TOP

emmotoka efuuwa obulege bwe nkozesa woyiro omu

Added 7th October 2009

Bwe nnassaamu ow’ekika ekirala n’etereera. Kino kiva kuki?

0712556874

Obuzibu nga buno bubaawo singa oba otadde woyiro omukyamu mu mmotoka yo  n’etandika okufuuwa omukka n’ekulowoozesa nti yingini  y’enfu.

Woyiro gy’akoma okuba omuwewufu gy’akoma okuv

Bwe nnassaamu ow’ekika ekirala n’etereera. Kino kiva kuki?

0712556874

Obuzibu nga buno bubaawo singa oba otadde woyiro omukyamu mu mmotoka yo  n’etandika okufuuwa omukka n’ekulowoozesa nti yingini  y’enfu.

Woyiro gy’akoma okuba omuwewufu gy’akoma okuvaako mmotoka  okufuuwa kuba aba ayita butereevu mu nseke za yingini.

Wabula waliwo ebintu eby’enjawulo ebiyinza okuvaako yingini okufuuwa n’okukuba obulege nga waakakyusa woyiro.

lMulimu okuba  nga mmotoka ebadde etutte ekiseera kiwanvu nga tekyusiddwa  woyiro oba okukolebwa saaviisi.

lEsooka kukuba kikka naye etereera mpola.

lMmotoka eya dizero bw’ogissaamu woyiro wa petulooli erina okukuba obulege kuba munafu nnyo.
lMmotoka  enywa ekika ky’amafuta ekimu bwe bagiyiwamu  ekika ekirala, erina okukuba ekikka.

Nasasulira pamiti,  kati omwezi gumu n’ekitundu nga nvugira ku lupapula kwe nnasasulira mu bbanka olwa kyenvu. Tebankwate?
0757128066

OKUKUKWA oba obutakukwata kisinziira ku nsonga evuddeko okulwawo okufuna pamiti yo ate nga wagisasulira.

Ebiseera ebisinga bw’omala okusasula pamiti mu URA, lisiiti bagikoonamu sitampu ne bakuwa wiiki bbiri ogende mu face Technologies nabo bakukube obufaananyi era osasule omutemwa gwayo ofune pamiti.
Ebbanga lino bwe liyitawo  kitegeeza nti waliwo obuzibu obwenjawulo, olwo URA eba erina okuddamu okukutegeeza n’okuwandiika ku lisiiti eyo kw’ovugira mmotoka  ensonga lwaki pamiti yo   tennakolebwako.

Ekivaako obuzibu kiyinzika okuba nga kiraasi ezimu eziri mu biwandiiko bya URA tebikwatagana n’ebyo ebiri ku pamiti eweereddwaayo okuzzibwa obuggya oba okukyusibwa.
Ebiwandiiko mu URA nabyo bitera okubula.

NNINA pamita ya kompyuta kyokka yeetaaga kuzza buggya. Kyetaagisa ssente mmeka era ndage wa?
0772667633

PAMITI za kompyuta okufaananako n’ez’empapula ezaakoma okukola omwezi oguwedde  zeetaaga okuzza  obuggya.
Eya kompyuta bw’eggwaako olina kufuna nadala okweala obuzibu bw’okuzijingirira.
Pamiti ya kompyuta bw’eggwaako olina okusookera mu kitongole kya URA n’ofuna ffoomu y’omusawo  gy’otwala eri omusawo wo n’akukebera oluvannyuma n’ogizza mu kitongole kye kimu n’oweebwa ffoomu z’okusasula pamiti ez’okugizza obuggya ku 66,000/- nga gino giba myaka  esatu.
Oluvannyuma lwa wiiki nga bbiri  ogenda mu Face Technologies   n’osasula 20,000/- nga zino  zaakukuwa pamiti ya kompyuta.

PAMITI gye nnina ya DR. Congo. Bayinza okugikyusa ne bampaamu eya Uganda?
0782152510

PAMITI  z’amawanga amalala zaali zikyusibwa n’ofuna eya wano nga tebazzeemu kukugezesa.
Naye enkola kati yakyukamu. URA bw’ogiwa pamiti ng’eno  kati bagezaako okubuuliriza mu ggwanga gy’evudde  oulaba oba tolinaayo misango.
Naye oluvannyuma bw’otuukiriza ebyetaagisa bagiwaanyisaamu pamiti eya wano. 

Nasasulira pamiti yange nga June 5, 2008  lisiiti ne zibula nga nsenguka. Nsobola okugifuna nga bwe nnazirabye?
0772643675

KITUUFU osobola okufuna pamiti yo wadde nga wagisasulira ebbanga erisukka mu mwaka omulamba emabega.
  Naye wa gye wasasula ssente zino. Wagenda mu URA oba mu Face Technologies, kkampuni ekola pamiti za kompyuta?
Bw’oba wasasulira pamit, lisiiti ne bw’egwa, okuyulika oba okunaabuuka mu mazzi, ogenda mu ba Face Technology ne bakukebera mu kompyuta zaabwe obaayo.
Bw’oba pamiti wasasula ya mwaka gumu gwokka okuva mu June wa 2008 okutuuka mu September wa 2009, kitegeeza nti yaggwaako nga tonagiggyayo, bajja kugikuwa naye ng’ogizzizza buggya!
Yo yali nnamu oba kicupuli? Okakasa ebiwandiiko kwe wagezesezebwa byatuuka mu tterekero lya URA?
Genda mu Face Technologies basooke bakukebere mu kompyuta. Bw’oba wasasula ya myaka 3 ojja kugisanga ng’ekulinze.

emmotoka efuuwa obulege bwe nkozesa woyiro omu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Zaake ng'ayogera e Kamwokya.

Omubaka Francis Zaake awera

Omubaka Francis Zaake akiikirira munisipaali y'e Mityana era nga ye mukulembeze w'abavubuka mu NUP, alojjedde Bannakibiina...

Kayongo ng'annyonnyola.

Nkyali mukulembeze w'akatal...

Abadde ssentebe w'akatale ka St.Balikuddembe, Godfrey Kayongo ategeezeza nti akyali mukulembeze w'abasuubuzi b'ekibiina...

Abakugu nga balaga ekyuma ekifuyiira n'okutta obuwuka bwa Covid 19.

Bakoze ekyuma ekifuyiira n'...

Abakugu mu bya tekinologiya okuva mu ggwanga lya Romania nga bali wamu n'ab'ekitongole kya Good Care baliko ekyuma...

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Eby'emmotoka ya Bobi Wine b...

EBY'EMMOTOKA ya Bobi Wine etayitamu byasi byongedde okuwanvuwa ab'ekitongole ekiwoza omusolo bwe bategeezezza nti,...

Minisita Ssempijja ng'ayogera eri abalimi ba vanilla.

Abalimi e Lwabenge balaajan...

ABALIMI ba vanilla mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu beekubidde omulanga ewa Minisita avunaanyizibwa ku byobulimi,...