TOP

Yiga okufuga obusungu bizinensi ekulaakulane

Added 9th February 2010

Buli omuntu lw’akosa munne, aba ayagala okwesasuza mu ngeri emu oba endala.

Naye mu kukola bino byonna twerabira nti singa amaanyi ge tutadde mu kwesasuza tugassa mu kuzzaawo enkolagana n’oyamba eyakusobezza okutegeera nti ky’akola kikyamu mu ngeri etamulengezza n’okumufuula atali

Buli omuntu lw’akosa munne, aba ayagala okwesasuza mu ngeri emu oba endala.

Naye mu kukola bino byonna twerabira nti singa amaanyi ge tutadde mu kwesasuza tugassa mu kuzzaawo enkolagana n’oyamba eyakusobezza okutegeera nti ky’akola kikyamu mu ngeri etamulengezza n’okumufuula atalina magezi, kyandisinze era kyandivuddemu ebibala.

Omuntu agaana okufuga obusungu kiba kitegeeza nti alemeddwa okufuga obutonde era aba alina enjawulo ntono nnyo ku nsolo!
Okulemwa okufuga obusungu kitegeeza nti ogaanyi okufaayo okumanya lwaki omuntu oli yeeyisizza mu ngeri bw’etyo.

Twala ekyokulabirako ky’omuntu ajja mu dduuka n’atandika okukulangira nga bw’oseera ennyo ng’ate n’ebintu byo bya mutindo gwa wansi. Omuntu yenna afaanana bwati bw’oba ng’okimanyi nti ky’ayogera kikyamu toyinza butanyiiga mu mutima kubanga aba atandise okukulaga nti totegeera by’okola, onoonya kwekkusa wekka awatali kufa ku bantu b’oguza.

Kyongera okukunyiiza naddala bw’aba w’ayogerera waliwo bakasitoma abalala b’olowooza nti bayinza okukuvaako kubanga bizinensi okuyitimuka yeesigama ku ngeri abantu gye bagirowoozaako.

Mu mbeera eno bw’otoba mugezigezi tojja kufiirwa kasitoma oyo yekka wabula n’abalala bangi singa onoolemwa okufuga obusungu.
Jjukira nti omuntu ono ebigambo byonna by’ayogera ayinza okuba ng’abitegeeza  oba ng’anoonya ngeri ya kukugulako ebintu ku ddondolo ng’ayita mu kukukuba omudibo.

Oteekwa okumanya ekigendererwa kya kasitoma olyoke omanye ebigambo by’olina okukozesa era nga bw’ojjukira nti enkwata gy’onoomukwatamu y’ejja okukuyamba okumusigaza nga kasitoma ne bakasitoma abalala.

Jjukira nti buli kasitoma waamugaso gy’oli era toteekeddwa kumufiirwa. Ojja kumutunuulira ng’omuntu omu, kyokka buli muntu alina abantu b’akolagana nabo era abamukkiririzaamu . Kitegeeza nti asobola okukwonoona oba okukuyamba okuyitimuka.

Omuntu ow’ekika kino leka kukozesa lulimi olumunafuya, fuba okumunnyonnyola ng’omulaga nti otegeera obulumi bw’ayitamu okusobola okufuna ekintu ekirungi nti era naawe olw’okuba nti bizinensi togenda kugiggalawo nkya ofuba okulaba nga buli kasitoma ajja ate akomawo nti era okimanyi nti buli kasitoma akola okunoonyereza n’oluvannyuma n’alyoka asalawo okugula mu kifo ekimu oba ekirala.
Yongera omunnyonnyola, bwe kiba  kituufu, lwaki ebintu byo biri wagguluko mu bbeeyi okusinga awalala. Kiyinza okuba nga kiva ku buwangaazi n’obwesige abantu bwe babirinamu.

Munnyonnyole obulabe obuli mu kugula ebintu by’alowooza nti bya layisi, omuli okufiirwa obulamu, oba okufiirwa ssente, anti jjukira nti agula essaati enkadde, agula ssatu ng’eyagula empya akyagirina.

Bino byonna byogere mu ngeri emulaga nti otegeera obuzibu bw’ayitamu okutuuka okugula ekintu kyonna mu bulamu omuli okunoonya ssente n’okuzuula ekintu ekyo kyennyini kye yeetaaga.

Gye munaamalira mwembi mujja kuba basanyufu, kasitoma ojja kuba omusigazza ate nga n’abalala ababaddewo beeyongedde okukukkiririzaamu.

Bino tebikwata ku bizinensi zaffe zokka wabula ne mu mbeera endala zonna. Jjukira nti omuntu bw’aba akulowoozaako bubi, tojja kumuwaliriza kulaba bintu nga ggwe bw’obiraba.  Babboosi ab’ebboggo, abazadde abasussa obusungu, abasajja abanyoomoola abakazi, abakazi abayomba olutatadde balina okukijjukira nti abantu tebaagala kukyusa ndowooza zaabwe, toyinza kubakaka kukkaanya naawe, kyokka tusobola okubawooyawooya ne tubakkirizisa bye twagala singa tuba tukikoze mu ngeri ey’omukwano etebanyoomoola.

ENGERO Z’ABAGAGGA: Ab’empaka ababiri tebawala luga .

Yiga okufuga obusungu bizinensi ekulaakulane

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omubaka omulonde Kawalya

Omubaka omulonde owa Lubaga...

Omubaka omulonde owa wa Lubaga North mu palamenti, Abubaker Kawalya, obukulembeze bwe yabutandikira mu ssomero...

Tomusange

Omuzannyi akuba munne omupi...

AMATEEKA g'omupiira agaawandiikibwa gali 17, wabula wayinza okubaawo ekintu kyonna (ekisobyo oba nedda), ng'okutuuka...

Ssenga

Omusajja alina omukazi omul...

OMUSAJJA gwe njagala tanfaako simanyi oba alina omuwala omulala nkole ki? Mwana wange mu bikolwa by'omusajja...

Byarugaba

Bakutte 3 ku by'okutemula s...

POLIISI y'e Rukiga ekutte abantu basatu abagambibwa okwenyigira mu ttemu lya ssentebe w'ekyalo eyanenyezza abavubuka...

Kyagulanyi (ku ddyo), Rubongoya ne Nyanzi ku offiisi za NUP e Kamwokya eggulo.

Kiki kye kitegeeza Kyagulan...

Kiki kye kitegeeza Kyagulanyi okuggyayo omusango mu kkooti? Bannamateeka boogedde: Munnamateeka Male Mabirizi...