TOP

T-belt kyeki? Erina mugaso ki ku mmotoka?

Added 29th June 2011

MMOTOKA ya ggiya ne Otomatiki nga zenkanya cc eruwa esinga okunywa amafuta? Nizeye e Kisoro (0772673665)
Wadde abantu abamu balowooza nti mmotoka za otomatiki zinywa nnyo amafuta naye si kituufu. Ennywa y’amafuta nga mmotoka zibadde zenkanya cc nga zonna tewali eriko kikyamu eba y’emu.

MMOTOKA ya ggiya ne Otomatiki nga zenkanya cc eruwa esinga okunywa amafuta? Nizeye e Kisoro (0772673665)
Wadde abantu abamu balowooza nti mmotoka za otomatiki zinywa nnyo amafuta naye si kituufu. Ennywa y’amafuta nga mmotoka zibadde zenkanya cc nga zonna tewali eriko kikyamu eba y’emu.

Wabula ddereeva ggwe oleetera mmotoka yo okunywa ennyo okusinga ku y’omulala. Singa mmotoka ogivugira mu ggiya ennene, enywa amafuta mangi, ate bw’ovuga sipiidi ensaamusaamu enywa kitono. Bw’ovuga endiima nayo eyongeza ku nnywa y’amafuta.

Singa ddereeva ovuga mmotoka ng’ogisika, kitegeeza nti egenda kwongeza ku nywa yaayo, okugeza mmotoka okugisimbula n’olwawo okukyusa ggiya ate nga yo ezikusaba olwo oba osika nsike era enywa amafuta mangi k’ebe otomatiki oba eya ‘manual’.

Olumu abalina mmotoka za otomatiki bavugiramu OD, kitegeeza nti erina okukyusa ku nnywa yaayo naddala bw’oba ogivuga sipiidi nnene.

Abalala bateekako nnyo AC (empeewo ennyogoga), nayo eyongeza ku nnywa y’amafuta.

Nnina mmotoka Noah 4WD Field Tourer. Erimu 4WD Full Time oba teri? Bw’eba teriimu mbuuulira eppeesa erigiteekamu we liri. Kamya ( 0772900026)

Eno mmotoka yo erina ‘4WD Full Time’ Era y’ensonga lwaki tolaba na kapeesa kagiteekako, naye nga mw’eri. Kyangu okulaba amaanyi gaayo agenjawulo bw’eba eyita mu kaseerezi oba okugitega mu luwonko olutali luwanvu n’olaba ng’esika emipiira egy’emabega.

Nnina Corolla 100, endabirwamu yange ey’omu maaso yayatika mu wiiki emu yokka, ate n’enkadde bwe yakola nga nnaakagiteekamu. Kiva kuki? Mpanga (0772633399)
Kikumi yo erina obuzibu ku mpagi ezikwata endabirwamu n’eba nga teyuuga kwatika era kino kye kivaako endabirwamu yo okujjamu olunyaafa buli kiseera.
Olumu mmotoka eyinza okuba nga yafuna akabenje n’efuna enjatika zino, mu kugigolola tebaazookya bulungi n’olumu okuba nga tebaazookera ddala. Ggyamu endabirwamu bazibe ennyaafa, olwo endabirwamu ejja kutuulamu bulungi.

Dudu 4WD emanyi okucanmuka, kyokka ng’amazzi mwegali nga ne mu ‘lizaavu ladiyeeta’ nga namwo mwegali. Kino ekikola naddala nga nninya akasozi. Kiva ku ki?
Mmotoka okucamuka ebiseera ebisinga kiva ku ladiyeeta, eno y’ebeeramu amazzi agavubiriza yingini. Mmotoka olumu eyinza okuba nga yazibikira enseke ezitwala amazzi ku yingini; kisoboka okuba nga ladiyeeta yatalagga ate ne pampu ekuba amazzi eyinza nayo okuba ng’ebiwujjo ebimu byafa nga tekyagakuba bulungi.

Oluusi faani 9ekiwujjo) ereeta empewo okuweweeza yingini eyinza okuba nga yakutukako ebiwujjo ebimu, nga tekyakola bulungi.

Okucamukira ku kasozi ekikola lwakuba ekozesa amaanyi mangi ng’erinnya olusozi.

Timing Belt (T Belt) kyeki? Era ekola mulimu ki mu mmotoka?  Frank Kato (0712746614)
Luno lwe lukoba oluyamba yingini okwetooloola emmotoka n’eryoka etambula. Naye si buli mmotoka nti ebeera n’olupiira luno, waliwo mmotoka eziba n’obujegere ate endala ziba na mannyo, wabula byonna bikola omulimu gwe gumu.
Mmotoka ezirina T- belt ez’enkoba zisinga kuba ntono mpozzi ne takisi, wabula zo LandCruiser  zigatta olukoba n’amannyo, ate pajero 4M40, Sahara eza petulooli n’endala zitera kuba za bujegere.

Biddiddwaamu Titus Muteesasira owa GoodWay Auto Garage e Mulago 0776698576.

T-belt kyeki? Erina mugaso ki ku mmotoka?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Muyingo n'abamu ku bakulira amasomero. Baali bava mu lukung'aana olumu gye buvuddeko.

Minisitule y'Ebyenjigiriza ...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ezzeemu okwekenneenya n’efulumya ebiragiro ebipya ng’abayizi ba P6, S3 ne S5 nga baddayo...

Allan Bukenya ng’alaga ennyama ense.

Kola ebyokulya mu nnyama en...

OSOBOLA okukola ebyokulya eby'enjawulo mu nnyama ense eri ku mutindo n'ogaziya bizinensi y'okuliisa abantu. ...

Emmotoka etadde ebitongole bya Gavumenti mu kaseera akazibu ku ngeri gye yayingira mu ggwanga.

Ebizuuse ku mmotoka ya Bobi...

EMMOTOKA ya Kyagulanyi gye yayanjulidde abawagizi be n'abategeeza nti teyitamu masasi aleese akasattiro mu bitongole...

Akalippagano ku nkulungo y’e Naalya.

▶️ Abakozesa Northern By ...

ABANTU abakozesa oluguudo lwa Northern By Pass balojja akalippagano k'ebidduka akali ku luguudo luno okuva bwe...

Ategeka (mu ssuuti) n’Abakristu b’e Namataba nga balambula omulimu gw’okuzimba Klezia.

Klezia y'e Namataba yaakuma...

ABAKRISTU b'ekisomesa kya St. Charles Lwanga e Namataba - Kirinya mu Divizoni y'e Bweyogerere basabye abazirakisa...