TOP
  • Home
  • Bukedde Ku Ssande
  • Ani nnannyini ttenda ya takisi e Kireka n’e Bweyogerere ekubya abantu obutayimbwa?

Ani nnannyini ttenda ya takisi e Kireka n’e Bweyogerere ekubya abantu obutayimbwa?

Added 30th March 2011

Haji Kitaka Kavulu, omumyuka wa ssentebe wa kkampuni ya  “Bayinda Transport Co. Ltd” eyawangula ttenda y’okusolooza ssente ku siteegi zombi agamba nti baawandiikidde ofiisi ya Pulezidenti eyingire mu nsonga zino.

“Kkampuni yaffe eya Bayinda Transport Co. Ltd ,yawangula ttenda y’okudduk

Haji Kitaka Kavulu, omumyuka wa ssentebe wa kkampuni ya  “Bayinda Transport Co. Ltd” eyawangula ttenda y’okusolooza ssente ku siteegi zombi agamba nti baawandiikidde ofiisi ya Pulezidenti eyingire mu nsonga zino.

“Kkampuni yaffe eya Bayinda Transport Co. Ltd ,yawangula ttenda y’okuddukanya siteegi y’e Kireka n’e Bweyogerere  nga December 31, 2010 okuva ku disitulikiti e Wakiso.

Twalina okutandika emirimu mu January wa 2011, ekyatuggya enviiri ku mutwe, olukiiko lwa Town Council e Kira lwatuggyako obuvunaanyizibwa bw’okuddukanya siteegi ezo . Baatutegeeza nti baalina okwetegereza oba ddala abantu abaali bawangudde ttenda eyo be bamu ku baali abatandisi ba siteegi ezo.

Meeya Mamerito Mugerwa yennyini yatutegeeza nti Pulezidenti Museveni yali agambye nti ttenda eddire abantu bennyini abaatandika siteegi mu 1992.

Twagenda okulaba nga mu January tebatuwa ttenda yaffe, nga Town Council y’esolooza ssente.
Kwe kuwandiikira minisita Adolf Mwesigye nga tumulaga nti ffe bamu ku baatandika siteegi gye boogerako. Nze ssentebe w’ettabi lya UTODA ery’e Bweyogerere era nze natandika siteegi zino mu 1992.

Minisita yawandiikira CAO wa Wakiso, Joseph Mukwaya nga January 19,2011 ng’amulagira tutwale ttenda yaffe.

Ssente bazitumma
Nga February 1,2011 twagenda ku ggombolola e Kira ne tusasula  44,250,000/- ez’emyezi esatu, February, March ne April.

 Olunaku lwe twali ab’okutandika nga February 2, 2011 twasangawo abavubuka abaatulemesa okukola abaatugamba nti meeya Mamerito Mugerwa ye yabatuma.

Beeyita ba Kira Drivers Association, era bagamba nti be batandisi ba siteegi zino kyokka ng’ebbaluwa yaabwe kwe beewandiisiza ng’ekibiina yaliko omwaka 2009.

 Ku lunaku lwe lumu nga February 2, twatuuza olukiiko ne Town Clerk Uthman Ssebadduka okugaayagaaya mu nsonga eno. Meeya yalagira Town Clerk nti abavubuka be be yali ataddewo baalina okukola naffe ne bwe tuba tetwagala!

Twagenda okulaba nga ttenda etuva mu ngalo kwe kukkiriza ebiragiro n’obukwakkulizo bya Mamerito Mugerwa. Aba Kira Drivers Association be baali balina okusolooza ssente ku takisi, olwo bo basasule eyawangula ttenda emitwalo 90 buli lunaku okumala ennaku mukaaga, olwa Ssande nga basasula  emitwalo 50, oluusi 60.”

Endagaano eno yawandiikibwa nga February 2,2011 era Town Clerk Uthman Sebadduka yagiteekako omukono. Kuliko omukono gwa ssentebe wa Bayinda Transport Co. Ltd Erias Masolo ne bammemba ba Kira Drivers Association.

Haji Kitaka Kavulu agamba nti ku mitwalo 90 gye babasasula buli lunaku, meeya  Mamerito Mugerwa ayagalako emitwalo 10  buli lunaku obutasukka ssaawa mukaaga ez’omu ttuntu ate nga teziriiko lisiiti!
 Embeera y’okunyigirizibwa babadde bagigumidde naye obuzibu we buvudde, buli okulonda bwe kubaawo,abavubuka bano abasolooza tebabawa ssente. Era n’enkuba lw’etonnye tebabawa ssente.

Kino kibanyiga kuba be balina okusasula Town Council ssente za buli mwezi eziwera 19,200,000/-.
Haji Kitaka agamba nti bagenze okulaba ng’ebbanga ery’omwezi ogumu lye baakakolera tebafunamu nga  n’obukadde 19 bwe balina okusasula buli mwezi tebuvaayo,ate nga basasula ofiisi n’abakozi.

 “Twawandiikira Town Clerk w’e Kira nga March 18 ne tumutegeeza nti ‘Sub contract’ tugiyimirizza olw’ensonga ezo era ne tumutegeeza nti okutandika nga March 22 tugenda kwekolera emirimu gyaffe mu bujjuvu. Abavubuka abaali basolooza ne tubawaako ebbaluwa, CAO, RDC, O.C n’abalala be kikwatako era ne tusaba n’obukuumi.

Ekyatuggya enviiri ku mutwe kwe kulaba ng’obukuumi bwe twasaba babuwadde bannaffe abasolooza  era ne batiisatiisa okutukolako obulabe.

Nga March 23,2011 twatuula mu lukiiko ne Town Clerk w’e Kira ne tumulaga bwe twagala okwesolooleza ssente zaffe.

Meeya Mamerito agamba nti aba Bayinda Transport Co. balina okugoberera endagaano gye baakola okubasolooleza ssente oba si ekyo ttenda bagyerabire.

Era okuva nga March 21, 2011 Haji Kitaka Kavulu agamba nti tebafunanga ssente kuva ku ba Kira Drivers Association abasolooza ssente.

“ Mu kiseera kino tugenda kuwandiikira Takakiiko akagaba ttenda e Wakiso, ofiisi ya Kaliisoliiso wa Gavumenti, akakiiko ka disitulikiti akagaba kontulakiti n’abakungu abalala tubalage nti ssente ze baali batusuubiramu tezikyavaayo.

Tubasaba basaleko ebitundu 50 ku buli 100 ku ze tulina okusasula, kuba ssente zonna ziggweera Kira. Ffe ttenda tugiwangulira ku disitulikiti e Wakiso, kyokka Town Council etufuukidde ekyambika.
     

Ani nnannyini ttenda ya takisi e Kireka n’e Bweyogerere ekubya abantu obutayimbwa?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Basindikiddwa mu kkomera lw...

ABAASANGIBWA n’ebyambalo bya UPDF basindikiddwa mu kkomera.

Abaleppuka n'ogwokulya mu n...

KKOOTI yamagye e Makindye yejjeerezza abajaasi bataano ababadde bavunaanibwa okukola olukwe okuvuunika gavument...

Nuwashaba (ku kkono) lwe baamultwala ku kkooti okukola siteetimenti. Ku ddyo ye mwana Kyamagero eyattiddwa

Nuwashaba alaze bwe yafuna ...

OMUSAJJA gwe baakutte n’omutwe ku Palamenti ayogedde engeri gye yaweebwa ddiiru y’okusala omutwe gw’omwana n’alumiriza...

Nagirinya eyattibwa

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...