Bateega abaagala ssente ez’amangu okusuubula ebyamaguzi, abaliko emisango egyetaagisa engassi olwo ne bakuwa obukwakkulizo, wabula olw’obwetaavu bw’oba nabwo kyangu okugwa ku katego kaabwe.
Obukodyo bwe bakozesa
 Bakukozesa endagaano ng’eraga nti omusingo (baagala nnyo mmotoka, ebyapa by’ettaka, bizinensi n’ebirala) ogubaguzizza, bw’olemererwa okusasula nga kikufudde.
 Mu ndagaano mussibwamu obulippo ng’obudde mw’olina okusasulira ssente zino era nga bw’olemwa okusasulira mu budde obwo omusingo bagutwala.
 Obudde bw’okusasula bwe butuuka nga yeekweka nga ne gy’ayita ofiisi agisiba okutuusa obudde lwe buggwaayo era akunyage.
  Abalala bakubbira mu magoba. Bakusaba amagoba mangi okusinziira ku kiseera kye mukkaanyizzaako. Basobola okukusaba amagoba buli ssaawa oba olunaku.
 Abalala amagoba bakuwa ga kigero kyokka ne bakuwa ebbanga ly’okusasuliramu nga ggwanvu era tebakukkiriza kubasasula nga terinnaggwaako gye biggweera ng’omusasudde ssente nnyingi nnyo.
Engeri y’okwewonya okubbibwa
l Nga weewola weewe obudde bunene kw’obwo by’olowooza okusasuliramu ng’omanyi nti w’ozifunira osasula awatali kuwamba musingo.
 Osobola okukolera endagaano ku poliisi nga singa akubulako ozitwala ku poliisi oba mu bakulembeze bammwe.
 Kozesa amakubo amalala mw’osobola okufunira ssente ezitaliimu bulippo, okugeza mwekolemu ebibiina mwe mussa ssente nga zibayambamu buzibu.
Etteeka ku bbanka n’ebitongole ebiwozi
Omwogezi wa bbanka ya Uganda enkulu, Eliot Mwebya agamba nti abantu bano tebamanyiddwa mu mateeka era bakolera mu bukyamu.
Oyo yenna akolagana nabo bw’afuna obuzibu bbanka temusasula, era alabula abantu bano nti singa okwatibwako ovunaanibwa gwa bubbi n’okweyita kw’otoli.Â
Bakozesa obukodyo 5 okubba abasuubuzi