TOP

Ssente za nnamba ya pikipiki esiiwuuse ziba mmeka?

Added 14th October 2009

KIMENYA mateeka okuvuga ekidduka  okuli nnamba  esiiwuusei.

Obuzibu oluusi buva ku  nnamba zino okugendamu woyiro w’ebiziyiza  bya mmotoka oba ababa bagyoza nga beeyambisa ebintu ebikalabula.

Jjuza  ffoomu  ku kitebe kya URA osasule ssente za nnamba ya pikipiki eziri 4

KIMENYA mateeka okuvuga ekidduka  okuli nnamba  esiiwuusei.

Obuzibu oluusi buva ku  nnamba zino okugendamu woyiro w’ebiziyiza  bya mmotoka oba ababa bagyoza nga beeyambisa ebintu ebikalabula.

Jjuza  ffoomu  ku kitebe kya URA osasule ssente za nnamba ya pikipiki eziri 49,000/-, oluvannyuma mu kkampuni ezikola nnamba zino osasulayo 35,000/-.

 Nnamba ya  mmotoka bw’esiiwuuka  ebisale bikyukamu. Bisinziira  ku kika kya nnamba kuba bw’eba ziri ennene ez’ebifo omukaaga kikwetaagisa okuddamu okugiwandiisa okufuna akalamba akatono.
Awo olina okusooka okusasula ssente z’okuddamu okuziwandiisa eziri 100,000/-,  oluvannyum eza kkaadi ziri 49,000/- eza URA ziri  35,000/-.

Ssente zino zaawukana ku za nnamba ya mmotoka esiwuuse kuba zino ziba waggulu ku 73,000/- za nnamba  wabula ennamba ya mmotoka bw’eba nga nnene ez’ebifo omukaaga, omulina okuddamu okugiwandiisa ku 200,000/-  ne 49,000/- nga za kkaadi.

Nafuna pamiti mu 2002 nga ya Class B, kati njagala kugizza buggya n’okwongeramu Class endala. Nkola ntya? 0702626219

Class “B” y’esooka obuweebwa  yenna asooka okufuna pamiti. Emukkiriza kuvuga mmotoka za buyonjo ne kabangali ezitikka obuzito obusaamusaamu.
Class eno bw’oba wagifuna mu 2002, kati olina obumanyirivu obumala okusaba bakwongere Class  endala. Class eddako eya “CM” ekukkiriza okuvuga mmotoka okutuuka ku ttani 7. Ojja kusooka kusasula ssente z’okuzza obuggya pamiti yo, 66,000/- ne 2,000/- za bbanka. Okukugezesa ziri 25,000/- ne 2,000/- eza bbanka. Olwo osasule 37,000/- bakwongeremu Class endala ne 20,000/- eza Face Technologies okufuna pamiti empya.

Nsobola okuzza obuggya pamiti nga tennaggwaako ? 0712024454
OKUVUGA ekidduka nga pamiti yaggwaako kimenya mateeka. Bw’okwatibwa  osibibwa oba okutanzibwa ssente ezitakka wansi wa 40,000/-
Oyinza okuzza pamiti yo obuggya ne bw’eba ng’ebuzaayo ekiseera okuggwaako. Mu mbeera eyo ggwe oba weeryazaamanyizza kuba ekiseera  ekiba kibulayo tekibaibwa,  batandikira kw’olwo lw’osasudde okugizza obuggya. Okuzza obuggya pamiti ey’emyaka 3 osasula 66,000/- ne 2,000/- eza bbanka ne 20,000/- mu Face Technologies, bw’oba n’eya kompyuta ate alina ey’olupapula 55,000/-.

Ssente za layisinsi bakyasobola okuzinziriza?

Nafuna ffoomu y’okusasula layisinsi naye nnali sinnasasula omusolo ne baguggyawo naye kaadi yasigalayo. Nkole ntya? 0772371198

Empapula ezo kwe baapimira omusolo gw’olina okusasula (Assessment) z’oba okwata oddeyo ku ofiisi ya URA bajja kukuwa kkaadi yo kuba ezo ffoomu ze zikola ng’omusingo okulaga nti kkaadi wagiwaayo.
Bw’oba ffoomu wazisuula era oyinza okugenda ku URA n’obukakafu nti mmotoka yiyo ne bakuwa kkaadi yaayo. Bw’eba eri mu mannya ga muntu mulala, oyo gw’oba otwala era kkaadi bajja kugikuwa nga towaddeeyo ssente zonna.

Nnasasula ssente za layisinsi z’ekidduka kyange wabula omusolo guno ne guggyibwawo nga nnaakasasula . Nkyasobola okufuna ssente zange ezo?
Tom Luutu, Iganga

KITUUFU osobola okuddizibwa ssente zo.
Wabula kino olina okukikola singa ggwe wali nnannyini mmotoka ng’amannya mu kkaadi yaayo nga gago era oteekwa okuba ne lisiiti zonna kwe wasasulira omusolo guno.

Bw’oba nga ggwe wasasula omusolo guno wabula nga mmotoka wali tonnagikyusa kugizzza mu mannya go era bayinza okuzikuwa singa okyusa kkaadi eyo.

Wabula oteekwa okuba nga wasasula omusolo okusussa mu mwezi gwa July wa  2007/2008 kuba abaddizibwa ssente zaabwe beebo abaali basasudde okusussa mu July wa 2007.

N’okutuusa kati abagenda ne basaba okubaddiza ssente zaabwe bakyazifuna naye yanguwako nga tebannaggalawo.

Nafuna pamiti mu 2001, nga 15/01/2005 ne ngizza obuggya, mu 2009 ne nfuna eya kompyuta kyokka bampa ya Class ntono ate nga nvuga mmotoka nnene . Kino kijja kitya nga pamiti zigendera mu Class? (Kaddu Paul 0782924309)

Oluusi ensobi zikolebwa,  bw’oba  ofunye obuzibu nga buno genda ku kitebe kya  URA e Nakawa mu ofiisi omukuumirwa ebiwandiiko bya pamiti.

Ekirala pamiti zigenze zikyusibwa nga mulimu ezaasooka nga zonna okutwalira awamu mulimu Class mukaaga.

Ezimu zaali zigattiddwwa, okugeza abaasooka baafuna Class E eya mmotoka entono  wabula abamu baazigatta ne Class C ng’eno evuga okutuuka ku ttani musanvu,   abamu baali baazifuna  omulundi gumu ku ntandikwa ekintu ekitakyaliwo

Oluvannyuma  pamiti zaakyusibwa ne bazissaamu Class 12, ezimu zigenze zikutulwamu.
Mu mbeera ng’eno kiyinzika okuba nga pamiti gye wasooka okufuna bw’ogigeraageranya n’eziriwo oyinza okuba nga Class gye waweebwa y’ekusaanira.

Emmotoka za ssente tulina okuziviira mu kkubo?, Magala, Ssi

Nedda, emmotoka ezitwala ssente teziri mu lukalala lw’ezo ezirina okuviirwa mu kkubo.
Eziri mu luse luno mulimu eya Pulezidenti, eza poliisi bwe ziba zirina ensonga ez’amangu wamu ne ambyulensi ezitwala n’okunona abalwadde.


Ssente za nnamba ya pikipiki esiiwuuse ziba mmeka?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kangaawo ng'ayogera e Butuntumula.

Kangaawo akunze Abalemeezi ...

OMWAMI wa Ssaabasajja Kabaka atwala essaza ly' e Bulemeezi, Kangaawo Ronald Mulondo agugumbudde bassemaka  abaganza...

Pulezidenti wa DP Norbert Mao ne Ismail Kirya mu lukiiko ne bannamawulire.

Aba DP basabye Gavt. okuliy...

BANNAKIBIINA kya DP basabye Gavumenti okuliyirira abantu bonna abagenda okufiirwa ettaka awagenda okuyita payipu...

Dayirekita Wambuga (ali mu kkooti) ng' agezaako okunnyonnyola abasomesa abamutabukidde.

Abasomesa batabukidde dayir...

Emirimu gisannyaladde ku ssomero lya Good Luck Junior School e Katalemwa mu ggombolola y'e Gombe mu disitulikiti...

Omukazi nga bamusitula okumussa ku kabangali bamutwale mu ddwaaliro.

Kabangali ya poliisi etomed...

KABANGALI ya poliisi ewabye n'erumba okukazi abadde atambulira ku mabbali g'ekkubo okukkakkana ng'emumenye okugulu....

Mu Kkooti ye kkansala w'e Luzira, Willy Turinawe  ng'atottola obulumi bwe bayitamu.

Abatuuze batabukidde abayoo...

ABATUUZE ba Stage 7 e Luzira ekisangibwa mu Munispaali y'e Nakawa bavudde mu mbeera ne batabukira abakozi ba Kkampuni...