TOP

Kabaka aggudewo ekifo awayigirwa okuvuga mmotoka mu Lubiri e Mengo

Added 7th July 2010

Ekifo kino ekyakubiddwa kkoolansi n’okussibwamu amakubo n’obubonero nga bwe bubeera ku nguudo kya kibiina ekiyigiriza okuvuga ebidduka mu ggwanga ekya Uganda Driving Standards Agency (UDSA).

 Joseph Ssenabulya, omwogezi w’ekibiina kino  yagambye nti kaweefube agendereddwaamu kutum

Ekifo kino ekyakubiddwa kkoolansi n’okussibwamu amakubo n’obubonero nga bwe bubeera ku nguudo kya kibiina ekiyigiriza okuvuga ebidduka mu ggwanga ekya Uganda Driving Standards Agency (UDSA).

 Joseph Ssenabulya, omwogezi w’ekibiina kino  yagambye nti kaweefube agendereddwaamu kutumbula mutindo kwe kiyigiririza emmotoka mu ggwanga.

Ekifo kino kiriraanidde ddala n’ekifo awategekerwa  emyoleso gy’ebyobuwangwa mu Lubiri . Enguudo zonna zizimbiddwa ne bassaamu amakoona ageetaagisa okubangula omuvuzi w’emmotoka. Bataddemu enkulungo omuntu kw’akakasiza okuweta ekkoona. Bazimbyemu enguudo ez’obusimba n’eza ‘one way’.

Ssenabulya  agamba nti “Ssaabasajja yatuwa ekifo kino n’ekigendererwa ky’okubangula baddereeva kisobozese okumalawo obubenje ku nguudo za Uganda.”

Yagambye nti ekifo kino UDSA yakizimbidde ku mutindo gwa nsi yonna era kye kijja okuba ekikulu mu kugezesa abo abasuubirwa okuba nti bayize emmotoka. Bw’oyiga obubonero bw’enguudo mu Lubiri olwo ng’ogenda e Naggulu okugezesebwa n’okufuna pamiti.

Kino ky’ekifo ekisoose mu Uganda ekigenda okukola ng’ettendekero ly’abavuga ebidduka. Abavuga ebidduka mu Uganda abasinga bayigirizibwa bantu mu nguudo ekivaako oluusi okukola obubenje.

Ssenabulya agamba nti ensonga eyabawaliriza okusaba ekifo ekyo mu Lubiri lwakuba waliwo omujjuzo mu Kampala. “Mu mitendera emituufu, omuntu tasaana kuvuga mmotoka ku luguudo lwa lukale nga tannakuguka era kimenya mateeka,” bwe yagambye.

Mu mwoleso gw’ebyobulambuzi ogwabadde mu Lubiri e Mengo wiiki ewedde,  Ssaabasajja yayiseeko mu kifo kino n’akitongoza era n’awandiikako mu kitabo kya UDSA.

Kabaka yasiimye omulimu gw’ekibiina kino n’akunga Bannayuganda buli omu okusitukiramu okulwanyisa obubenje ku nguudo ng’avuga bulungi ebidduka oba okuwawaabira abavugisa ekimama.

Kabaka aggudewo ekifo awayigirwa okuvuga mmotoka mu Lubiri e Mengo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaavunaaniddwa mu kkooti y'amagye.

ABAGAMBIBWA OKUNYAGA OMUKOZ...

ABAGAMBIBWA okulumba amaka g’omukozi wa bbanka nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu kkooti y’amagye omu nakkiriza...

Ekiggwa ky'Abajulizi e Namu...

Engeri Ekiggwa ky'Abajulizi e Namugongo gye kifaanana. Eno gye battira Abajulizi era ekifo kino kyafuuka kya bulambuzi...

Abamu ku beetabye mu lukiiko.

Alina poloti etaweza 50 ku ...

Minisitule y’eby’ettaka n’okuteekerateekera ebibuga bafulumizza enteekateeka empya ey’okuzimba mu bibuga. Bategeezezza...

SPC Faizal Katende.

SPC Faizal Katende eyakwati...

OFIISA wa poliisi SPC Faizal Katende asabye kkooti emukkirize okuyimbulwa ku kakalu ka`ayo. Bino Ssentebe wa kkooti...

Ssentebe Sserwanga (alina enkumbi) ng'atema evvuunike ly'okuzimba eddwaaliro.

Gavumenti ewadde ab'e Kayun...

GAVUMENTI ewadde ab’e Kayunga obukadde bw’ensimbi 600 okugaziya eddwaaliro lya Busaale mu ggombolola y’e Kayunga...