Bino bikulaga engeri abantu gye batya okugaba amabanja. Kyokka bwe eetegereza, okugaba ebbanja tekisuula biizinensi era nnyingi nnyo eziyitimuse nga zeesigamye ku kugaba mabanja. Okutuukiriza kino olina ebintu bingi by’olina okwetegereza sikulwa nga bizinensi ogiziika.
Buli muntu yenna mu nsi alina lwe yali ayagadde okwetuusaako ekintu kyokka olw’okuba aba talinaawo kaasi, ekintu ekyo akivaako. Ky’olina okujjukira nti omuntu okuba nga talina ssente olwaleero tekitegeeza nti enkya tajja kubeera nazo.
Wiiki eri nnakulaga nti omuntu bw’aba ayagala ekintu era nga bulijjo abadde akyeyambisa kyokka olumu ne yeesanga nga talina ssente ate nga ow’edduuka tayinza kumuwa bbanja, ayinza okukyesonyiwa kw’olwo.
Wabula ekisinga obubi kwe kukyesonyiyira ddala n’akivaako. Bw’oba okozesa ekintu otuuka ekiseera n’olowooza nti oteekwa okukikozesa kyokka bw’omala ennaku nga tokikozesa oyinza okuzuula nti ensimbi zo kibadde kitwala za bwereere kubanga ogenda okwegereza nga tolina ky’ofiirwa bw’oba tokikozesezza.
Mu mbeera eno ani aba afiiriddwa? Gge nnannyini dduuka oba kasitoma? Tokkiriza kufiirwa kasitoma olw’okutya okumuwa ebbanja, ky’olina okukaksa bwe busobozi bwe okusasula ebbanja lino.
Tunuulira biizinensii ya bbanka. Bbanka zonna ensimbi ze zisinga okukola ziziggya mu kuwa bantu mabanja. Ogenda mu bbanka n’osaba looni ne bakuwa ssente zaabwe n’ogenda n’okola oluvannyuma n’osasula.
Kyokka bbanka ky’esooka okukola kwe kuzuula nti ddala omuntu gw’ewola alina obusobozi obukomyawo ssente ng’azitaddemu amagoba? Era eteekawo n’amakubo aganaagiyamba okununula ssente zaayo singa omuntu aba alemereddwa ate nga muno mulimu n’ebibonerezo ebikakali.
Ggwe ng’omuntu tojja kusobola kweyisa nga bbanka, kyokka ekiseera ky’oba omaze mu bizinensi osobola okumanya kasitoma ataakubbe oba alina obusobozi obuleeta ssente zo mu bwangu.
 Wiiki ewedde omukyala owa Gulosale e Nansana yagambye nti abamu ku bakasitoma be ab’olulango be bafuna emisaala be yagambye nti abawa ebintu ku bbaja ne basasula ng’emisaala gizze. Ono naawe wandibadde omuyigirako.
Kkampuni nnyingi ennene zizze zikola mu nkola y’emu eno. Abagagga batono nnyo abasobola okugula Benzi ssente zonna ne bazisasula mu mpeke. Abasinga bazigula mu nkola ya kibanjampola, naye olwokuba abakola mmotoka zino n’abazitunda bakimanyi nti si kyangu okutunda emmotoka zino, bazuula omuntu alina obusobozi obusasula mu nkola ey’ekibanjampola okutuusa lw’amalayo.
 Enkola eno eyambye abantu bangi ddala okuviira ddala ku batunda omwenge okutuukira ddala ku batunda ebintu ng’emmotoka. Era eno y’emu ku nkola eyambye nnyo amawanga ga Bulaaya ne Amerika okitimuka.
Amakampuni ne bbanka kye bakola ku muntu anaatwala ebbanga eddene nga tannasasula kwe kuguliza ku bbeeyi enneneko okusinga ku munno asasudde mu buliwo. Naawe oyinza okutandika enkola eno kubanga omuntu buli kiseera ky’amala ne ssente zo aba alina ky’akufiiriza.
N’olwekyo totya kugaba bbanja, kyokka kakasa nti omuntu gw’owa ebbanja ojja kusobola okumuggyako ssente zo. Kino kijja kukuyamba mu nger eziwerako.
Ojja kufuna bakasitoma abataba na ssente ebiseera ebimu; ojja kufuna bakasitoma ab’olulango; bizinensi we zaatuuka kati bakasitoma obafuna okusinziira ku ngeri gy’obamanyiimu n’enkolagana yo nabo.Â
NGERO Z’ABAGAGGA:  Eng’oma gye bazireegera si gye zivugira!
Teri bizinensi ewangaala bw’eba tegaba bbanja