TOP

Okufuna omukwano n’abagagga yiga okwogera bye baagala

Added 1st December 2009

Abantu bangi bankubidde n’abalala ne bawandiika nga bagezaako okulaga nti kizibu nnyo okukwana omugagga oba omuntu akusingako, nti emirundi mingi twesanga nga kitwanguyira okukwatagana n’abantu bwe twenkana.

Kino kituufu nnyo era kye kimu ku bintu ebisinze okutukuumira emabega.  Osan

Abantu bangi bankubidde n’abalala ne bawandiika nga bagezaako okulaga nti kizibu nnyo okukwana omugagga oba omuntu akusingako, nti emirundi mingi twesanga nga kitwanguyira okukwatagana n’abantu bwe twenkana.

Kino kituufu nnyo era kye kimu ku bintu ebisinze okutukuumira emabega.  Osanga omuntu ng’agenze ku mukolo gw’okumanyagana kyokka n’asigala ng’anyumya n’abo bokka baasangiddwa amanyi era omukolo gugenda okuggwa, ng’okuggyako be balangiridde ku kazindaalo talina mupya gw’amanyaganye naye.

Era eno ensonga y’emu yeevaako abasajja abategeerekeka okulemwa okufuna abakyala ababasaanidde,  kubanga aba atidde abakyala abamulabikidde ng’abebbeeyi so nga mu butuufu ye bbeeyi ye,  okukkakkana ng’omusajja abadde anyoomebwa ate ye yeewangulidde  omukazi alabika nga wa bbeeyi.

Bwe tutyo era bwe tulemwa okufuna emikwano gye tulowooza nti gya bbeeyi ate abalala ne bafuna emikisa egituukirira abantu abo kyokka ne balemwa okufuna omukwano oba okuguwangaaza, so nga okukola emikwano kyandibadde kintu kyangu nnyo.

Ekisinga obukulu kwe kumanya nti abantu bonna beerowoozaako bokka. Kino kitegeeza nti bw’oba oyagala okusanyusa omuntu oteekwa okumussa mu kifo ekimulaga nti wa maanyi.

Okusobola okukunnyonnyola kino okitegeere ka nkuwe eky’okulabirako ekigamba nti buli muntu gy’afa yenkana tayagala kumuyisaamu maaso.

Kino kitegeeza nti buli muntu ayagala okulabika nga wa mugaso era wa maanyi mu bantu abalala era ffenna kino kye kitukeeza okukola. Omuntu n’azimba ennyumba eyebisenge by’atajja kusulamu, n’agula emmotoka gy’avuga omulundi ogumu mu mwezi, abalala n’agula ey’ebbeeyi kyokka nga waliwo ey’essente entono eyandikoze omulimu gwe gumu. Oli asalawo  okwambala essuuti mu biseera eby’ebbugumu, n’afiira ku mukazi ow’ekitiibwa kyokka nga waliwo abangu, n’asalawo okwewola ssente, n’ebirala bingi.

N’olwekyo fuba nga bw’osobola okulaba ng’omugagga gw’oyagala okukolako omukwano omanya ebintu by’asinga okwagala n’ebirungi ebimuliko oba by’alina obiwaane mu ngeri entuufu. Wabula togeza n’omukiina. Muwaawe ekintu nga ddala kituufu, bw’onoomukiina ajja kukukyayira ddala. Kyokka bw’onoomugamba ekintu nga waliwo n’omulala eyali akimugambye ajja kukwagala.

Weewale okusalira omugagga omusango oba okumulaga nti yasobya mu ngeri emu oba endala. Buli kintu ky’aba asazeewo era ng’akissizza mu nkola tekigasa okumulaga nti yabadde mukyamu, okuggyako ng’akwebuuzizzaako nga tannakikola olwo n’olyoka omuwa amagezi amatuufu. Omuntu yenna bw’otandika okumukwata ensobi ku byazze akola oba otandise okumulaga nti amagezi ge ogabuusaabuusa ekintu ekitajja kukuyamba kumukolako mukwano.

Abanywi b’omwenge kino bakimanyi bulungi, bwe babaako abagulira omwenge, buli nkayaana ezibaawo yaaziwangula era nnina ne be nnalaba nga beegwanyizza abawala omu n’atabukira munne ng’amubuuza lwaki yeegwanyiza omuwala asinga obulungi nga n’omugagga obwedda agula omwenge gw’asiimye!!

Kikugasa ki okuwangula empaka kyokka ng’ofiirwa omukwano ogubadde guyinza okukubbula.
Kikuggyako ki okuwaana omuntu nti y’asinga okumanya abantu ab’omugaso mu kitundu era n’abakutusaako ensi n’eyongera okukwanguyira.

Ebyo byonna ng’obimaze jjukira etteeka ekkulu mu kukolagana n’abantu erya “mpa-nkuwe” nga lino litegeeza nti abantu nga bw’obayisa nabo bwe bakuyisa. Omuntu bw’omulaga nti omwagaliza birungi byereera era nga toliimu bukuusa mu buli ngeri naye ajja kukwagala.  Yagala omugagga ate owaane buli kirungi ky’alina mu buli ngeri naye ajja kukwagala.
ENGERO Z’ABAGAGGA:  Ogubula eyeeguya teguwangaala.

Okufuna omukwano n’abagagga yiga okwogera bye baagala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...