Bw’oba otambuza ssente za bizinensi yo ne zibbibwa nawo oliyirirwa.
Yinsuwa y’ababbi eyamba okuddaabiriza abakozi n’ekizimbe singa biba bifunye obuzibu mu kuzindibwa ababbi.
Ssente zo bwe zibbibwa okuva mu kabada mw’ozitereka oluvannyuma lw’okunoonyereza    zikuddizibwa.
Ddi lwe siriyirirwa?
Singa obbibwa mu lutalo oba mu mbeera ey’obwegugungo n’okwekalakaasa tosasulwa.
Aba Owino obwegassi bubabbudde
ABASUUBUZI mu katale ka St. Balikuddembe batandiseewo ekibiina mwe banaayita okwewola ssente ng’emu ku ngeri gye bayinza okuyitamu okwegobako obwavu.
Abasuubuzi abeegattira mu kibiina kye bayise Twekembe Owino Development Association bagamba nti ekyabawalirizza okutandika ekibiina kino kwe kuba nti bo n’enfuna yaabwe entono tebasobola kugenda mu banka kwewola olw’amagoba agali waggulu n’obutaba na misingo egibasabwa.
Mmemba akkirizibwa okwewola ssente ezitasukka kakadde era buli lwa ssande bafuna be bawola.
Eno y’enkola gye bayita eya nnigiina omulongooseemu ng’atandikidde mu Soweto zooni.
Ekibiina kyabwe kiweza bammemba abasoba mu 100 kyokka nga beegabanyamu obubinja bwa bantu 25 okusobola okutambuza obulungi emirimu gyabwe.
Bagamba nti enkola eno ebayambye nnyo okwekulaakulanya n’okweggya mu bwavu.
Ssentebe w’ekibiina kino Jimmy Ssempebwa agamba nti enkola eno ebayambye okugaziya bizinensi zaabwe kuba bangi ssente bazongera ku kapito ne basobola okukulaakulana.
Bizinensi 5 z’okola mu kyalo n’ofuna kiralu
BYA YUSUF SENKANDWAÂ Â Â Â Â Â Â Â Â Â Â Â Â Â Â Â Â
ABANTU b’omu byalo bangi olufuna ku ssente nga beeyunira kibuga olw’okulowooza nti mu kyalo teri mirimu gisobola kuvaamu ssente zeegasa.
Omukugu mu bya bizinensi, Joel Baliruno asomesa mu yunivasite e Makerere akulaga engeri gy’oyinza okukolamu ssente mu kyalo n’otojulirira kibuga.
Agamba nti abantu beetaaga bintu bye bakozesa mu bulamu obwa bulijjo era bw’obikola      ng’obafunye.
Agamba nti bizinensi y’okubumba ensuwa mu byalo ekolera ddala kuba firiigi n’amasannyalaze abasinga tebabirina ng’ate beetaaga okunywa amazzi agannyogoga era bazeeyunira.
Steven Lubira ow’e Bbira ku lw’e Mityana agamba nti, ensuwa zino azifunyeemu. Yatandika mpola nga n’ebbumba yalyesimira naye kati alitikka ku mmotoka kuba yeetaaga lingi.
l Ensuwa asinga    kuzibumbira ku wooda era olunaku asobola okubumba ensuwa nnya buli emu n’agitunda ku 3000/- n’okweyongerayo okusinziira ku bunene n’emisono egiriko.
Amazzi afuna ga bwereere ne w’akolera tapangisaawo. Omwezi afuna ssente ezisoba mu 500,000/- okuva mu baguzi aba wooda bokka.
l Bizinensi y’obulimi naddala nga tolinda sizoni. Obulimi bufuule bizinensi nga mu biseera by’omusana osobola okufukirira ebirime n’okungula ng’abalala  balinze sizoni n’otovuganyizibwa mu katale n’ofuna amagoba agawera.
Teweetaaga kulima yiika nnyingi wabula oyinza okulima ebirime ebikula amangu ng’obutiko, ennyaanya, enva endiirwa, n’ebirala ebizza amagoba ng’obirimidde watono.
Bino osobola okubitundira awaka oba okubitwala mu katale n’osuubuza.
l Okusinziira ku Baliruno, obulunzi nabwo bufuna. Enkoko, embizzi, ente, embuzi n’ebirala byonna osobola okubiganyulwamu bw’oba weewaddeyo.
Bino kiba kirungi n’obirundira mu mitendera nga buli kiseera oba n’ekyokutunda nga waliwo akyetaaze.
l Ebibala omuli amapaapaali, emiyembe, amapeera, ovakedo, n’ebirala obitundira ku musiri oba okuteeka akadaala awaka wo ne babinona awo nga tobitambuzza.
l Osobola okuddaabiriza engatto, ssapatu n’e ensawo n’ebirala n’obizza bupya abantu ne babigula ku ssente ensaamusaamu nga tofulumizza kinene.
Ebifa mu yinsuwa