TOP

MINZAANI Z’OKU NGUUDO ZITUFIIRIZA

Added 6th October 2010

Baddereeva abeegattira mu kibiina kya Regional Lorry Driver’s Association era bagamba nti enkola ya UNRA esosola, emmotoka z’abakungu ba Gavumenti  n’ezivudde mu mawanga ag’ebweru tezikwatibwako yadde okutwalibwa  mu kkooti ne bwe zisangibwa nga zitisse akabindo.
Baavumiridde enkola y

Baddereeva abeegattira mu kibiina kya Regional Lorry Driver’s Association era bagamba nti enkola ya UNRA esosola, emmotoka z’abakungu ba Gavumenti  n’ezivudde mu mawanga ag’ebweru tezikwatibwako yadde okutwalibwa  mu kkooti ne bwe zisangibwa nga zitisse akabindo.
Baavumiridde enkola ya minzaani ey’akasobo, evaako emmere n’ebirime  okuvundira ku mmotoka ekigenda okuvaako bbeeyi y’ebintu okulinnya mu butale.

Ssentebe w’ekibiina kino,  Byron  Kinene agamba  nti mmotoka eziva e Congo , Rwanda , Bulundi ziyingira n’okufuluma eggwanga n’obuzito bwonna bwe zaagala,  wabula zo ziggyibwako enguzi eri wakati wa doola  200- 500 ku buli  kifo awali minzaani  .

“Ffe olw’okuba tetulina ssente za kugulirira, aba minzaani batutulugunya nnyo oluusi n’okututwala mu kkooti we kitasaanidde,” Kinene bw’agamba.
 Amyuka Ssentebe, Ronald Iga Muwonge yagambye nti minzaani UNRA z’ekozesa okupima obuzito bw’emmotoka tezituukana na mutindo . “Oyinza okupima emmotoka ku minzaani e Lukaya n’ekulaga nti ebintu by’etisse tebirina buzito buyitiridde  kyokka n’oddamu okupima e Mubende oba Mbarara ng’obuzito bweyongedde era ne bakulagira okutikulako ebintu byonna,” bw’agamba .

Baddereeva bye bagamba
Vicent Tayebwa: Abatika ebirime twandibadde tuggyibwako okupima ebintu bino kubanga tebizitowa kiyittiridde ate tetulina minzaani ze tukozesa mu nnimiiro. 

 Moses Rwejira: Tufiiriddwa ebirime byaffe lwa minzaani kubanga  balwawo okututwala mu kkooti .Ate aba UNRA batugamba twesasulire ssente z’entambula okutambuza omuserikaale  atutwala mu kkooti. Oluusi otuuka eyo omulamuzi nga taliiwo.

Kasawuli Lutema: Ssente z’okusuubula tuzeewola era tuli mu mabanja kyokka enkola ya minzaani etutulugunya, ebirime ne bivunda  kubanga  ebyamaguzi ng’amatooke , emboga byengera oba okuvunda amangu.
Bannannyini mmotoka
 
Muhamad Mpiima: Twagala batuwe ebipapula eby’obuliwo  ng’abaserikale ba tulafiki bye bakozesa ku nguudo kubanga kiyamba okukendezza obudde  n’
ebintu byaffe obutayonooneka .

Ibraham Mansions: Abaserikale abakuuma ku minzaani balemesa ekibiina kyaffe okukola obulungi . Ekibiina kino kyandibadde n’enkizo okulondola ebya minzaani tuleme okutwalibwa nga bakyetwala.

Ying. Contant Munyambaza e Mbarara yagambye nti minzaani zino tezifaanagana mu nkula era zipima mu ngeri ya njawulo. “UNRA erina abakozi batono y’ensonga lwaki wabaawo akasoobo ku minzaani,” bwe yagambye

Bya Sarah Zawedde

MINZAANI Z’OKU NGUUDO ZITUFIIRIZA

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...