TOP

Kibina ne Premio eruwa esinga okukekkereza?

Added 9th March 2011

Wiiki ewedde bwe nnabalaze obulungi n’obubi bwa  Toyota Corolla Kikumi ne Toyota Limited, kansala Mulinde ow’omu katale ka Park Yard kwe kumbuuza okugeraageranya Toyota Corona abasinga gye bayita Kibina ne Premio.

Kibina mmotoka ya mulembe nnyo era wano mu Uganda yayatiikirira nnyo mu 2005 w

Wiiki ewedde bwe nnabalaze obulungi n’obubi bwa  Toyota Corolla Kikumi ne Toyota Limited, kansala Mulinde ow’omu katale ka Park Yard kwe kumbuuza okugeraageranya Toyota Corona abasinga gye bayita Kibina ne Premio.

Kibina mmotoka ya mulembe nnyo era wano mu Uganda yayatiikirira nnyo mu 2005 wadde zaakolebwa okutandika mu 1992.

Waliwo Kibina ezinywa nga Kikumi, kuba nazo mulimu eza cc1500, naye ezisinga za cc 1800 ne 2000. Kibina y’emmotoka eyadda ku Kikumi, okucaaka ennyo yasookera mu Corona S.T 170 ey’ekitaala ne y’akataala akatono.

Ekimu ku byagyagaza abantu nti yalabika nga mmotoka ngulumivu era eweesa ekitiibwa okusinga ku Kikumi.
Wabula mu Kibina zonna eyasinga okucaaka yali ya Ying 45-FE eya cc 1800 enywa okusingako ku ya cc1500 naye kizibu okuzaawula kuba enjawulo ntono.

Kibina eno edduka nnyo era nzigumivu ku ttaka. Engeri gy’eyiwayo amafuta yanjawulo ku ndala kuba yo eyiwaayo ago gokka ageetaagisa mu budde obwo. Mu mmotoka eza cc1800 eno y’esinga okunywa amafuta obulungi.

Akasozi bwe kataba kagulumivu nnyo esobola okukayitako mu ggiya nnamba 4 oba 5 ekitali ku mmotoka  ndala. Eno y’ensonga lwaki aba sipensulo bagyagala nnyo. Obuzibu bwazo bazibbako nnyo ebyuma kubanga zigulibwa bantu ba wansi abaakatandika okugula mmotoka.
Ebyuma byazo biri ku ttunzi kuba n’ekikadde tekidiba.

Premio
Mu 2007 ne 2008 Premio yamenyawo Kibina ku katale ka u Uganda wadde nayo kika kya Corona. Yafuluma 1996 okutuukira ddala mu 2004.

Abantu abasuumuseeko mu byenfuna nga tebaagala nnyo kubalaba ng’abali mu muyoolerero gwa basipensulo be bavuga Premio.

Yo ya bbeeyi ko okusinga ku Kibina wadde zenkana ebifo ebitulwamu munda. Zonna zirabika bulungi okusinga ka Kikumi. Zombi zikola bulungi nga za cc1800.

Liita y’amafuta emu ekutambuza kiromita 8, olw’obulippagano anti eba etambulira mu ggiya nnene. Wabweru w’ekibula esobola okutambula  kiromita 12-14.

Premio eya Ying D-4 y’esinga okulabika obulungi okusinga Premio endala naye ekibi kyazo kyokka Yingi ya D-4 yeetaaga amafuta amalungi agali ku mutindo ogwa “Octane” okutandikira ku 135 ate wano agaliwo gatandikira ku 80-95. Kale zikuba nnyo yingini sso ng’ebyuma byazo bya bbeeyi.

Y’ensonga lwaki abazirina baagala nnyo okukyusa yingini yaayo bateekemu eza Premio eza bulijjo. Naye kino kitegeeza nti olina okukyusa yingini yonna, amasannyalaze gaayo n’aga sigino gonna ogakyusa olwo n’osingaza kizibu kya dasiboodi okukusumbuwa kuba obutaala obuteekebwako okulabula obuzibu bwonna buba tebukyakola bulungi..

Sipiidi kwe ziwetera ekkoona n’obugumu bwazo bwenkana n’obwa Kibina. Premio eri mu bukadde 12-13 okusinziira ku modulo yaayo. Kibina ne Premio tezisaala nnyo bbeeyi okuggyako nga yaakayitako ennamba emu kw’eba.

Kibina ne Premio eruwa esinga okukekkereza?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...