TOP

Emmotoka eya otomatiki erina bizibu ki?

Added 21st April 2010

Pamiti bw’oba wagisasula mu URA nga kati wayise mwaka mulamba nga tonnagenda mu Face Technologies kusasula 55,000/- eza pamiti ya kompyuta, tekigugaana kugenda mu maaso nayo.

Wabula olina okumanya nti omwaka omulamba gw’omaze nga togenze kugisasulira  guba  gukufudde  kuba ekuweebw

Pamiti bw’oba wagisasula mu URA nga kati wayise mwaka mulamba nga tonnagenda mu Face Technologies kusasula 55,000/- eza pamiti ya kompyuta, tekigugaana kugenda mu maaso nayo.

Wabula olina okumanya nti omwaka omulamba gw’omaze nga togenze kugisasulira  guba  gukufudde  kuba ekuweebwa ng’eva  ku lunaku lwe wasasula mu URA.

Ssente 55,000/- z’owa mu Face Technologies zisasulibwa abo bokka ababa bazza obuggya pamiti enkadde ez’obutabo ezaakoma okukola omwaka oguwedde. Abafuna pamiti empya  nga baakamala okugezebwa bbo basasula 20,000/- zokka, eza URA zisigala kye kimu.
Ate n’okusasula 65,000/- mu  URA okuzza obuggya pamiti yo tekikweyibaaza nti  olina kugenda butereevu okufuna pamiti ya kompyuta kuba eyo gye wasasulira eyinza okuba nga yali ya kicupuli!

Nkola ya URA obutazuukusa mbwa yeebase okuggyako ng’osoose okusaba n’omanya oba nga pamiti gy’ogenda okuzza obuggya  nnamu. Kino okikola ng’omaze kusasula 20,000/-.

Nnina pamiti omuli kiraasi ya DL, CM, DL ne B mu 2008, Nsobola okukoonyesaamu “CH”?
OKUBA ne pamiti omuli kiraasi, DL, CM ne DL  okuva mu 2008, kitegeeza nti oli waddembe okukoonesaamu kiraasi CH wabula ng’olina kusooka kuddamu kugezesebwa n’okusasula mu URA.

Emmotoka eya otomatiki kyokka ng’erina kabyuleeta eba na bizibu ki? Nsobola okugikyusa?
EMMOTOKA  za otomatiki oba ezitalina giyabookisi zettaniddwa nnyo ensangi zino era abantu abasinga ze bagula olw’obwangu obuzibeeramu naddala nga bazivuga.

Wabula emmotoka zino zirina yingini ez’enjawulo ng’ezimu zikozesa EFI ate endala zikozesa kabyuleeta. Omuntu ng’avuga emmotoka ya otomatiki ng’ekozesa kabyuleeta alina okwegendereza embeera y’emmotoka ye nga tannatandika lugendo naddala oba mulimu amafuta. Kubanga amafuta bwe gaggwaamu olumu zigaana okwaka ate nga yo tetegulwa.

Ng’oggyeeko emmotoka okusik,a amafuta gasobola okubeeramu obukyafu obuyingira mu kabyuleeta n’ezibikira awo nno bw’obeera toli mumanyi ku mmotoka n’ogisikirako mu kamwa n’ogigabirako teyinza kuddamu kwaka.

Emmotoka zino zifulootinga nnyo era amafuta bwe gajja amangi gagiremesa okwaka.
Singa ‘Fuel pump’ y’emmotoka zino efuna obuzibu obwa buli kiseera gamba ng’okusika, kyangu yingini yaayo okufa kubanga bikolagana.

Geraageranya emmotoka erina  kabyuleeta n’eya EFI.
Waliwo yingini za mirundi 2, ekozesa kabyuleeta n’eya EFI. Emmotoka bw’eba ya  kabyuleeta n’emala esika, kigibeerera kyangu okutandika kasita ofunayo obufuta butono n’obuteekamu ate eya  EFI bw’esika,olina kuteekamu amafuta agawera okutandika.

We byawukanira awalala we wali nti emmotoka erina kabyuleeta bwe baba bateekamu amafuta, gagenda butereevu mu yingini ate eya EFI go gayita mu ttanka we gasanga akatimba akagasengejja obukyafu ne butagenderamu amalungi gokka ne gagenda mu yingini.

Kabyuleeta yo bagyiggyamu ne bagyoza kubanga etera okubaamu obukyafu olw’obutaba na kasengejja ate EFI tebagyoza kubanga erina  akasengejja.

Ekimu ku biyinza okwonoona kabyuleeta ge mafuta okubaamu obukyafu obungi kubanga kino kigireetera okuziba mu ttanka ng’amafuta tegayingira bulungi kutuuka mu yingini.

Kabyuleeta zisinga kubeera mu mmotoka ze tuyita eza ‘maniyo’ (ez’okukuba ggiya) ate otomatiki ezisinga zirina EFI.                   Â

Emmotoka eya otomatiki erina bizibu ki?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kangaawo ng'ayogera e Butuntumula.

Kangaawo akunze Abalemeezi ...

OMWAMI wa Ssaabasajja Kabaka atwala essaza ly' e Bulemeezi, Kangaawo Ronald Mulondo agugumbudde bassemaka  abaganza...

Pulezidenti wa DP Norbert Mao ne Ismail Kirya mu lukiiko ne bannamawulire.

Aba DP basabye Gavt. okuliy...

BANNAKIBIINA kya DP basabye Gavumenti okuliyirira abantu bonna abagenda okufiirwa ettaka awagenda okuyita payipu...

Dayirekita Wambuga (ali mu kkooti) ng' agezaako okunnyonnyola abasomesa abamutabukidde.

Abasomesa batabukidde dayir...

Emirimu gisannyaladde ku ssomero lya Good Luck Junior School e Katalemwa mu ggombolola y'e Gombe mu disitulikiti...

Omukazi nga bamusitula okumussa ku kabangali bamutwale mu ddwaaliro.

Kabangali ya poliisi etomed...

KABANGALI ya poliisi ewabye n'erumba okukazi abadde atambulira ku mabbali g'ekkubo okukkakkana ng'emumenye okugulu....

Mu Kkooti ye kkansala w'e Luzira, Willy Turinawe  ng'atottola obulumi bwe bayitamu.

Abatuuze batabukidde abayoo...

ABATUUZE ba Stage 7 e Luzira ekisangibwa mu Munispaali y'e Nakawa bavudde mu mbeera ne batabukira abakozi ba Kkampuni...