Mu Kampala amataba gabadde gasalako enguudo nnyingi emmotoka ne zitubiriramu n’ezimu okuzikira.
Twaha Sebaggala, makanika ku Ntebe Rd agamba nti singa oyingiza mmotoka mu mazzi amangi nga ‘woyiro ssiiru’ ya kalankisi si nnywevu, amazzi geetabula ne woyiro ekivaako mmotoka okuzikira.
Mu ngei y’emu singa amazzi gayingira ne gatuuka ku kuuma akasaasaanya amasannyalaze (Distributor) mu mmotoka, kikiremesa okukola omulimu gwakyo olwo mmotoka n’ezikira.
Ate mu mmotoka ennene gamba nga loole, singa ogiyisa mu mazzi amangi gayingira mu kyuma ekirongoosa empewo (Air Cleaner) kubanga eri kumpi. Mmotoka bw’eba essa awo w’esikira empewo n’ezikira.
Waliwo ensobi endala ekolebwa mu kussa amazzi mu mmotoka. Abantu olufuna amazzi nga bayiwa mu mmotoka.
Amazzi ameeerere gavaako enseke omutambulira amazzi gano mwe gayita ekireeta laadiyeeta okucafuwala olw’obutalavvu buno.
Waliwo eddagala eririna okusooka okutabulwa mu mazzi gano eriyitibwa ‘Kulanti’ eribeeramu langi ez’enjawulo era bw’ozizza mu mazzi gakyusa langi okusinziira ku langi y’eddagala lino.
Eddagala lino liyamba okukuuma enseke zino nga tezitalazze.
Singa mmotoka ezikira nga kivudde ku ssiiru, olina okukyusa akakono ka pisitoni n’ossaamu akapya mmotoka okuddamu okutambula.Ate ebeera eyingizza amazzi olina kukyusa disitulibyuta ne pulaaga.
Bw’oba ovuga mmotoka olina okubeera omwegenderza n’okupimira mmotoka yo w’eyita sikulwa ogiyisa mu mazzi amangi n’efuna obuzibu.
Weereza ekibuuzo kyo ng’owandiika ‘ebidduka’, lekawo akabanga ozzeeko ekibuuzo oweereze ku 8338.
Endabirira y’ekidduka