S.N
Ekizibu omwana wo ky’alina kinene naddala nti ayonka buyonsi ate kati yafunye amabwa. Amabwa gano gabeera galuma nnyo ekimulemesa okuyonka obulungi wabula asobola okuweebwa eddagala n’atereera n’ayonka bulungi.
Yongera okumuyonsa tomuggya ku mabeere kubanga ga mugaso nnyo eri obulamu bwe ate naddala nti omubiri gwe munafu era gwetaaga okufuna obukuumi obw’enjawulo obusangibwa mu mabeere okusobola okulwanyisa akawuka.
Amabwa g’omu kamwa gayinza okuleetebwa akawuka ka Vayiraasi akayitibwa ‘ Herpes Virus’, kano bwe kakukwata kavaako olububi lw’omu kamwa okuyubuka ne wasigalawo amabwa agaluma ennyo naddala ng’omwana ayonka.
Ekirala kisoboka okuba ng’alina kookolo ayitibwa Kaposi’s Sarcoma, ng’ono aleeta obuzimbu ku lulimi ne mu kamwa ne langi eya kakobe, era nabyo biruma nnyo.
N’akawuka kalina engeri gye kakola ku muntu akalina ne kimuleetera alusa mu kamwa nga nazo ziruma nnyo.
N’olwekyo obujjanjabi businziira ku kivuddeko amabwa gano, kyokka nga waliwo eddagala eriweweeza ku bulumi nga Panadol. Obuyonjo bw’akamwa olina okubukuuma ennyo okutangira amabwa gano okusajjuka.
Osobola okutabula omunnyo ogw’ekisu mu mazzi ag’ekibuguumirize n’omuyisa mu kamwa n’akappamba akatukula. Teweerabira kumutwala wa musawo amuwe eddagala asobole okuwona.
Â
 Okufuna olubuto kunang’onza?Â
 NDI lubuto era nnina akawuka ka siriimu, wabula nnina okutya kubanga mpulira bagamba nti abalina siliimu babeera mu kabi kanene nnyo n’abaana abali munda? Nkole ntya ndi mweraliikirivu.
G.D
Olubuto teruteeka mukyala alulina mu mbeera mbi, wabula akawuka ka siriimu kasobola okulinnyisa obuzibu obutonotono obubeera bufuniddwa omukyala ku bulamu nga kino kisobola n’okukosa omwana ali munda.
Abakyala abalina akawuka ka siriimu bafuna nnyo obuzibu bw’okuggwamu omusaayi n’okulumbibwa endwadde nga bamaze okuzaala oba okulongoosebwa. Nga kino kisinziira ku nsonga nnyingi omuli; embeera y’obulamu bw’omukyala ng’ali lubuto ne w’azaalira.
Endya n’obujjanjabi bw’afuna ng’ali lubuto ne wazaalira.
Era obuzibu buno bwanguya akawukaka siriimu okutuuka ku mutendera gwa siriimu mu mubiri gw’omukyala.
Ekirala abakyala abalina akawuka ka siriimu batera okufuna obuzibu bw’okuzaala abaana nga tebannatuusa, abafiiridde munda, n’abatono (abawewuka) ennyo.
 Weereza ekibuuzo kyo ku p.O.box 4211Kampala oba ku email: jweeraga@newvision.co.ug
Oyinza okukuba essimu nnamba 0414-337194 ne 0752-598188
   Â
Omwana afunye amabwa mu kamwa muggye ku mabeere?