“Oyinza okulowooza nti okekkereza mafuta, naye buli mmotoka lw’etebeera mu ggiya erwawo okusiba, bwe weekanga naddala ku mmotoka ezikozesa omukka okusiba eyinza okukulemerera,†Ssenyonga bw’agamba.
Annyonnyola nti bw’okuba endobo yingini oba ogisirisizza, eba tekyasobola kukola mukka ogweyambisibwa mu kusiba era mu mbeera eno oyinza okukola akabenje.
“Oyinza okwonoona yingini ne ggiyabookisi kubanga emipiira gy’emmotoka giba gidduka nnyo okusinga yingini, buli lw’oteekamu ggiya ng’obadde okubye endobo yingini yeekanga n’obupiira bwa ggiyabookisi naddala ku mmotoka eza otomatiki bwonooneka. Ate lowooza ku mbeera bw’oba otadde emmotokayo mu ndobo (N mu za otomatiki) naye ne weerabira ng’okyusa ggiya n’ossaamu eya livansi (R), yingini oba ogyonoona,†omukugu bw’agamba.
‘Okukuba endobo’ kwonoona yingini