aba yeewoze. Bw’oteewola, amagoba ga ssente z’ofuna ku z’oterese mu SACCO tegaba mangi.
lBammemba mukolagane n’abaddukanya SACCO yammwe efune ebintu ebikalu bye musobola okulabirira. Ate birina okuba nga byeyongerako. Kale SACCO yammwe bw’etandikawo eddundiro ly’ente oba enkoko kimanye nti mugenda mu maaso.
lSACCO eyo bw’eba etunda emigabo kiba kirungi buli omu okugula gyonna gy’asobola kuba gy’okoma okugula emigabo n’okufuna amagoba ku bintu ebikalu by’eba nabyo.
Bammemba abamu bwe baba ne ssente ku akawunta baagala bwe beewola bazibalire kw’ezo ze beewoze baleme kuzza magoba. Kino kikyamu kuba ziba zikola nga musingo nti oli mmemba omujjumbize.
Ssinga mmemba yeewala okwewola, buzinensi ze zisigala ku ssa lye limu. Ekitegeeza bwe ziba za kweyongerako ekyandisobose mu bbanga lya wiiki emu nga afunye ssente ez’omuzindo ate kimutwalira mwaka. Kino kireetawo enjawukana wakati w’abo ababa beewoze n’abateewola.
 Bino byatuukiddwako mu lukungaana ttabamiruka olw’omulundi ogw’ekkumi n’omusanvu olw’ekibiina kya ‘Naddangira Agali Awamu SACCO ogwabadde ku kitebe kyabwe e kikulu e Kakiri’ era nga mu kiseera kye kimu baajaguzza SACCo eno okuweza emyaka 17 nga eweereza.
Ye akola ogw’okubalirira ebitabo bya SACCO eno Sulaiman Walugembe okuva mu kkampuni ya ba TEAM and Co e Mengo Sulaiman Walugembe yategeezezza nga okusinziira ku byazuuliddwa SACCO eno yeyongedde okukula kyokka n’abawa amagezi okwewala okubaliranga ensimbi zebaba tebasuubira kuggya mu Bantu oba ebitongole bya babanja (Bad Debts) olwo kibayambe okukolanga embalirira etuukiridde.
Bwe wabaawo be mubanja nga babalemesezza ssente ezo muziggya mu nsimbi zemusuubira okutambulizaako ekibiina n’okussa mbu mbalirira yammwe kino kibayamba okukola embalirira etuukiridde n’okumanya kye mulinawo kyokka ssinga bwe mumala okubalirira omuntu oyo asasula ebbanjalye. Ssente ezo muzibalira ku bintu ebirala era muzitwala nga ekirabo gye muli Walugembe bwe yagambye.
Ssentebe wa Naddangira agali awamu SACCO Kizza Michael Ssalongo ye yeekokkdde ba memba mu be yagambye nti tebaagala kolondoola bigenda mu maaso mu kibiina era nga bangi ku bo n’emisomo egibalambika n’okubamanyisa ebibabikelbwa kubatumbula tebaagala kugyenyigiramu.
Yayongeddeko nti waliwo n’abataagala kuterekayo ssente ziwera kyokka nga buli kiseera baba baagala okwewola ku zebataterese.
 Â
Bya Lilian Nalubega
Engeri y’okufuna ssente mu SACCO yo