TOP

Engeri gy’oba okuuma mmotoka yo obutagibba

Added 20th October 2010

Enziba ya mmotoka eyinza okubaawo nga bakuguza mmotoka oba nga wagigula dda. Bayinza okukuwa kkaadi enfu, okugeza nga nnamba ya yingini si y’eri ku kkaadi y’emmotoka. Awo nawo baba bakubbye kubanga oba ovuga mmotoka eteri yiyo.
Ebika bya mmotoka bye basinga okubba mulimu ebisinga okuvugibwa

Enziba ya mmotoka eyinza okubaawo nga bakuguza mmotoka oba nga wagigula dda. Bayinza okukuwa kkaadi enfu, okugeza nga nnamba ya yingini si y’eri ku kkaadi y’emmotoka. Awo nawo baba bakubbye kubanga oba ovuga mmotoka eteri yiyo.
Ebika bya mmotoka bye basinga okubba mulimu ebisinga okuvugibwa ennaku zino. Muno mulimu Toyota Corolla, Corona, Ipsum, Harrier, Premio n’ebirala ebyangu okutunda.

Poliisi egamba nti bwe bazibba oluusi bazikyusa langi, bayinza okuzitereka awantu okumala akaseera olwo ne bazitunda oba okuzitwala mu nsi endala ng’e Congo, Sudan oba e Rwanda.

Buno bwe bumu ku bukodyo bwe bakozesa:
Okupangisa: Ababbi bakozesa nnyo akakodyo kano. Abamu beefuula abafiiriddwa, abagenda okukyalira abaana ku masomero oba okugenda ku mikolo. Ssente z’osala bazikkiriza kuba baba bakimanyi nti bagenda kukubbako mmotoka yo.

N’olwekyo kirungi naawe ogende ne munno bwe baba bakupangisizza osanga munaalwana ne mununula ekidduka.
Beefuula abaagala okugigula ne basaba bavugemu: Kino basinga kukikola bazitunda era bw’omuwa avugemu, bw’aweta ekkoona toddamu kumulaba. Bw’akusaba okuvugamu naawe genderako.

Bakozesa bakanaabe:
Ababbi bakolagana ne bakanaabe okwokya mu bisumuluzo bya mmotoka yo. Bwe bafuna ekisumuluzo olwo nga batandika okukulinnya akagere, bw’opaakinga awantu ng’emmotoka yo bagisimbulawo. Mu ngeri eno, bw’otwala emmotoka yo okugyoza naawe beerawo.

Bakozesa kalifoomu: Bayinza okukuyimiriza ne bakusaba obatwaleko oba okwefuula ababuze ne bakusaba obalagirireko . Muno mwe bayita okukukuba kalifoomu. Tokkiriza gw’otomanyi kukugulira kyakulya oba ekyokunywa kuba olwo mmotoka yo eba erugenda.

Beefuula bakayungirizi: Omubbi asobola okwefuula kayungirizi alina ddiiru naddala ey’ettaka ettaka. Naye bwe bakwesibako, oba ne bakusaba mugendere mu mmotoka yo tokkiriza.
Obukodyo bwe bakozesa okubba mmotoka bungi. Abamu basuula minsanvu mu kkubo ekiro, abalala bateegera ku geeti ng’oyingira oba okukozesa mikwano gyo.

Waliwo abakozesa olukujjukujju  ne bakuggyako kkaadi y’emmotoka [log book] bo ne bewolerako ssente ate bbanka n’esikamu emmotoka yo!

Gy’oba okuumamu emmotoka yo
John Kasibante owa Shell Ben Kiwanuka awa amagezi nti bw’oba ogenda okugula emmotoka ku muntu, musooke mugende mu URA mukebere kkaadi ya mmotoka eyo oba ntuufu.
Poliisi nayo ewa engeri endala bw’oyinza okukuuma mmotoka yo.

l Teekamu alarm: Eno eyamba singa omuntu agezaako okubba mmotoka yo eyinza okuleekaana ne weetaasa.
lTolekera bakanaabe oba abantu b’oteesiga kisumuluzo kya mmotoka yo.
Topaakinga mu kifo kimu buli kiseera, kyusakyusa. Omubbi kasita amanyiira awantu w’otera okupaakinga olwo ng’emmotoka erugenze.
lWaliwo ne ‘looko’ ze bateeka mu siteeringi, gigezeeko kuba atagimanyi emmotoka eyinza okumulema okubba.
lB’otomanyi tobatwalako, oyinza okulowooza nti okola kisa sso weeyolera mpiri.
lEmmotoka yo givuge bw’omu, tomala gagigabaagaba kuba omubbi bw’anajja bajja kulowooza nti y’omu ku bagivuga!

BYA ALICE   NAMUTEBI
                     

Engeri gy’oba okuuma mmotoka yo obutagibba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.