Obutamanya nnamba ya pamiti yo tekitegeeza nti tosobola kufuna dipyulikeeti yaayo kuba ebiwandiiko byayo byonna bibaay mu URA ne mu kkampuni ya Face Technologies eyaweebwa olukusa okukola n’okugaba pamiti za kompyuta.
Bino byonna bwe birema ogenda ku poliisi egezesa baddereeva abaagala okufuna pamiti ne bakufunira nnamba ya CC (Certificate of Competence) eyakuweebwa oluvannyuma lw’okugezesebwa n’okakasibwa nti osaanidde okuweebwa pamiti
Wabula obutamaala ssente na biseera oteekwa okuba nga wekakasa obutuufu bwa pamiti yo kuba bangi babadde bavugira ku za bicupuli
Bwe mba njagala okufuna pamiti omuli kiraasi ya pikipiki, mitendera ki gye mpitamu era bifo ki byengendamu? 0774224083
Okufuna pamiti ya pikipiki oteekwa okuba ng’omaze okugezesebwa poliisi egezesa baddereeva abaagala okufuna pamiti. Nga tonnatuukayo oteekwa okuba nga wamaze okukeberebwa abasawo era ne bajjuza ku ffoomu ekuweebwa okuva ku ofiisi ya URA ezikola ku pamiti.
Ffoomu gye watwala okujjuza ogizza mu URA ne bakugerekera ssente z’olukusa lw’okuyirizibwa pikipiki olumanyiddwa nga (Provisional) ku 24,000/-. Oddamu okusasula 4,000/- mu Face Technologies okukuwa olupapula lwe lumu olwo n’otandika okuyigirizibwa pikipiki.
Oluvannyuma lw’okwekakasa nti atengeredde okuvuga era nga n’obubonero bw’oku nguudo obukuba budinda, osasula 22,000 mu bbanka nga zino za kukugezesa okuzuula oba osaanidde okuweebwa pamiti.
Bw’oyita n’oddamu okusasula 66,000/- eza pamiti ya myaka esatu mu URA ne mu Face Technologies n’osasulayo 20,000/- ne bakuwa pamiti yo.
Okufuna pamiti ya pikipiki otandikira ku ofiisi ya URA e Nakawa, e Kampalalamukadde ku kizimbe ekirinaanye omuzigiti ne ku matabi ga URA wonna mu ggwanga.
Nnina pamiti ya kiraasi “Bâ€, nzikirizibwa okussaamu kiraasi ya “DL†ne “CM†omulundi ogumu? Edison e Kasese, 0773324920
DDEREEVA yenna alina pamiti nga yagifuna mu makubo matuufu waddembe okugikoonesaamu kiraasi endala wabula nga buli emu essibwamu ku lwayo ng’osabye olukusa olwenjawulo.
Omuntu afuna pamiti evuga mmotoka ng’atandika butandisi aweebwa kiraasi “B†wabula oluvanyuma lw’okuvugira akaseera aba waddembe okuddayo mu URA n’agula empapula ezimukkiriza okuddamu okugezesebwa okuzuula oba asaanidde okukoonamu kiraasi ya mmotoka gy’aba asabye.
Kino kikola ku kiraasi endala ezitali ezo ezikkiriza omuntu okuvuga ekidduka ekisaabaza abantu okuva ku 14 okudda waggula.
Kiraasi zino zeetaagisa ddereeva okuba ng’amaze okufuna obumanyirivu bwa myaka etaano okuva ku lunaku lwe wafuna kiraasi esooka.
Bwe mba ne kiraasi “B†ddi lwe nnina okufuna kiraasi endala era kiraasi ki? 0782744252
KIRAASI “B†y’entandikibwako, naye kiraasi endala gy’oyagala okukoonesaamu esinziira ku kika kya mmotoka gy’oyagala okuvuga.
Kino kikola ku kiraasi endala ezitali ezo ezikkiriza ddereeva okuvuga mmotoka ezisaabaza abantu okuva ku basaabaze 14 okutuuka kw’abo abatwalibwa bbaasi.
Okukyusa pamiti za kompyuta kukoma ddi?0713588659
OKUKYUSA oba okuzza obuggya pamiti enkadde ez’empapula kukyagenda mu maaso ku matabi ga URA ne kkampuni ya Face Technologies.
Pamiti erina okuba ng’ezziddwa buggya obutasussa bbanga lya myaka etaano okuva ku lunaku lwe yazzibwa obuggya oba lwe yakuweebwa sso si lwe yaggwaako ng’abangi bwe balowooza.
URA yakoma okugaba pamiti z’empapula mu August wa 2005 era zaakoma okukkirizibwa ku nkomerero ya 2008, wabula abakyazirina bakkirizibwa okuzizza obuggya. Wabula abaafuna pamiti z’empapula mu August wa 2005, mu August w’omwaka guno lwe ziweza emyaka etaano era ekiseera kino bwe kinaayita tewajja kubaayo pamiti ya mpapula ezzibwa buggya.
Okukyusa pamiti kukoma ddi?