Eddagala eriweweeza ku kawuka ka siriimu erimu liba ly’amaanyi nnyo ne liba nga lyokya obutofaali bw’omubiri gw’oyo abeera alikozesa.
Kino kireetera akabubi k’omubiri ak’oku ngulu akaba akalebevu ennyo gamba ng’akoku maaso, amatu, ebyenda, ebitundu by’ekyama ssaako emimwa okukosebwa.
Akabubi ako bwe kamala okukosebwa, ekitundu ekyo kiyinza okufuna amabwa naye ng’amabwa ago gasigala wansi waako nga tegaggyewo lususu lwa ku ngulu era abamu ne bamyuka ebitundu ebyo gamba ng’emimwa.
Waliwo eddagala eriyitibwa “antifungal oba antibiotics†eriweebwa omuntu ng’alina ekizibu ekyo.
Wabula olina okukitegeera nti si buli muntu alina emimwa emimyufu y’abeera n’akawuka ka siriimu. Waliwo abantu ababeera baazaalibwa bwe batyo nga bbo emimwa gyabwe mimyufu.Â
Â
Njawukane n’omukyala kuba alina siriimu?
Mukazi wange ali lubuto. Yazuulibwa n’akawuka ka siriimu ate nga nze sikalina. Twawukane nsobole obutakwatibwa bulwadde? J M.
Ekya mukazi wo okuba nga yakeberebwa n’asangibwa n’akawuka ka siriimu tekikuleetera kwawukana naye.Â
Jjukira nti omukyala bw’aba olubuto aba yeetaaga nnyo obuyambi bwa bba.
Mu ngeri y’emu ne bw’amala okuzaala asigala abwetaaga ate nga n’omwana gw’aba azadde abeera yeetaaga omukwana gwa nnyina ne kitaawe.
Waliwo embeera mu bafumbo eyinza okubaawo ng’omu akawuka ka siriimu kalabika mu musaayi ate omulala ne katalabika.Â
Mu mbeera eyo, atakalina era asobola bulungi okusigala nga takalina singa aba akozesa kondomu buli lwe beegatta n’omukyala.
Eky’okwawukana ne mukyala wo tekijja kukuyamba oba tosobola kumugamba kukozesa kondomu waakiri mutwale ew’omusawo amuwa eddagala ly’akozesa y’ajja kukimugamba
Okwesasuza ng’osaasaanya siriimu oba weesimira bunnya
Abantu abamu bwe bamanya nti balina akawuka ka siriimu baggwaamu amaanyi.
Abamu batandika okuganza abantu abawera nabo beesasuze nga bongera okusiiga abalala siriimu.
Enkola eno nkyamu nnyo kuba oba weereetera mitawaana. Oba oyongera kunafuya mubirigwo kuba oba okombooza endwadde okuva ku buli muntu gwe weegatta naye.
Olina kwekuuma na kuba mwesimbu omubiri gwo gusobole okuba n’amaanyi.
Buuza omusawo