TOP

Ensobi 10 ezisinga okuvaako obubenje

Added 21st April 2011

Mw. James Ssempa owapoliisi eyeekebejja ebidduka n’okugezesa baddereeva abafuna pamiti e Naggulu agamba nti wadde enguudo embi, embeera ya mmotoka okubeera embi n’embeera y’obudde biyinza okuvaako obubenje,  ensobi ezikolebwa baddereeva ez’obuntu ze zisinga okuvaako obubenje.

Mw. James Ssempa owapoliisi eyeekebejja ebidduka n’okugezesa baddereeva abafuna pamiti e Naggulu agamba nti wadde enguudo embi, embeera ya mmotoka okubeera embi n’embeera y’obudde biyinza okuvaako obubenje,  ensobi ezikolebwa baddereeva ez’obuntu ze zisinga okuvaako obubenje.

lObumanyirivu: Kino kisinga kubeera  ku baddereeva ba takisi abasooka okukola obwakondakita oluvanyuma ne beeyigiriza bokka okuvuga mmotokla.

lOkuvuga ng’otamidde: Ddereeva  taba mu mbeera ze za buntu kuba buli agunywa gumuyisa bubwe.

Abamu  gubeebasa, abalala gubacamula ne bayita we bandikomye

lEssimu: Mu kino bangi ku  baddereeva bafuniddemu obubenje  kuba oli ayinza okucamuka ng’afunye obubaka oba oba okwekanga ng’afunye amawulire amabi n’akoona.

lOkuvuga ng’okooye: Ssempa agamba nti kino kyabulabe kuba kivaako abamu okwebakira ku siteeringi  naddala ng’avuze olugendo oluwanvu.
lObulwadde naddala puleesa, omusujja n’endala : Abamu ku baddereeva beewaliriza okuvuga nga balwadde ekivaako okuwabya mmotoka .

lOkuvuga n’ebirowoozo: Ssempa agamba nti ennaku zino ssente bwe zibuze, baddereeva bakola nnyo obubenje obutonotono kuba balina ebirowoozo bingi.

lEmyaka: Waliwo baddereeva abakuze, atasobola kuwulira oba okulaba obulungi. Ssempa agamba nti bavaako obubenje.

lLeediyo: Waliwo abavuga nga bwe bawuliriza emipiira oba ennyimba, eno emu ku ngeri evaako obubenje.

lOkulya: Amagezi ga ddereeva gayinza okwemalira ku capati gy’olya n’okola akabenje.

Ensobi 10 ezisinga okuvaako obubenje

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...