TOP

Owatakisi asolooza ku bantu ssente n’atabatuusa asibwa emyezi 6

Added 12th May 2010

Bino byabaddewo wiiki ewedde, abasaabaze baalabye obudde buwungeera kwe kupangisa Kosita ne bagumba ku kitebe kya poliisi mu Kampala.

Poliisi yayizze bbaasi eno okuli nnamba za Kenya KAU 1o4J eya kkampuni ya Blue Executive ne bagigwako mu Kisenyi nga gye bagikwese.
Mirundi emeka gyâ€

Bino byabaddewo wiiki ewedde, abasaabaze baalabye obudde buwungeera kwe kupangisa Kosita ne bagumba ku kitebe kya poliisi mu Kampala.

Poliisi yayizze bbaasi eno okuli nnamba za Kenya KAU 1o4J eya kkampuni ya Blue Executive ne bagigwako mu Kisenyi nga gye bagikwese.
Mirundi emeka gy’olinnya takisi, ddereeva n’abasolooza kyokka n’abakomya mu kkubo ne mweyiiyiza entambula ey’okubongerayo?
 
Lawrence Niwabiine, akulira poliisi y’ebidduka mu Kampala n’emiriraano  agamba nti etteeka mu mbeera eno liragira bannannyini bidduka okuliyirira ssente z’omusaabaze gwe bakomezza mu kkubo.

“Bannannyini bbaasi eno balina okuliyirira abasaabaze bano wadde ng’abamu baafuna entambula endala ne bagenda,” Niwabiine bw’agamba.

Niwabiine agamba nti omusaabaze okulinnya bbaasi y’olukale ng’amaze okusasula eba efuuse ndagaano wakati we ne kkampuni ya bbaasi  era endagaano eno eggwaako ng’abasaabaze bamaze kutuuka gye balaga.

Etteeka erifuga ebidduka  n’obutebenkevu ku nguudo liragira  bbaasi oba takisi okutuusa abasaabaze mu kifo ekiba kiragaaniddwa okuva w’esimbudde era nga kino bwe kiba tekituukiriziddwa abasaabaze balina okuddizibwa ssente zaabwe beesalire amagezi

Kino bwe kiba kiremye  nannyini kkampuni ya bbaasi oba takisi aba alina okuvunaanyizibwa okufuna mmotoka endala okuggya abasaabaze mu kifo bbaasi oba takisi ye w’eba ebalese .

Enkola y’okusolooleza ssente mu ppaaka nga bbaasi tennasimbula  egendererwamu kukendeeza babbi wabula abamu ku baddukanya bbaasi oba takisi ezimu bagyeyambisa bubi nebatuuka n’okusuza abasaabaze ku makubo ng’ebidduka byabwe bifudde.

“Buli kkampuni ya bbaasi yandibadde ne bbaasi ya sipeeya eyambako kw’ezo  eziba zifunye obuzibu ku makubo okutaasa abasaabaze obitakonkomalira ku makubo samba ebidduka bino biba bifunye obuzibu,” Niwabiine bwe yagambye.

Waliwo takisi ezirwa mu kkubo mu ngeri y’okulumya, kyokka etteeka liragira nti singa takisi oba bbaasi ekola ekintu kino mu bugenderevu esussa eddakiika 30 oyinza okuwaabira dereeva.

Owatakisi oba bbaasi asolooza ssente ku bantu n’atabatuusa ayinza okusibwa emyezi 6.  

Owatakisi asolooza ku bantu ssente n’atabatuusa asibwa emyezi 6

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...