TOP

Yiga ‘okubala’ takisi

Added 23rd March 2011

Kyokka  oluusi n’abavuga takisi nabo ssente zibula, si lwakuba ku luguudo teziriiko naye lwakuba tebamanyi kubala takisi!

Okubala takisi kigambo kiri mu lulimi ‘lutakisi’ ekitegeeza okugiyiiyiza n’ekola ssente. Mu uganda mulimu emmotoka ezisoba mu mitwalo 60, ku zino kumpi emitwalo 15 zi

Kyokka  oluusi n’abavuga takisi nabo ssente zibula, si lwakuba ku luguudo teziriiko naye lwakuba tebamanyi kubala takisi!

Okubala takisi kigambo kiri mu lulimi ‘lutakisi’ ekitegeeza okugiyiiyiza n’ekola ssente. Mu uganda mulimu emmotoka ezisoba mu mitwalo 60, ku zino kumpi emitwalo 15 zikola takisi. Oyinza otya okukola ssente wakati mu mujjuzo gwa takisi ennyingi ng’ebijanjaalo?

Tebyewuunyisa nti bangi ku baddereeva ba takisi eddiini bagisoma misana, akawungeezi basula mu masabo era mu takisi ezisinga ensiriba mweziri!

John Kitasimbwa, omugagga w’e Gayaaza alina takisi ezisukka  mu 5. Akunnyonnyola engeri gye bakola mu takisi ssente n’osigala nga tomanyi na muntu alina diguli ttaano mu nju:

“Okufuna mu takisi ssente gaba magezi, si ddogo ng’abasinga bwe bakirowooza.

Bw’okeera ku makya n’ogula  Kigege empya ey’obukadde 30, tomala biseera kugula nnamba mu ppaaka naddala ng’ovugira mu Kampala. Aba UTODA bajja kukunyuunyunta naawe osiime!

Ekitono ennyo, takisi y’omu ppaaka ng’ekola mu kibuga mwokka, olunaku Utoda egisoloozaako ezitakka wansi wa 25,000/- nga tekuli liisiti.

Ate avuga ekkubo  nga yeetooloola Ntinda, Mulago ne Constitutional Square n’enguudo endala,  aba Utoda bayinza okumufunako 12,000/- olunaku anti yo etikkira mu bifo oluusi ebimu nga tekuli amuggyeeko wadde 100/-.

Okugula ennamba  ya takisi mu ppaaka zitandiikira ku 1,000,000/- okutuuka ku 1,500,000/-. Ate avuga ekkubo tolina gw’osasula, okuggyako okulindirira okuwa aba Utoda ku makubo ssente entonotono ne  poliisi y’ebiduuka ng’okoze ensobi.

Mmotoka giteeke mu yinsuwa ey’ebigwa bitalaze byonna eyitiibwa “Comprehensive  Insurance”. Ekika kya yinsuwa eno oba ogemye buli kabenje akagituukako gamba omuliro, akabenje oba ababbi. Mmotoka ey’obukadde 30, omwaka yinsuwa ekutwalako 1,900,000/- zokka ate nga bw’egwa ku kabenje bagikuddizaawo okusinziira ku mbeera gy’ebaddemu.

Takisi giwe ddereeva alina ebisaanyizo byonna , nayo ogiteekeko emisolo gyonna, emipiira ogikole ne saaviisi olwo olemese n’omuserikale wa tulafiki okukulyako ssente ez’obwereere nga talina we yeesonseza.

Kino kijja kuyamba ggwe nnannyini yo okufuna ssente zo 60,000/- eza buli lunaku ng’ekola mu kibuga ate abakola Kampala- Arua ajja kukuwa  100,000/- buli lunaku.

Wabula ate ggwe nannyini yo bw’oba ggwe ogyekwatiddemu  osobola okufuna wakati wa 150,000/- ne 200,000/- olunaku singa buli kimu ekigyetaagisa kibaako.

Sasula aba Multiplex mu budde bw’oba okolera mu kibuga weewonye ate ddereeva okugamba nti takisi bagisibyeko ekyuma.

Takisi giteekemu emitto eginyirira buli musaabaze agirinyamu atuulemu n’omutima gumu.
Gyoze buli lunaku, omusaabaze agirengerere eri awalirizibwe okugirinnyamu.

Ng’ekola mu kyalo
Ezikola mu byalo ddereeva mugambe ayogere bulungi n’abasaabaze era bonna abatwale nti be bamuli waggulu . Abuzaako 100/- tomusikambula kuba enkya y’ajja okulinnya takisi yo ng’ate ssente ziwera ate ng’alinnye ayagala.

Ggwe omuvubuka eyaakafuna omulimu manya nti  ssente ze babawola okwekulaakulanya zisaana kugulamu bintu nga takisi mu kifo ky’okugula mmotoka y’obuyonjjo.

Katugambe olina Kibina empya, buli lunaku ogivuga okujja mu kibuga n’oddayo omwezi mulamba buli lunaku oyinza okuba okozesa liita 3 ez’amafuta. Kitegeeza nti 3500 x 3 = 10,500/- x  30 = 315,000/-. Kuno gattako g’okozesa mu kukyakalamu n’ebintu ebirala, omwezi zonna awamu 500,000/.

Bw’ogattako saaviisi yaayo buli wiiki ng’ekyali nnamu 50,000/-, okugyoza buli luvannyuma lwa nnaku bbiri omwezi 15,000/-, ekifo w’esula 3000/- buli lunaku 3000/- x 30 = 90,000/- , w’ogisimba ku mulimu omwezi ekitono 40,000/- omwezi n’ebirala, okumaliriza ng’omwezi osaasaanyiza emitwalo nga 70 ng’ate tolina ky’ogiggyeemu wabula ng’ate takisi omwezi nga wagiwa ddereeva aleeta 1,800,000/-.

Yiga ‘okubala’ takisi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutaka Walusimbi alagidde ...

OMUKULU w'ekika ky'effumbe Omutaka Yusuf Mbirozankya Kigumba Walusimbi alagidde olukiiko olufuzi olw'ekika kino...

Henry Ssekyewa eyattiddwa. Mu kifaananyi ekinene y'ennyumba ya Livingstone Zziwa eyasaanyiziddwaawo ng'abatuuze bamulumiriza okuba n'ekkobaane ku kufa kwa Ssekyewa

Bamusse mu bukambwe lwa nka...

ABATUUZE ku kyalo Nakikonge ekisangibwa mu ggombolola y'e Makulubita mu disitulikiti y'e Luweero baguddemu ekyekango...

Minisita Janet Museveni ala...

Minisita w'ebyenjigiriza mu ggwanga Janet Museveni naye atuuse e Makerere University  ku kizimbe ekikuklu ekya...

David Lukyamuzi

Owa KACITA abadde omusaale ...

Abasuubuzi mu Kikuubo baguddemu ekyekango munnaabwe David Lukyamuzi Wangi ate nga mukulembeze mu kibiina kya KACITA...

Nnankulu wa Kampala alaze p...

NANKULU wa Kampala Dorothy Kisaka ayanjulidde Banakampala ebiri muntekateeka ey'emyakka 5 gyasuubira okugoberera...