TOP

Mmotoka enkozi za ssente

Added 16th March 2011

Kale ka tugambe, olina ku ssente? Oyagala kugula mmotoka enkozi ya ssente? Emmotoka gye wagula tekukolera? Ziizino emmotoka anoonya ssente ze yandiguze.

Takisi
Bw’olaba takisi kizibu okuzaawulamu kuba abasinga baziyita Kamunye. Y’ensonga lwaki abafunye ku ssente ne babug

Kale ka tugambe, olina ku ssente? Oyagala kugula mmotoka enkozi ya ssente? Emmotoka gye wagula tekukolera? Ziizino emmotoka anoonya ssente ze yandiguze.

Takisi
Bw’olaba takisi kizibu okuzaawulamu kuba abasinga baziyita Kamunye. Y’ensonga lwaki abafunye ku ssente ne babuguumirira okugula takisi ate zibasaze.

Takisi zirimu ebika 4, Kigege Kaaso ng’eno y’esinga okuba eyomulembe kuba yalese ne Kigege Kitimba emasuka ng’essasi!

Kigege Kigulu nayo yamulembe mu byonna gattako Kamunye oba giyite Kajambiya ne Cal vane. Eno eyawukana kitono ne Kamunye mu ndabika.

Kigege Kaaso ne Kigege Kitimba  empya ziri ku bukadde nga 30. Kigege Kigulu empya ya bukadde  25, Kamunye Kajambiya bukadde 20 ate Cal van eri wakati w’obukadde 18-20.

Wadde mmotoka zino zaawukana bbeeyi yaazo naye singa ogula empya  ereeta ssente ze zimu wabula zaawukanira ddala mu buwangaazi. Kuba Kigege Kaaso ne bweba ekola Kampala- Arua buli lunaku naye ng’ogikola saaviisi yaayo mu budde esobola okumala emyaka esatu nga tolina ky’okanise mu yingini.

Mmotoka zino zonna bw’eba nnamu bulungi olunaku omugagga bamuwa 60,000/- ate bw’oba ggwe ogyevugira eyingiza wakati wa 100,000/- ne 150,000/- olunaku. Kigege kaaso ya sipiidi 180 ate Kamunye Kajambiya eri ku sipiidi 160.

Avuga ey’obuyonjo webba wekka
Gwe avuga mmotoka y’obuyonjo afuna 250,000/- buli wiiki n’ekutwalako  150,000/- okunywako amafuta ne saavisi ekitono okusinzira ky’ogikozesa manya nti webba wekka kuba singa ogula Kajambiya oba Kaaso eyingiza 60,000 X 6 = 360,000/-, ate omwezi 1,440,000/-.

Olunaku olumu lulekere ddereeva akolemu ez’amata, okugyoza n’okukola saaviisi.

Bw’oggyako eza Utoda eza buli lunaku , liisiti n’ezitali za  lisiiti era osigala ofunako nnyo.

Okugeza, bw’oba ne Kajambiya ekola Kampala-  Jinja, esooka n’esasula 4,500/- ez’okugyaniriza mu kibuga, n’oyongerako 12,000/- eza siteegi buli lw’otikka n’e Jinja bw’oba odda owa 6,000/- buli lw’otikka gattako obutonotono bw’owa mu kkubo.

Julius Ocho  avuga takisi mu ppaaka empya agamba nti takisi mulimu mulungi kubanga ne bw’okeera ku makya nga temuli mafuta naye n’osimbula n’eyaka, omusaabaze asooka okulinnyamu gw’oggyako ssente ng’anoonya ezivungisa n’oyiwamu amafuta olwo ng’oluggi Katonda alugguddewo. Okugyako ng’efudde oba n’egwa ku kabenje, bw’ogigula ggwe oba kamalabyonna.

FUSO
Muhammed Muyomba avuga FUSO ku siteegi y’e Bombo agamba nti FUSO agirina tamanyiiyo mulimu mulala guyingiza ssente.  Zirimu ebika bisatu okuli Fuso Magulukkumi, Magulu-mukaaga ne Fuso Kigulu.Zaawukana mu bbeeyi, Magulukkumi eri mu bukadde nga 80 empya , magulumukaaga mu bukadde nga 60 ate Kigulu bukadde 50.

Okwawukana ku takisi, zino  Fuso zzo ziyingiza ssente okusinziira ku bunene bwayo, ttani z’etikka na mirimu ki gy’ogikozesa ku luguudo ki.

Olunaku Fuso okutandikira ku magulumukaaga bwe luba lulungi etandika okuyingiza mu mitwalo 40, bw’eba ya mugagga wiiki afuna 700,000/-.

Eva mu Kampala okugenda e Sudan emirundi ebiri mu wiiki omugagga afuna 2,000,000/-. Ezo eziweza ttani omusanvu era amagezi gokka okugiwangaaza tolina kugitikka kusukka mu ttani zaayo.

    COASTER:
Mu  mmotoka ezisaabaza abantu, Coaster (soma Kosita) ekwata kyakubiri ng’eddirira bbaasi okufuna ekiralu.
Fazir Lubuuka avuga Kosita ku siteegi y’e Busega- Lungujja mu Kampala agamba nti Kosita zirimu ebika bisatu ebikozi by’ensimbi.

Rosa empya ya bukadde 60, etikka abantu 29 ate Isuzu empya ya bukadde 80,  etikka abantu 35. Comb yo ya bukadde 25, etikka 25 ne Kiswa etikka 20, ya bukadde 35.

Zino zaawukana mu nnyingiza kuba kisinziira ku bantu Kosita gy’ovuga b’etwala. Isuzu y’esinga okutikka abantu abangi naye enywa nnyo amafuta.

Ate abantu balowooza nti Isuzu engeri gy’eri ennene era bagiseera nnyo engeri gy’enywa amafuta amangi.
Rosa enyirira nnyo era si ya buseere nga Isuzu. Yingini yaayo ejjula liita z’amafuta 60. Okugeza Kampala- Jinja enywawo 150,000/- okugenda n’okudda, n’osigazaawo 150,000 ku z’abasaabaze b’otutte.

Saavisi yaayo ogikola buli wiiki bbiri, era yonna eri mu 170,000/-. Kosita tezifuna nnyo bubenje nga takisi, era n’abazungu kye bava bazeeyunira.

Baddereeva ba Kosita tebalina nnyo waasiwaasi kuba yo tetikkula mu kkubo okuggyako ez’e Bugerere omuli abasaabaze abagiyimiriza bagende bafuke!

Esomba omulundi gumu okugenda n’okudda 300,000/- naye owa takisi ne bw’akola luutu munaana tasobola kutuuka ku ssente z’ekola!

Kosita ng’ogikutte bulungi tesala bbeeyi, eri ku nnamba nga UAK esudde ennamba ttaano emabega Rosa gye wagula obukadde 60 ogitunda obukadde 45 ng’ate balwana.
Buli wiiki nnannyini yo afuna 600,000/-.

SIPESULO
Zino zivugibwa okusinga mu mmotoka z’obuyonjo ezitandikirwako abantu aba bulijjo, ennungi oyinza okugigula obukadde 15. Zinywa mpola kuba zisinga kuba za cc1,800. 

Wabula tezirina ssente ze zikola ziri awo kubanga olunaku omugagga afuna 20,000/-  ate n’ebiseera ebisinga  abazivuga ‘babika’ nti zigaanye okulabika ez’olunnaku!

Bw’oba ggwe ogyevugira oyinza okufunamu 70,000/- olunaku nayeoba ofunye nnyo!

Bw’oba olina ky’omanyi ku mmotoka enkozi za ssente mpeereza obubaka ku 0782607870.
 

Mmotoka enkozi za ssente

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akulira UNEB Dan Odongo.

UNEB be yasunsudde okutegek...

Bya Benjamin Ssebaggala  AKAKIIKO akagaba n'okusunsula abakozi mu minisitule y'ebyenjigiriza (Education Service...

Omusawo ng'agezesa bwe balongoosa.

''Mukebere abalwadde endwad...

AKULIRA eddwaaliro ly’e Mulago, Dr. Byarugaba asabye abasawo abalongoosa endwadde nga kkansa w’omu byenda essira...

Abamu ku baabadde mu lukiiko.

Ababadde basolooza busuulu ...

ABATUUZE beekubidde enduulu mu boobuyiinza babayambe obutatundirwa mu bibanja byabwe okubafuula emmomboze. Kiddiridde...

Omusajja ng'afuuyira mu ntebe z'omutuuze.

Balimwezo ne KCCA baggudde ...

Ekitongole kya KCCA nga bali wamu ne Balimwezo Community Foundation batongozza okufuuyira ebiku n’ebiyenje nnyumba...

Mwanje eyabula.

Omusajja eyabula yeeraliiki...

Ssande Mwanje 37, ow'e Gganda yeeraliikirizza mukyala we Aisha Nakanjako 28. Ono yamulekera abaana bana: omukulu...