Ndirugendawa: Ensonga yo nnene kyokka naffe nga poliisi tetulina kye tusobola kukola kubanga okuteekereteekera ekibuga mulimu gwa bakulembeze. Naye tujja kwogerako nabo tusalire wamu amagezi.
Abaserikale ba poliisi bakkirizibwa okuwetera buli we basanze? Eno ewafe bawetera mu kkoona naddala bwe baba balina emmotoka gye bagoba. James Taremwa.
Ndirugendawa: Tewali ali waggulu wa mateeka kyokka singa mmotoka gye bagoba bw’eba n’omusango ogw’amaanyi, tewali nsonga yonna emugaana kuwetera wonna kubanga abeera ataasa bulamu bw’abantu obwandisaanyiziddwaawo mmotoka eyo.
Singa nneerabira pamiti eka, owa poliisi n’ankwata, akkirizibwa okumpaayo akadde ne ngimuleetera oba antwala ng’atalina pamiti? Alfred Dubo.
Ndirugendawa: Okwerabira pamiti eka kiba kyejo kuba eyo y’eringa enkumbi ekutwala mu nnimiro. Naye bwe kiba kituufu ng’ogyerabidde, nnyonnyola omuserikale akukutte ajja kukuwa obudde oleete pamiti yo. Kyokka kirungi okwate nnamba ya pamiti yo kubanga singa akuba mu ofiisi yaffe abeera asobola okukakasa nti ddala olina pamiti.
Abaserikale ba poliisi batukwata olw’okuvuga endiima naddala ku mayiro 20 kyokka ng’oluguudo lwonna tekuli wadde akabonero akamu. Lwaki tebatuleka kubanga naffe tuba tetumanyi sipiidi ekkirizibwa kuvuga? Giant Kasirye.
Ndirugendawa: Bw’oba ng’oli ddereeva mutendeke, obeera omanyi sipiidi ekkirizibwa mu buli kitundu era nga akapande ne bwe katabaawo oba omanyi eky’okukola. Wabula mu buntu omuserikale ayinza okukuleka.
Pamiti bw’eba eweddeko nkola ntya okugizza obuggya? Seki Mandeeba 0712934092
Ndirugendawa: Genda ku URA osabe ffoomu z’okuzza pamiti obuggya ozijjuze kyokka kyandibadde kirungi n’otandika okukola ku kuzza pamiti yo obuggya nga wakyabulayo ennaku eziwera oleme kusumbuyibwa baserikale.
Omuserikale wa poliisi okunnyimiriza mu koona kikkirizibwa, ye singa wabaawo akabenje mu mbeera eno ani avunaanibwa? Juma Boogere.
Ndirugendawa: Omuserikale agenda okukuyimiriza ng’alina ky’alabye era singa takuyimiriza nga waliwo omutawaana mu maaso abantu ne bafa avunaanibwa. Kyokka ggwe ddereeva eyatendekebwa bw’akuyimiriza osaana naawe okupima w’oyimirira olabe oba wasaana.
Kiraasi ya pamiti CM evuga pikipiki? Bw’eba tekkirizibwa lwaki ate ng’agirina avuga mmotoka ate nga mmotoka nzibu okusinga pikipiki? Mzee Benya e Wakiso.
Ndirundawa: Pikipiki kidduka ku lwakyo era kirina kiraasi yaakyo. Ne bw’oba olina kiraasi z’ebidduka zonna nga tolina kiraasi ya pikipiki (A) tokkirizibwa kuvuga pikipiki kubanga erina obukugu bwayo obwetaagisa ate bw’oba tolina.
Kiraasi ya pamiti CM evuga pikipiki?