TOP

Emirimu 5 gy’otosaanye kunyooma

Added 6th April 2010

Emirimu omuli okutunda amanda, akusiika chapati, okwokya omucomo, obutembeeyi okutambuza ebirime gitwalibwa ng’egy’abataasoma ng’ate gyetaaga okuyiiya kungi okugifunamu amagoba.

Nnaalongo Hasifah Nalubega omusuubuzi w’amanda mu katale ka Kireka Farmers’ Market agamba nti omulim

Emirimu omuli okutunda amanda, akusiika chapati, okwokya omucomo, obutembeeyi okutambuza ebirime gitwalibwa ng’egy’abataasoma ng’ate gyetaaga okuyiiya kungi okugifunamu amagoba.

Nnaalongo Hasifah Nalubega omusuubuzi w’amanda mu katale ka Kireka Farmers’ Market agamba nti omulimu gw’okutunda amanda gukyusizza obulamu bwe.

Anyumya bwe yatandika okugukola;
Embeera eyatunyigiriza ne Ssaalongo mu kyalo e Kasokwe-Bbaale, Kayunga yatuwaliriza okutandika okwokya amanda okuva mu miti egyali mu kibanja kyaffe mu 2002.

Omulundi ogwasooka twafuna ensawo z’amanda 75 era kwe nnatandikira. Kino nakikola oluvannyuma lw’okuteesa ne Ssaalongo tugalenge mu kifo ky’okugasuubuza kuba abagula ensawo banyigiriza.

Twafuna ekifo e Nassuuti - Mukono we ntandika okugalenga era mu 2005 nafuna ekifo mu katale e Kireka we nkolera na kati.
Amanda ngasuubula okuva mu bitundu ebitali bimu ng’oluusi tugula miti okugeza e Nakasongola ne tupangisa abagookya n’ekifo ne tuganona nga gawedde okupakira mu nsawo.

Amanda ngalenga okuva ku 500/-, ate ensawo kati eri wakati wa 35,000/- ne 38,000/- okusinziira ku bunene n’obugumu.
Tuguze poloti e Nassuuti era tutandise n’okuzimba. Tulina emmotoka bbiri okuli eya takisi n’eya Fuso esomba amanda okuva yonna gye tuba tugaguze.

Agamba nti abantu bangi bafa obwavu nga bawoza banandaba batya nga nzirugadde zenna n’amanda sso ffe abagakolamu tetusula njala.
Ate Jamada Byansi ow’e Nateete ng’ayokya mucomo agamba nti ekikulu si bubi bwa mulimu naye obukodyo bw’okozesa okusika abaguzi.

“Nze mbakwasiza ku matooke ge njokya nga nkalirira ennyama kuba bangi bagettanira. Ekirala n’emisana njokya ennyama ne nguza abagyetaaga ekinnyambye okwongera ku nnyingiza yange”.

Emirimu 5 gy’otosaanye kunyooma

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...