TOP

‘Essigiri ze nkola mu ttaka ze zinnyimirizzaawo’

Added 13th April 2011

Mukyala Teopista Najjemba ow’e Kyampisi mu muluka gw’e Bukolooto e kayunga ssente azikola mu kubumbira bantu ssigiri z’akola mu ttaka n’essubi, era anyumya bw’addukanya omulimu gwe.

Okuva lwe nnafuna omusomo ne njiga okukola ssigiri nga nneeyambisa olumbugu n’ettaka ly’ekis

Mukyala Teopista Najjemba ow’e Kyampisi mu muluka gw’e Bukolooto e kayunga ssente azikola mu kubumbira bantu ssigiri z’akola mu ttaka n’essubi, era anyumya bw’addukanya omulimu gwe.

Okuva lwe nnafuna omusomo ne njiga okukola ssigiri nga nneeyambisa olumbugu n’ettaka ly’ekiswa si kyakaaba bwavu. Omusomo guno gwatuweebwa Abazungu ab’ekibiina kya Caritas abaava mu Austria. Baatusomesa engeri y’okwekulaakulanya nga tukozesa ebintu ebitwetoolodde.
Okukola ssigiri zino tekuliimu buzibu ye nsonga lwaki nze bwe nazitandika sadda mabega.
Engeri y’okubumba essigiri

Ofuna olumbugu n’olutemaatema  n‘ogattamu ettaka ly’ekiswa n’oyiwamu amazzi ag’ekigero olwo n’olisamba okutuusa lwe liggya.
Bw’oba ogenda kukola ssigiri emu ennene opima ettaka ly’ekiswa ebbenseni bbiri n’ebbaafu z’olumbugu lw’omaze okutemaatema bbiri oyongere okusamba ettaka.

Nga liyidde, ddira ekkutiya ogyalirire wansi awatereevu obulungi otandike okubumba ssigiri yo ng’otandikira ku ntobo. Bw’otuuka w’olina okuleka ekituli awayisibwa enku era awayita empewo oteekawo ebigogo bikuyambe obutabikkawo.

Genda ng’obumba mpolampola n’obwegendereza okutuusa lw’omaliriza. Funa akaseffuliya okusinziira ku bunene bwa ssigiri bw’oyagala okatuuze wakati nga kalimu amazzi kakuyambe okulekawo ekituli ekyemalirira wakati omuyinza okugenda Amanda oba ne sseffuliya yo okusobola okutuulako obulungi. Akaseffuliya kano kaba kalina okubaamu amazzi.

Bw’omaliriza okubumba akaseffuliya n’ekigogo biggyeemu n’obwegendereza bireme kukwatiramu.
Ssigiri eno ogibumbira mu kasana kyokka olumaliriza ng’ogibikkako esigaze ebbugumu eriyingira ettono okwewala okwatika omusana.
Kikutwalira ebbanga lya wiiki emu olwo n’ogiggyamu n’ogissa mu kifo ky’oyagala okufumbiramu.

Ssigiri zino nzifunyemu era zimbeezezzaawo. Ssigiri esookerwako obutono ngitunda wakati wa 50,000/-ne 80,000/-, ate esinga obunene ngitunda 100,000/-.

Nsobola okugikolera ewange ne ngireeta oba okugikolera mu makaago.  Ekirungi kyazo ziwangaala ate zikekkereza enku.
      
Ssigiri zino natandka okuzibumba mu mwaka gwa 2009 era kati nsobodde okukozesa ensimbi zenzifunamu ne nneegulira ebisolo omuli embizzi n’ente bye nnunda okwongereza ku nfuna yange era kati nabyo binnyambako okuweerera abaana bange ate n’abo abaana b’abaalibalirwana baffe abaafa ne babaleka nga tebaliiko buyambi basatu kati bendi nabo era basoma.
      
Nsobola okwetusaako ebyetago ebyange nga omuntu ate n’amaka gaage okukaklasa nti abantu bange babeera bulungi.

BYA VIOLET NAAVA 
    Â

‘Essigiri ze nkola mu ttaka ze zinnyimirizzaawo’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...